Okuzimba Amaka Amanywevu mu by’Omwoyo
“Mubakuze mu kukangavvulanga ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.”—ABAEFESO 6:4, NW.
1. Katonda yalina kigendererwa ki eri amaka, naye kiki ekyaliwo?
“MMWEYONGERENGA mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:28) Yakuwa Katonda yayogera ebigambo ebyo eri Adamu ne Kaawa ng’atandikawo enteekateeka y’amaka. (Abaefeso 3:14, 15) Nga balowooza ku biseera eby’omu maaso, abafumbo abo abaasooka bandisobodde okuteebereza ensi ng’ejjudde abaana baabwe abatuukiridde nga beeyagalira mu lusuku lwa Katonda ku nsi era nga basinziza wamu Omutonzi waabwe ow’Ekitalo. Naye Adamu ne Kaawa baayonoona, era ensi teyajjula bantu batuukiridde era abatya Katonda. (Abaruumi 5:12) Mu kifo ky’ekyo, obulamu bw’amaka bwaddirira, era obukyayi, ettemu, ‘n’obutaagala ba luganda’ bicaase nnyo, naddala mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma.’—2 Timoseewo 3:1-5; Olubereberye 4:8, 23; 6:5, 11, 12.
2. Abaana ba Adamu baalina busobozi ki, naye kiki ekyali kyetaagisa okuzimba amaka amanywevu mu by’omwoyo?
2 Adamu ne Kaawa baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Wadde Adamu yali mwonoonyi, Yakuwa yamukkiriza okuzaala abaana. (Olubereberye 1:27; 5:1-4) Okufaananako Kitaabwe, abaana ba Adamu baali basobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Baali bayinza okuyigirizibwa engeri y’okusinzaamu Omutonzi waabwe era n’obukulu bw’okumwagala n’omutima gwabwe gwonna, emmeeme yaabwe yonna, ebirowoozo byabwe byonna n’amaanyi gaabwe gonna. (Makko 12:30; Yokaana 4:24; Yakobo 1:27) Ate era, baali bayinza okutendekebwa ‘okwoleka obwenkanya n’ekisa era n’okuba abawombeefu nga batambula ne Katonda.’ (Mikka 6:8) Kyokka, olw’okubeera aboonoonyi, baali beetaaga okufuba ennyo okusobola okuzimba amaka amanywevu mu by’omwoyo.
Gula Ebiseera
3. Abazadde bayinza batya ‘okugula ebiseera’ okukuza abaana Abakristaayo?
3 Mu biseera bino ebizibu, okufuba okw’amaanyi kwetaagisa abaana okusobola ‘okwagala Yakuwa’ ‘akyayira ddala ekibi.’ (Zabbuli 97:10) Abazadde ab’amagezi ‘bagula ebiseera’ okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno obw’amaanyi. (Abaefeso 5:15-17) Bw’oba oli muzadde, oyinza otya okukola kino? Okusooka, manya by’olina okukulembeza, ng’ossaayo omwoyo ku ‘bintu ebisinga obukulu,’ nga mw’otwalidde okuyigiriza n’okutendeka abaana bo. (Abafiripi 1:10, 11) Eky’okubiri, gonza obulamu bwo. Kiyinza okukwetaagisa okulekayo ebintu ebiteetaagisa. Oba oyinza okweggyako ebintu ebitali bikulu ng’ate weetaaga ebiseera bingi okubiddukanya. Ng’omuzadde Omukristaayo, togenda kwejjusa nti wafuba okukuza abaana abatya Katonda.—Engero 29:15, 17.
4. Amaka gayinza gatya okukuumibwa nga gali bumu?
4 Ebiseera bye mumala n’abaana baabwe, naddala nga mwogera ku bintu eby’omwoyo, bigwanira ddala era y’engeri esingayo obulungi ey’okukuumamu amaka nga gali bumu. Mukole enteekateeka ey’okufuna ebiseera eby’okubeera awamu n’abaana bammwe. Kino tekitegeeza kubeera bubeezi wamu mu nnyumba nga buli omu akola kikye. Abaana bakulaakulana mangu bwe baba bafiibwako buli lunaku. Beetaaga okwagalibwa n’okufiibwako ennyo. Nga tebannaba na kusalawo kuzaala baana, abafumbo bateekwa okulowooza ennyo ku buvunaanyizibwa buno obukulu. (Lukka 14:28) Bwe kityo, okukuza abaana tebajja kukutwala ng’omugugu. Wabula bajja kukutwala ng’enkizo ey’amaanyi.—Olubereberye 33:5; Zabbuli 127:3.
Yigiriza ng’Oteekawo Ekyokulabirako Ekirungi
5. (a) Okuyigiriza abaana bo okwagala Yakuwa kitandika naki? (b) Kubuulirira ki okuweebwa abazadde mu Ekyamateeka 6:5-7?
5 Okuyigiriza abaana bo okwagala Yakuwa kitandikira ku ggwe kennyini okuba ng’oyagala Yakuwa. Okwagala kw’olina eri Katonda kujja kukuleetera okugondera ebiragiro bye. Kino kitwaliramu okukuza abaana ‘mu kukangavvula ne mu kuyigiriza kwa Yakuwa.’ (Abaefeso 6:4) Katonda abuulirira abazadde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako, okunyumya nabo, n’okubayigiriza. Ekyamateeka 6:5-7 zigamba: “Onooyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n[‘]emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna. Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.” Bw’obabuulirira enfunda n’enfunda era n’oddiŋŋana by’obabuulirira, ojja kusobola okuyigiriza abaana bo amateeka ga Katonda. Bwe kityo abaana bo bajja kulaba nti oyagala Yakuwa era ekyo nabo kijja kubakubiriza okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere naye.—Engero 20:7.
6. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okugoberera ekyokulabirako kyabwe?
6 Abaana baagala nnyo okuyiga. Bawuliriza nnyo, beetegereza nnyo, era bakoppa mangu ekyokulabirako kyo. Bwe balaba nti toluubirira bintu, ekyo kibayamba okugoberera okubuulira kwa Yesu. Oba obayigiriza ‘okusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda,’ mu kifo ky’okweraliikirira ebikwata ku bintu. (Matayo 6:25-33) Bwe mwogera ku mazima ga Baibuli, ekibiina kya Katonda, n’abakadde abaalondebwa, muba muyigiriza abaana bammwe okussa ekitiibwa mu Yakuwa n’okusiima enteekateeka ze ez’eby’omwoyo. Okuva abaana bwe bayinza okumanya nti ekintu kyogerwa bwogezi naye tekiteekebwa mu nkola, enneeyisa yo n’endowooza yo biteekwa okwoleka nti naawe ossa mu nkola by’obayigiriza era nti osiima nnyo ebintu eby’eby’omwoyo. Nga kiba kya ssanyu abazadde bwe balaba nti ekyokulabirako kyabwe ekirungi kireetedde abaana baabwe okwagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna!—Engero 23:24, 25.
7, 8. Kyakulabirako ki ekiraga omuganyulo oguli mu kutendeka abaana nga bakyali bato, era ani asiimibwa olw’okukulaakulana okubaawo?
7 Omuganyulo gw’okutendeka abaana okuva mu buto guyinza okulabibwa mu kyokulabirako eky’omu Venezuela. (2 Timoseewo 3:15) Kikwata ku bafumbo, abayitibwa Félix ne Mayerlin. Baweereza nga bapayoniya. Mutabani waabwe Felito bwe yazaalibwa, baali beetegefu okukola kyonna kye basobola okumukuza ng’omusinza wa Yakuwa ow’amazima. Mayerlin yatandika okusomera Felito mu ddoboozi eriwulikika okuva mu My Book of Bible Stories, ekyakubikwa Abajulirwa ba Yakuwa. Ng’akyali muto nnyo, Felito yali asobola okutegeera Musa n’abantu abalala aboogerwako mu kitabo kino.
8 Felito yatandika okuwa obujulirwa ku lulwe ng’akyali muto. Yatuukiriza ekiruubirirwa kye eky’okufuuka omubuulizi w’Obwakabaka, era oluvannyuma yabatizibwa. Ekiseera bwe kyayitawo Felito yafuuka payoniya owa bulijjo. Bazadde be bagamba: “Bwe tulaba omwana waffe ng’akulaakulana, tusiima Yakuwa n’okubuulirira kwe.”
Yamba Abaana Okukula mu by’Omwoyo
9. Lwaki twandisiimye okuyigirizibwa okw’eby’omwoyo kwe tufuna okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi?
9 Waliwo magazini nnyingi nnyo, ebikumi n’ebikumi by’ebitabo, n’enkumi n’enkumi gy’emikutu gya Internet egiwa amagezi ku ngeri y’okukuzaamu abaana. Ekitundu eky’enjawulo ekikwata ku baana mu katabo ka Newsweek kigamba nti emirundi mingi ‘amagezi ago ag’enjawulo gakontana.’ Ekisinga n’okumalamu amaanyi kiri nti amagezi g’olowooza nti oyinza okugeesiga, oluvannyuma ogasanga nga makyamu ddala.’ Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa atukoledde enteekateeka ez’okuyigiriza n’okukulaakulanya amaka mu by’omwoyo! Weeyambisa enteekateeka zonna ezikolebwa okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi?—Matayo 24:45-47.
10. Okuyiga Baibuli okw’omu maka kuyinza kutya okuganyula abazadde n’abaana?
10 Ekintu ekikulu ennyo ekyetaagisa, bwe butayosa kuyigira awamu Baibuli ng’amaka era nga kikolebwa mu mbeera ennungi. Okusobola okukufuula okuganyula, okunyuma, era okuzzaamu amaanyi, kyetaagisa okutegeka obulungi. Abazadde balina okufuba okumanya ebiri ku mitima ne mu birowoozo by’abaana baabwe. Engeri emu ey’okumanyamu obanga ab’omu maka baganyulwa mu kuyiga kw’amaka kwe kuba nti bakwesunga.
11. (a) Biruubirirwa ki abazadde bye bayinza okuyamba abaana baabwe okweteerawo? (b) Kiki ekyavaamu omuwala omu Omujapani bwe yafuba okutuukiriza ekiruubirirwa kye?
11 Mu ngeri y’emu, ebiruubirirwa eby’omu Byawandiikibwa biyamba amaka okuba amanywevu mu by’omwoyo, era abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa ebyo. Ebiruubirirwa ebisaanira bizingiramu okusoma Baibuli buli lunaku, okufuuka omubuulizi w’amawulire amalungi atayosa, era n’okukulaakulana okutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa. Ebiruubirirwa ebirala biyinza okuzingiramu okuweereza nga payoniya, Omubeseri oba omuminsani. Ng’akyali mu bibiina ebisokerwako, omuwala Omujapani ayitibwa Ayumi yalina ekiruubirirwa eky’okubuulira buli omu mu kibiina kye. Okusobola okusikiriza omusomesa we ne bayizi banne, yafuna olukusa okuteeka ebitabo bya Baibuli ebitali bimu mu tterekero ly’ebitabo. N’ekyavaamu, yakola enteekateeka okuyigiriza abantu 13 Baibuli mu myaka omukaaga gye yamala mu bibiina ebisokerwako. Omu ku bayizi be aba Baibuli n’abalala ab’omu maka g’omuyizi oyo baafuuka Abakristaayo ababatize.
12. Abaana bayinza batya okuganyulwa ennyo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
12 Ekirala ekyetaagisa okusobola okubeera omunywevu mu by’omwoyo kwe kubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne ‘obutalekangayo kukuŋŋaana wamu, ng’abamu bwe beeyisa.’ Eyo ereme kufuuka mpisa yaffe, kubanga abato n’abakulu baganyulwa nnyo mu kubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa. (Abaebbulaniya 10:24, 25; Ekyamateeka 31:12) Abaana bandiyigiriziddwa okuwuliriza obulungi. Era kikulu nnyo okweteekerateekera enkuŋŋaana, kubanga okuzenyigiramu ne kituviiramu emiganyulo. Wadde omwana omuto ayinza okutandika ng’ayogera ebigambo bitono oba ng’asoma akatundu, kiba kya muganyulo nnyo singa abaana bayigirizibwa bo bennyini okunoonyereza eby’okuddamu era n’okubiteeka mu bigambo byabwe. Mmwe abazadde muteekawo ekyokulabirako nga muddamu eby’amakulu obutayosa? Era kiba kirungi buli yenna ali mu maka okubeera ne Baibuli, ekitabo ky’ennyimba, n’ekitabo ekiba kikozesebwa okukubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa.
13, 14. (a) Lwaki abazadde bandibuulidde n’abaana baabwe? (b) Kiki ekijja okufuula obuweereza bw’ennimiro okuba obw’omuganyulo era obw’essanyu eri abaana baabwe?
13 Abazadde ab’amagezi bajja kukubiriza abaana baabwe okuweereza Yakuwa, nga babayamba okufuula okubuulira ekintu ekikulu mu bulamu bwabwe. (Abaebbulaniya 13:15) Bwe babuulira n’abaana baabwe, abazadde bakakasa nti abaana baabwe bafuna okutendekebwa okwetaagisa okufuuka abaweereza ‘abatalina kibakwasa nsonyi, nga bakozesa bulungi ekigambo ky’amazima.’ (2 Timoseewo 2:15, NW) Kiri kitya gy’oli? Bw’oba oli muzadde oyamba abaana bo okweteekerateekera obuweereza bw’ennimiro? Okukola kino kiyamba obuweereza bwo okuba obw’essanyu, obw’amakulu, era obuganyula.
14 Lwaki kya muganyulo abazadde okubuulira n’abaana baabwe? Mu ngeri eno, abaana bayinza okulaba era ne bakoppa ekyokulabirako ekirungi eky’abazadde baabwe. Mu kiseera kye kimu, abazadde bayinza okulaba endowooza, empisa, n’obusobozi bw’abaana baabwe. Kakasa nti abaana bo beenyigira mu ngeri ez’enjawulo ez’obuweereza. Bwe kiba kisoboka, buli mwana yandibadde n’ensawo gy’akozesa mu kubuulira, era muyigirize okugikuuma nga nnyonjo era ng’eri mu mbeera nnungi. Ng’obayigiriza awatali kuddirira era ng’obazzaamu amaanyi, bajja kutandika okusiima obuweereza bw’ennimiro, era abaana bo bajja kutegeera nti omulimu gw’okubuulira ngeri ey’okulagamu Katonda ne muliraanwa okwagala.—Matayo 22:37-39; 28:19, 20.
Kulaakulanya Enkolagana Ennungi ne Katonda
15. Okuva bwe kiri ekikulu ennyo amaka okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, engeri ezimu ez’okukikolamu ze ziruwa?
15 Kikulu nnyo amaka okukulaakulanya enkolagana ennungi ne Katonda. (Zabbuli 119:93) Engeri emu ey’okukikolamu kwe kukubaganya ebirowoozo ku bintu eby’omwoyo n’ab’omu maka go buli lwe mufuna omukisa. Mukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa kya Baibuli eky’olunaku? Ye mpisa yammwe okukubaganya ebirowoozo ku bibeera mu buweereza bw’ennimiro oba ku nsonga ezaakafuluma mu magazini za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ‘nga mutambula mu kkubo’? Ojjukira okwebaza Yakuwa mu kusaba olw’obulamu n’enteekateeka ennyingi z’atuteereddewo ‘bw’ogalamira era bw’ogolokoka’ buli lunaku? (Ekyamateeka 6:6-9) Abaana bo bwe balaba ng’oyoleka okwagala Katonda mu buli ky’okola, ekyo kijja kubayamba okutwala amazima ng’ekintu ekikulu.
16. Muganyulo ki oguli mu kukubiriza abaana okukola okunoonyereza okwabwe?
16 Emirundi egimu abaana bajja kwetaaga obulagirizi okukola ku bizibu oba embeera ezijjawo. Mu kifo ky’okubagamba buli kiseera eky’okukola, lwaki tobalaga ngeri y’okuzuulamu endowooza ya Katonda ku nsonga ng’obakubiriza okukola okunoonyereza okwabwe ku bwabwe? Okuyigiriza abaana okweyambisa ebikozesebwa byonna n’ebitabo ebituweebwa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa’ kijja kubayamba okukulaakulanya enkolagana ennungi ne Yakuwa. (1 Samwiri 2:21b) Era bwe bakubaganya ebirowoozo ku bye banoonyereza mu Baibuli n’ab’omu maka abalala, enkolagana ennungi amaka gye galina ne Katonda yeeyongera okunywera.
Weesige Yakuwa mu Bujjuvu
17. Lwaki abazadde abali obwannamunigina tebandiweddemu maanyi bwe kituuka ku kukuza abaana baabwe ng’Abakristaayo?
17 Ate amaka ag’omuzadde ali obwannamunigina? Bano boolekagana n’okusoomooza okulala bwe kituuka ku kukuza abaana. Naye abazadde abali abwannamunigina temuggwaamu maanyi! Kisoboka okutuuka ku buwanguzi, nga bwe kiyinza okulabirwa ku bazadde abali obwannamunigina abeesize Katonda, era ne bateeka mu nkola okubuulirira kwe, era bwe kityo ne bakuza abaana abanywevu mu by’omwoyo. (Engero 22:6) Kya lwatu Abakristaayo abali obwannamunigina beetaaga okwesiga Yakuwa mu bujjuvu. Bateekwa okuba n’obwesige nti ajja kubayamba.—Zabbuli 121:1-3.
18. Byetaago ki eby’abaana ebikwata ku ndowooza n’omubiri abazadde bye banditaddeko omwoyo, naye essira bandiritadde ku ki?
18 Abazadde ab’amagezi bakitegeera nti ‘waliwo ekiseera eky’okuseka n’ekiseera eky’okuzannya.’ (Omubuulizi 3:1, 4) Ekiseera eky’okuwummulamu n’okwesanyusaamu okuzimba bintu bikulu nnyo mu kuzimba ebirowoozo by’omwana n’omubiri gwe. Ennyimba ezizimba naddala ennyimba ezitendereza Katonda bijja kuyamba omwana okukulaakulanya endowooza ennungi enkulu ennyo mu kunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. (Abakkolosaayi 3:16) Ekiseera ky’obuvubuka era kiba kyakweteekateeka okufuuka omuntu akuze mu by’omwoyo era atya Katonda, ne kiba nti ajja kweyongera okunyumirwa obulamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—Abaggalatiya 6:8.
19. Lwaki abazadde bayinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwabwe okw’okukuza abaana baabwe?
19 Yakuwa ayagala amaka gonna Amakristaayo okubeera amanywevu era nga gali bumu mu by’omwoyo. Singa ddala twagala Katonda era ne tufuba okugondera Ekigambo kye, ajja kuwa okufuba kwaffe omukisa era ajja kutuwa amaanyi ageetaagisa okusobola okugoberera obulagirizi bwe obwaluŋŋamizibwa. (Isaaya 48:17; Abafiripi 4:13) Jjukira nti omukisa gw’olina kati okuyigiriza n’okutendeka abaana bo teguggya kubaawo bbanga lyonna era tojja kuddamu kugufuna. Kola kyonna ky’osobola okussa mu nkola Ekigambo kya Katonda, era Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwo okw’okuzimba amaka amanywevu mu by’omwoyo.
Biki Bye Tuyize?
• Lwaki okugula ebiseera kikulu nnyo mu kutendeka abaana?
• Lwaki abazadde beetaaga okussaawo ekyokulabirako ekirungi?
• Engeri enkulu ez’okuyambamu abaana okukula mu by’omwoyo ze ziruwa?
• Amaka gayinza gatya okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20 21]
Ab’omu maka amanywevu mu by’omwoyo teboosa kusoma Kigambo kya Katonda, kugenda mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu obuweereza nga bali wamu