Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kyandibadde kya magezi Omukristaayo ow’amazima okubaawo ku mukolo gw’okuziika oba embaga ebitegekeddwa mu kkanisa?
Bwe twenyigira mu ngeri yonna ey’eddiini ey’obulimba tekisanyusa Yakuwa era kiteekwa okwewalibwa. (2 Abakkolinso 6:14-17; Okubikkulirwa 18:4) Omukolo gw’okuziika ogutegekeddwa mu kkanisa guba mukolo gwa ddiini era guyinza okubaamu okubuulira okukwata ku njigiriza ezikontana n’Ebyawandiikibwa gamba ng’ey’obutafa bw’omwoyo era mbu abalungi bonna baligenda mu ggulu. Era guyinza okubaamu ebikolwa ebirala gamba ng’okukuba akabonero k’omusaalaba n’okwenyigira mu kusaba okukulemberwa omubuulizi. N’omukolo gw’eddiini ogw’embaga ogutegekeddwa mu kkanisa oba awalala wonna guyinza okubaamu essaala n’ebikolwa ebirala eby’eddiini ebikontana n’enjigiriza za Baibuli. Omukristaayo ayinza okukisanga nga kizibu okwewala okwenyigira mu kusinza okw’obulimba ng’ali mu bantu abeenyigidde mu bikolwa ng’ebyo. Nga tekyandibadde kya magezi okweteeka mu mbeera ng’ezo!
Kiba kitya singa Omukristaayo awalirizibwa okubeerawo ku mukolo gw’okuziika oba embaga ebitegekeddwa mu kkanisa? Ng’ekyokulabirako, omukyala Omukristaayo ayinza okuwalirizibwa bbaawe atali mukkiriza okugenda naye ku mukolo ng’ogwo. Omukyala oyo tasobola kugenda na mwami we kyokka n’ateenyigira mu mukolo ogwo? Ng’alaga nti assa ekitiibwa mu kiragiro kya bba, omukyala ayinza okusalawo okugenda naye, kyokka n’aba mumalirivu obuteenyigira mu mukolo gwonna ogw’eddiini. Ku ludda olulala, ayinza okusalawo obutagenda, ng’akiraba nti ayinza obutasobola kwaŋŋanga kupikirizibwa okw’amaanyi okunaabaayo, okuyinza n’okumuleetera okwekkiriranya. Alina okwesalirawo kennyini ky’aba akola. Awatali kubuusabuusa, yandyagadde okusigala n’omuntu ow’omunda omulungi.—1 Timoseewo 1:19, NW.
Mu buli ngeri yonna, asaanidde okunnyonnyola bba nti omuntu we ow’omunda tamukkiriza kwenyigira mu mukolo gwonna ogw’eddiini oba okuyimba ennyimba z’eddiini oba okwewombeeka nga basaba. Okusinziira ku ebyo mukyala we by’aba amunnyonnyodde, omwami ayinza okukitegeera nti singa mukyala we agenda naye, ayinza okweyisa mu ngeri eyinza okumuswaza. N’olwekyo, omwami ayinza okusalawo okugenda yekka olw’okuba ayagala mukyala we, olw’okussa ekitiibwa mu nzikiriza ye, oba olw’okwagala okwewala okuswala. Naye, singa omwami akalambira nti mukyala we ateekwa okugenda naye, omukyala ayinza okugenda, kyokka n’ateenyigira mu bintu ebikolebwayo.
Era tusaanidde okulowooza ku ngeri basinza bannaffe gye bayinza okukwatibwako singa tugenda ku mukolo oguli mu ssinzizo. Kiyinza okulumya omuntu waabwe ow’omunda? Kiyinza okuviirako okukendeeza obukyayi bwe balina eri okusinza ebifaananyi? Omutume Pawulo yabuulirira nti “Mutegeerenga ebisinga obukulu, muleme kubaako kamogo konna wadde okwesittaza abalala okutuusa ku lunaku lwa Kristo.”—Abafiripi 1:10, NW.
Singa omukolo ogwo guba gukwata ku muntu gw’olinako oluganda olw’oku lusegere ennyo, oyinza okufuna okupikirizibwa okusingawo okuva eri ab’eŋŋanda. Mu buli ngeri yonna, Omukristaayo asaanidde okwekenneenya obulungi byonna ebizingirwamu. Mu mbeera ezimu, ayinza okulowooza nti okugenda obugenzi ng’omutunuulizi mu kkanisa ku mukolo ogw’okuziika oba embaga ey’obugole tekijja kuleetawo kizibu kyonna. Kyokka, ekizibu ky’ayinza okufuna ye kennyini kwe kulumya omuntu we ow’omunda oba ow’abalala. Ekyo kiyinza okuba eky’akabi okusinga emiganyulo gye yandifunye ng’agenzeeyo. K’ebeere mbeera ki, Omukristaayo asaanidde okukakasa nti ky’asalawo tekijja kwonoona muntu we ow’omunda mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.