LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 6/1 lup. 23-27
  • ‘Ani Ayinza Okutulwanyisa nga Katonda Ali ku Ludda Lwaffe?’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Ani Ayinza Okutulwanyisa nga Katonda Ali ku Ludda Lwaffe?’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Baani Leero Abalina Obuwagizi bwa Katonda?
  • Ebintu ebyawulawo Abalina Obuwagizi bwa Katonda
  • Waayo Ekiseera Okwekkaanya Ensonga
  • Okusinza Katonda kw’Asiima
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Oyinza Otya Okutegeera Eddiini ey’Amazima?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 6/1 lup. 23-27

‘Ani Ayinza Okutulwanyisa nga Katonda Ali ku Ludda Lwaffe?’

“Kati olwo tunaayogera ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku ludda lwaffe, ani ayinza okutulwanyisa?”​—ABARUUMI 8:31, NW.

1. Baani abaava mu Misiri n’Abaisiraeri, era kiki ekyabaleetera okukola ekyo?

ABAISIRAERI bwe baava mu buddu e Misiri obwamala emyaka nga 215, ‘ekibiina kya bannaggwanga baagenda nabo.’ (Okuva 12:38) Bannaggwanga bano baali balabye ebibonoobono eby’entiisa kkumi ebyaleetera Abamisiri bangi okuzikirizibwa era ne bifeebya bakatonda baabwe ab’obulimba. Mu kiseera kye kimu, baalaba obusobozi bwa Yakuwa obw’okukuuma abantu be, naddala okutandikira ku kibonoobono eky’okuna n’okweyongerayo. (Okuva 8:23, 24) Wadde baali bamanyi kitono nnyo ku bigendererwa bya Yakuwa, baali bakakafu ku kintu kimu nti, bakatonda ba Misiri baali balemereddwa okukuuma Abamisiri, ng’ate Yakuwa yakuuma Abaisiraeri.

2. Lwaki Lakabu yawagira Abaisiraeri abakessi, era lwaki obwesige bwe yassa mu Katonda tebwali bwa bwereere?

2 Nga wayiseewo emyaka amakumi ana, ng’Abaisiraeri banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Yoswa eyaddira Musa mu bigere yasindika abasajja babiri okuketta ensi eyo. Eyo baasisinkana Lakabu, eyabeeranga mu Yeriko. Okusinziira ku bikolwa bya Yakuwa eby’amaanyi bye yali awulidde, ng’okukuuma Abaisiraeri mu myaka 40 okuva bwe baava mu Misiri, yamanya nti singa yali ayagala okufuna emikisa gya Katonda, yalina okuwagira abantu ba Katonda. Olw’okusalawo kwe okw’amagezi, Lakabu n’ab’omu maka ge tebaazikirizibwa Abaisiraeri bwe baawamba ekyo ekibuga. Engeri ey’ekyamagero gye baawonyezebwamu ku bwayo bwali bujulizi nti Katonda yali nabo. Bwe kityo, obwesige Lakabu bwe yateeka mu Katonda w’Abaisiraeri tebwali bwa bwereere.​—Yoswa 2:1, 9-13; 6:15-17, 25.

3. (a) Kya magero ki Yesu kye yakola okumpi n’ekibuga Yeriko, era abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baakola ki? (b) Kiki Abayudaaya abamu, era n’oluvannyuma abatali Bayudaaya kye baategeera?

3 Nga wayiseewo ebyasa kkumi na bitaano, Yesu Kristo yawonya omuzibe eyali asabiriza okumpi n’ekibuga Yeriko. (Makko 10:46-52; Lukka 18:35-43) Omusajja ono yeegayirira Yesu okumulaga ekisa, ekyalaga nti yali akitegedde nti Yesu yalina obuwagizi bwa Katonda. Ku luuyi olulala, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya n’abagoberezi baabwe baagaana okukkiriza ebyamagero Yesu bye yakola okukakasa nti yali akola omulimu gwa Katonda. Mu kifo ky’ekyo, baamuvumirira. (Makko 2:15, 16; 3:1-6; Lukka 7:31-35) Ne bwe baamanya nti Yesu yali azuukiziddwa oluvannyuma lw’okumutta, baagana okukkiriza nti ekyo kyali kikolwa kya Katonda. Wabula, baawoma omutwe mu kuyigganya abagoberezi ba Yesu, nga bagezaako okuziyiza omulimu gwabwe ‘ogw’okulangirira amawulire amalungi agakwata ku Mukama waffe Yesu.’ Naye, Abayudaaya abamu, n’oluvannyuma abatali Bayudaaya, beetegereza ebintu bino ebyaliwo ne babitegeera bulungi. Gye bali, kyeyoleka lwatu nti Katonda yali agaanyi abakulembeze b’Abayudaaya abeetwala okubeera abatuukirivu era nga yali awagira abagoberezi ba Yesu Kristo abawombeefu.​—Ebikolwa 11:19-21.

Baani Leero Abalina Obuwagizi bwa Katonda?

4, 5. (a) Abantu abamu basinziira ku ki okulonda eddiini? (b) Ng’oyawulawo eddiini ey’amazima, wandirowoozezza ku kibuuzo ki ekikulu?

4 Gye buvuddeko awo ku programu eyali ku ttivi, omukadde w’ekkanisa omu , yayogera bw’ati ku ddiini ey’amazima: “Nnandigambye nti eddiini eba ntuufu singa empisa n’engeri z’omuntu agigoberera birongooka.” Kyo kituufu, eddiini ey’amazima erongoosa empisa z’abantu. Naye eky’okuba nti eddiini erongoosa empisa z’abantu, ku bwakyo kikakasa nti erina obuwagizi bwa Katonda? Eyo y’ensonga yokka esinziirwako okusalawo nti eddiini ya mazima?

5 Buli omu akitwala nga kya muwendo okuba nti asobola okwesalirawo, nga mw’otwalidde n’okusalawo eddiini ey’okugoberera. Okubeera n’eddembe okusalawo tekitegeeza nti omuntu ajja kusalawo mu ngeri entuufu. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu balondawo eddiini okusinziira ku bunene bwayo, obugagga, emikolo gyayo, oba ab’eŋŋanda abagirimu. Tewali na kimu ku bintu bino ekiyinza okusinziirwako okusalawo obanga eddiini ntuufu oba nedda. Ekibuuzo ekikulu ku nsonga eno kiri: Ddiini ki ekubiriza abagoberezi baayo okukola Katonda by’ayagala era erina obujulizi obunywevu nti Katonda agiwagira, ne kiba nti abagirimu bayinza okugamba nti, ‘Katonda ali naffe’?

6. Bigambo ki Yesu bye yayogera ebitangaaza ku ddiini ey’amazima n’ey’obulimba?

6 Yesu yassaawo etteeka eriyamba okwawulawo okusinza okw’amazima n’okukyamu bwe yagamba: “Mwekuume bannabbi ab’obulimba, abajjira mu byambalo by’endiga gye muli, naye munda gy’emisege egisikula. Mulibategeerera ku bibala byabwe.” (Matayo 7:15, 16, italiki zaffe; Malaki 3:18) Ka twekenneenye ebimu ku “bibala” oba ebintu ebyawulawo eddiini ey’amazima tusobole okumanya ani leero alina obuwagizi bwa Katonda.

Ebintu ebyawulawo Abalina Obuwagizi bwa Katonda

7. Kitegeeza ki okuyigiriza ekyo kyokka ekyesigamiziddwa ku Baibuli?

7 Enjigiriza zaabwe bazeesigamya ku Baibuli. Yesu yagamba: “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw’oli eyantuma. Omuntu bw’ayagala okukola oli by’ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange.” Era yagamba: “Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda.” (Yokaana 7:16, 17; 8:47) Bwe kityo, okusobola okufuna obuwagizi bwa Katonda oteekwa kuyigiriza ekyo kyokka Katonda ky’abikkula mu Kigambo kye era ne weesamba enjigiriza ezeesigamye ku magezi g’abantu oba obulombolombo.​—Isaaya 29:13; Matayo 15:3-9; Abakkolosaayi 2:8.

8. Lwaki kikulu okukozesa erinnya lya Katonda mu kusinza?

8 Bakozesa era ne bamanyisa erinnya lya Katonda, Yakuwa. Isaaya yalagula: “Ku lunaku luli mulyogera nti Mwebaze Yakuwa, mukowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe. Mumuyimbire Yakuwa; kubanga akoze eby’ekitiibwa: ekyo kimanyibwe mu nsi yonna.” (Isaaya 12:4, 5, NW) Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) N’olwekyo, ka babeere Bayudaaya oba Bannaggwanga, Abakristaayo baali ba kuweereza nga ‘abantu eb’erinnya lya Katonda.’ (Ebikolwa 15:14) Kya lwatu nti Katonda musanyufu okuwagira abo abaagala okubeera ‘abantu b’erinnya lye.’

9. (a) Lwaki abali mu ddiini ey’amazima balina essanyu? (b) Isaaya alaga atya enjawulo eriwo wakati w’eddiini ey’amazima n’ez’obulimba?

9 Booleka engeri ya Katonda ey’essanyu. Nga nnanyini ‘mawulire malungi,’ Yakuwa ye “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11, NW) N’olwekyo, abasinza be bandibadde basanyufu era nga tebasuubira bibi buli kiseera. Wadde waliwo ebizibu mu nsi era nga n’abantu kinnoomu balina ebizibu, Abakristaayo ab’amazima bakuuma essanyu lyabwe kubanga tebayosa kulya ku mmere ey’eby’omwoyo. Isaaya alaga nti baawufu ku abo abagoberera eddiini ez’obulimba: “Kyava ayogera bw’ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala: Laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiziddwa.”​—Isaaya 65:13, 14.

10. Abo abagoberera eddiini ey’amazima beewala batya okuteebereza obuteebereza?

10 Empisa zaabwe ne bye basalawo babyesigamya ku misingi gya Baibuli. “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Katonda awagira abo abamwesiga so si abo abeesiga abantu ababuusa amaaso amagezi agava eri Katonda. Omuntu gy’akoma okutambuliza obulamu bwe ku Kigambo kya Katonda, gy’akoma okwewala okuteebereza obuteebereza eky’okukola.​—Zabbuli 119:33; 1 Abakkolinso 1:19-21.

11. (a) Lwaki abagoberera eddiini ey’amazima tebandyawuliddwamu abakulembeze b’eddiini n’abantu aba bulijjo? (b) Abo abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda bassaawo kyakulabirako ki eri ekisibo?

11 Bategekebwa okusinziira ku nkola eyagobererwa ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka. Yesu yassaawo omusingi ogw’okugoberera: “Naye mmwe temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. So temuyitibwanga balagirizi: kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo. Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe.” (Matayo 23:8-11) Ekibiina Ekikristaayo eky’amazima tekirina kubaamu bakulembeze b’eddiini ab’amalala era abakozesa ebitiibwa okwegulumiza ku balala. (Yobu 32:21, 22) Abo abalunda ekisibo kya Katonda bagambibwa okukikola “si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw’ayagala; si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo; so si ng’abeefuula abaami b’ebyo bye mwateresebwa, naye nga [babeera] byakulabirako eri ekisibo.” (1 Peetero 5:2, 3) Abasumba Abakristaayo ab’amazima beewala okugezaako okufuga okukkiriza kw’abalala. Ng’abo abeenyigira mu buweereza bwa Katonda, bafuba okussaawo ekyokulabirako ekirungi.​—2 Abakkolinso 1:24.

12. Ndowooza ki etagudde lubege abo abaagala okuwagirwa Katonda gye bandibadde nayo ku gavumenti z’abantu?

12 Bagondera gavumenti z’abantu naye nga tebalina ludda lwe bawagira. Oyo alemererwa ‘okugondera ab’obuyinza abafuga’ tayinza kusuubira kuwagirwa Katonda. Lwaki? Kubanga “ab’obuyinza abaliwo Katonda yabakkiriza okubaawo. N’olwekyo oyo awakanya ab’obuyinza aba awakanya enteekateeka ya Katonda.” (Abaruumi 13:1, 2, NW) Kyokka, Yesu yamanya nga wandibaddewo okukontana bwe yagamba: “Ebya Kayisaali mu[bi]wenga Kayisaali, n’ebya Katonda mu[bi]wenga Katonda.” (Makko 12:17) Abo abaagala okuwagirwa Katonda bateekwa ‘okusooka okunoonya obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.’ Era bandigondedde amateeka g’ensi agatakontana n’obuvunaanyizibwa bwaffe eri Katonda. (Matayo 6:33; Ebikolwa 5:29) Yesu yaggumiza obutabaako ludda lwe tuwagira bwe yayogera bw’ati ku bayigirizwa be: “Si ba nsi, nga bwe siri wa nsi.” Oluvannyuma yagattako: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”​—Yokaana 17:16; 18:36.

13. Okwagala kulina kifo ki mu kwawulawo abantu ba Katonda?

13 Tebasosola mu kukola ‘ekirungi eri bonna.’ (Abaggalatiya 6:10) Abakristaayo tebasosola, era bakkiriza abantu bonna awatali kutunuulira langi, byanfuna, obuyigirize, eggwanga oba olulimi. Okukola obulungi eri bonna naddala eri abo bwe bali obumu mu kukkiriza kiyamba okwawulawo abo Katonda bawagira. Yesu yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.”​—Yokaana 13:35; Ebikolwa 10:34, 35.

14. Abantu abasiimibwa Katonda baagalibwa abantu bonna? Nnyonnyola.

14 Beetegefu okuyigganyizibwa nga bakola Katonda by’ayagala. Yesu yalabula abagoberezi be: “Oba nga banjigganya nze, nammwe bannabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n’ekyammwe banaakikwatanga.” (Yokaana 15:20; Matayo 5:11, 12; 2 Timoseewo 3:12) Abo abalina obuwagizi bwa Katonda bakyayibwa, nga bwe kyali eri Nuuwa, eyasalira ensi omusango olw’okukkiriza kwe. (Abaebbulaniya 11:7) Leero, abo abaagala obuwagizi bwa Katonda tebateekwa kufeebya Kigambo kya Katonda oba okwekkiriranya emisingi gya Katonda okwewala okuyigganyizibwa. Kasita baweereza Katonda n’obwesigwa, bakimanyi nti abantu bajja ‘kwewuunya era babavume.’​—1 Peetero 2:12; 3:16; 4:4.

Waayo Ekiseera Okwekkaanya Ensonga

15, 16. (a) Bibuuzo ki ebinaatuyamba okwawulawo eddiini ewagirwa Katonda? (b) Abantu bangi basazeewo ki era lwaki?

15 Weebuuze, ‘Ddiini ki emanyiddwa olw’okunywerera ku Kigambo kya Katonda, wadde ng’enjigiriza zaayo zaawukana ku nzikiriza z’abantu abasinga obungi? Baani abaggumiza obukulu bw’erinnya lya Katonda, ne balikozesa okweyawulawo ku balala? Baani abagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu? Baani abanywerera ku mitindo gya Baibuli egy’empisa, wadde ng’abamu bayinza okugamba nti gyava ku mulembe? Ddiini ki emanyiddwa olw’obutaba na bakulembeze abaweebwa omusaala, era nga bonna abagirimu babuulizi? Baani abatenderezebwa olw’okubeera abatuuze abakwata amateeka, wadde nga tebenyigira mu bya bufuzi? Baani abawaayo ebiseera n’essente okuyamba abalala okuyiga ku Katonda n’ebigendererwa bye? Wadde nga booleka ebintu bino byonna ebirungi, baani abanyoomebwa, ne basekererwa era ne bayigganyizibwa?’

16 Abantu bangi okwetooloola ensi beekenneenyeza ensonga zino era ne bamatira nti Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abagoberera eddiini ey’amazima. Batuuse ku kusalawo kuno okusinziira ku ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza, engeri gye beeyisaamu, awamu n’emiganyulo gye bafunye mu ddiini yaabwe. (Isaaya 48:17) Bwe kityo, abantu bangi boogera nga bwe kyalagulwa mu Zekkaliya 8:23: “Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”

17. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa baba tebeetulinkiriza bwe bagamba nti bali mu ddiini ey’amazima?

17 Abajulirwa ba Yakuwa baba beetulinkiriza bwe bagamba nti be bokka abawagirwa Katonda? Mu butuufu, kye boogera kifaananako n’eky’Abaisiraeri nga bali e Misiri bwe baagamba nti bawagirwa Katonda wadde ng’Abamisiri baalina endowooza ndala. Era kifaananako n’eky’Abakristaayo mu kyasa ekyasooka bwe baagamba nti be baalina obuwagizi bwa Katonda so si eddiini y’Ekiyudaaya. Ebiriwo bikakasa obutuufu bw’ensonga eyo. Mu nsi 235, Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu Yesu gwe yagamba nti gwandikoleddwa abagoberezi be ab’amazima mu kiseera eky’enkomerero: “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Matayo 24:14, NW.

18, 19. (a) Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebandirekedde awo kukola mulimu gwabwe ogw’okubuulira, wadde nga baziyizibwa? (b) Zabbuli 41:11 lulaga lutya nti Abajulirwa bawagirwa Katonda?

18 Abajulirwa ba Yakuwa bajja kweyongera okukola omulimu guno, nga tebakkiriza kuyigganyizibwa oba okuziyizibwa okukomya omulimu gwabwe. Omulimu gwa Yakuwa guteekwa okukolebwa. Okufuba kwonna okwakolebwa mu kyasa ekyayita okulemesa Abajulirwa okutuukiriza omulimu gwabwe kwagwa butaka, kubanga Yakuwa yasuubiza: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bwayogera Mukama.”​—Isaaya 54:17.

19 Eky’okuba nti kati Abajulirwa ba Yakuwa ba maanyi era nga banyiikivu okusinga bwe kyali kibadde wadde nga baziyizibwa mu nsi yonna, bukakafu obulaga nti Yakuwa asanyukira kye bakola. Kabaka Dawudi yagamba: “Kyenvudde mmanya ng’onsanyukira, kubanga omulabe wange tampangula.” (Zabbuli 41:11; 56:9, 11) Abalabe ba Katonda tebalisobola kuwangula bantu ba Yakuwa, kubanga Omukulembeze waabwe, Yesu Kristo, ayolekedde obuwanguzi obw’enkomerero!

Osobola Okuddamu?

• Byakulabirako ki eby’edda eby’abantu abaalina obuwagizi bwa Katonda?

• Bintu ki ebimu ebyawulawo eddiini ey’amazima?

• Lwaki oli mukakafu nti Abajulirwa ba Yakuwa balina obuwagizi bwa Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Abo abaagala okuwagirwa Katonda bateekwa okwesigamya enjigiriza zaabwe ku Kigambo kye

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Abakadde Abakristaayo bassaawo ekyokulabirako ekirungi eri ekisibo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza