Eddembe ly’Olina Okukkiriza ky’Oyagala
Oboolyawo osanyukira eddembe ly’olina okukkiriza buli ky’oba oyagadde. Era kumpi buli muntu yenna alisanyukira. Nga bakozesa eddembe lino, abantu obuwumbi mukaaga abali ku nsi batandiseewo enzikiriza nnyingi nnyo ezeewuunyisa. Ng’enjawulo eri mu bitonde, gamba mu langi, mu ndabika, mu mpooma, mu ngeri gye biwunyamu ne mu maloboozi bw’eyinza okuleetawo essanyu mu bulamu, mu ngeri y’emu n’enzikiriza ez’enjawulo ziyinza okutuleetera essanyu. Mazima ddala, ebintu bwe bityo eby’enjawulo biyinza okuleetawo essanyu mu bulamu.—Zabbuli 104:24.
NAYE, kyetaagisa okwegendereza. Enzikiriza ezimu si za njawulo kyokka naye era z’akabi. Ng’ekyokulabirako, mu matandika g’ekyasa 20 abantu abamu bakkiriza nti Abayudaaya n’ebibiina ebimu ebikola ebintu mu nkukutu, baalina enteekateeka ‘ez’okutabangula Obukristaayo bakolewo eggwanga limu era balifugire wamu. Ensibuko emu ey’endowooza eyo, yali tulakiti evumirira Abayudaaya eyitibwa, Protocols of the Learned Elders of Zion. Tulakiti eno yagamba nti enteekateeka zaazingiramu okusaba abatali Bayudaaya emisolo egisukkiridde, okukola ebyokulwanyisa, okuteekawo kampuni gaggadde zeefuge bizineesi zonna, mu ngeri eyo ‘obugagga bw’abatali Bayudaaya buggweewo’. Era kaagamba nti baalina n’enteekateeka ez’obutawa abo abatali Bayudaaya buyigirize obuzimba, era n’okukola enguudo ze ggaali z’omuka eziyitira wansi mu ttaka okutuuka mu bibuga ebikulu, abakulu b’Abayudaaya basobole ‘okufufuggaza amangu ababawakanya.’
Kya lwatu, buno bwali bulimba obwalina ekigendererwa eky’okukyayisa Abayudaaya. Omwami, Mark Jones owa museum ya Bungereza agamba: ‘Obulimba buno bwabuna mu bifo ebirala nga butandikira mu Russia gye bwasooka okufulumira mu lupapula lw’amawulire mu 1903. Obulimba obwo bwafulumira mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa The Times olwa London nga Maayi 8 1920. Nga wayiseewo ekiseera ekisukka mu mwaka ogumu, olupapula lw’amawulire The Times lwakyasanguza nti amawulire ago gaali ga bulimba. Wadde ng’ekyo kyakolebwa, abantu baali bamaze okubuzaabuzibwa. Jones agamba, ‘Si kyangu okukomya obulimba ng’obwo.’ Kasita abantu babukkiriza, kireetawo obukyayi n’endowooza ez’akabi, era ng’ebivaamu tebiba birungi ng’ebyafaayo eby’ekyasa 20 bwe biraze.—Engero 6:16-19.
Enzikiriza n’Amazima
Kya lwatu, enzikiriza enkyamu ziyinza okutandikibwawo awatali kulimba okuli mu bugenderevu. Emirundi egimu, ffe fennyini tetutegeera bulungi bintu. Bantu bameka abafudde mu ngeri etasuubirwa nga bakola ekintu kye baali balowooza nti kituufu? Ate era, emirundi mingi tukkiriza ekintu olw’okuba twagala bwagazi okukikkiriza. Profesa omu agamba nti ne bannasayansi bennyini “batera nnyo okwagala okukuliriza endowooza zaabwe ne bye batuuseeko.” Endowooza zaabwe zibaleetera okwekubiira. Olwo nno, bayinza okumala ebbanga lyonna ery’obulamu bwabwe nga bagezaako okunoonya ensonga ezinaawagira endowooza zaabwe enkyamu.—Yeremiya 17:9.
Ekintu kye kimu kituuse ku nzikiriza z’amadiini ezikontana ennyo. (1 Timoseewo 4:1; 2 Timoseewo 4:3, 4) Omuntu omu ayinza okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda. Omulala ayinza okugamba nti abantu tebalina bujulizi obulaga lwaki bakkiririza mu Katonda. Omuntu omu akalambira nti olina omwoyo ogutafa oguwonawo ng’ofudde. Ate omulala akkiriza nti ng’ofudde oba tokyaliwo. Kya lwatu, enzikiriza zino zonna ezikontana teziyinza kubeera ntuufu. N’olwekyo, tekiba kya magezi okukakasa nti ekyo ky’okkiriza kye kituufu mu kifo eky’okumala gakkiriza? (Engero 1:5) Ekyo oyinza kukikola otya? Ekitundu ekiddako kijja kwekenneenya ensonga eyo.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Eggulire eryayasanguza obulimba obwali mu tulakiti eyitibwa “Protocols of the Learned Elders of Zion” mu 1921