Laba, Omukozi w’Ebintu eby’Ekitalo!
“Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo.”—YOBU 37:14.
1, 2. Mu 1922, kiki kye baazuula eky’ekyewuunyo, era kiki ekyaliwo?
OMUKUGU eyeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda n’Omungereza ow’ekitiibwa okumala emyaka mingi baakolera wamu mu kunoonya eby’obugagga eby’omuwendo. Mu nkomerero, nga Noovemba 26, 1922, mu kifo we baaziikanga bafalaawo ba Misiri mu Kiwonvu kya Bakabaka, Howard Carter, omukugu eyeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda n’Ow’Ekitiibwa Carnarvon baazuula kye baali banoonya—entaana ya Falaawo Tutankhamen. Nga batuuse ku luggi olusibe, baalukubamu ekituli. Carter yakiyingizaamu omusubbaawa n’alingiza munda.
2 Oluvannyuma Carter yagamba: “Nga Ow’Ekitiibwa Carnarvon takyasobola kugumiikiriza, yabuuza, ‘Olina kyonna ky’olaba?’ Neekemba ne njogera ebigambo, ‘Ndaba, ebintu eby’ekitalo.’” Mu by’obugagga eby’omuwendo ebingi ebyali mu ntaana mwalimu esanduuko eya zaabu. Oyinza okuba walabako ebimu ku ‘bintu ebyo eby’ekitalo’ mu bifaananyi oba mu museum. Kyokka, wadde ebintu ebyo eby’omu museum bya kitalo, tebirina kakwate konna n’obulamu bwo. N’olwekyo, ka tudde ku bintu eby’ekitalo ebikukwatako era eby’omuwendo gy’oli.
3. Wa we tusanga ebikwata ku bintu ebirala eby’ekitalo ebiyinza okubeera eby’omuwendo gye tuli?
3 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku musajja eyaliwo ebyasa bingi ebiyiseewo, omusajja eyali omwatiikirivu ennyo n’okusinga omuzannyi wa firimu yenna omwatiikirivu, munnabyamizannyo omututumufu oba omuntu yenna mu lulyo olulangira. Yayitibwa omukulu okusinga abantu bonna ab’Ebuvanjuba. Erinnya lye oyinza okuba olimanyi—Yobu. Ekitabo kiramba mu Baibuli kimwogerako. Kyokka, omu ku bantu abaaliwo mu kiseera kya Yobu, omuvubuka ayitibwa Eriku, yawulira nga kimwetaagisa okuwabula Yobu. Eriku yagamba nti Yobu yali yeefaako nnyo ekisukkiridde era n’abo abaali naye. Mu Yobu ssuula 37, tusangamu amagezi amalala agayinza okuba ag’omuganyulo eri buli omu ku ffe.—Yobu 1:1-3; 32:1–33:12.
4. Kiki ekyaviirako Eriku okwogera ebigambo ebiri mu Yobu 37:14?
4 Abeetwala okuba mikwano gya Yobu abasatu, baayogera nnyo ku ngeri gye baalowoozaamu nti Yobu yali asobezza mu birowoozo oba mu bikolwa. (Yobu 15:1-6, 16; 22:5-10) Eriku yalindirira n’obugumiikiriza okutuusa bonna lwe baamala okwogera. Awo n’alyoka ayogera n’okutegeera n’amagezi. Yayogera ebikulu bingi, naye weetegereze ekirowoozo kino ekikulu: “Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo.”—Yobu 37:14.
Oyo Eyabikola
5. “Ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo” Eriku bye yayogerako bizingiramu ki?
5 Weetegereze nti Eriku teyagamba nti Yobu afeeyo ku bimukwatako oba ebikwata ku Eriku, oba ku bantu abalala bonna. Mu ngeri ey’amagezi, Eriku yakubiriza Yobu—era naffe—okufaayo ku bikolwa bya Yakuwa Katonda n’amakubo ge ag’ekitalo. Olowooza ebigambo “ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo” bizingiramu ki? Ate era, ng’oggyeko okufaayo ku bulamu bwo, eby’enfuna, ebiseera eby’omu maaso, amaka go, b’okola nabo, ne baliraanwa bo, lwaki wandifuddeyo ku bikolwa bya Katonda? Awatali kubuusabuusa, ebikolwa bya Yakuwa Katonda eby’ekitalo bizingiramu amagezi ge n’obuyinza bwe ku butonde bwonna obulabika obutwetoolodde. (Nekkemiya 9:6; Zabbuli 24:1; 104:24; 136:5, 6) Okutegeera obulungi ensonga eno, weetegereze ensonga eri mu kitabo kya Yoswa.
6, 7. (a) Yakuwa yakola bintu ki eby’ekitalo mu kiseera kya Musa ne Yoswa? (b) Singa walaba ebimu ku bikolwa ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Musa ne Yoswa, wandikoze ki?
6 Yakuwa yaleeta ebibonyoobonyo ku Misiri ey’edda era n’ayawulamu Ennyanja Emmyufu Musa asobole okukulembera Abaisiraeri okugiyitamu. (Okuva 7:1–14:31; Zabbuli 106:7, 21, 22) Waliwo ekintu ekifaananako ekyo ekyogerwako mu Yoswa essuula 3. Yoswa, eyaddira Musa mu bigere, yali wa kukulembera abantu ba Katonda okusomoka omugga omulala batuuke mu Nsi Ensuubize. Yoswa yagamba: “Mwetukuze, kubanga enkya Yakuwa ajja kukola ebintu eby’ekitalo mu mmwe.” (Yoswa 3:5, NW) Bintu ki eby’ekitalo?
7 Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa yakola ekkubo mu Mugga Yoludaani, enkumi n’enkumi z’abasajja, abakazi, n’abaana ne basobola okusomoka nga bayita ku ttaka ekkalu. (Yoswa 3:7-17) Singa twaliyo nga tulaba omugga nga gwawulibwamu era abantu abo bonna ne basomoka, twandiwuniikiridde olw’ekikolwa ekyo eky’ekitalo! Kyayoleka amaanyi ga Katonda ku butonde bwonna. Kyokka, ne kaakati—mu kiseera ky’obulamu bwaffe—waliwo ebintu eby’ekitalo bwe bityo. Okusobola okulaba ebimu ku byo era n’ensonga lwaki twandibirowoozezzaako, weetegereze Yobu 37:5-7, NW.
8, 9. Bintu ki eby’ekitalo Yobu 37:5-7 bye zoogerako, naye lwaki twandibirowoozezzaako?
8 Eriku yagamba: “Katonda abwatuka mu ngeri ey’ekitalo n’eddoboozi lye, ng’akola ebintu ebikulu bye tutayinza kutegeera.” Kiki Eriku kye yalina mu birowoozo bwe yayogera nti Katonda akola ebintu “mu ngeri ey’ekitalo”? Ayogera ku muzira n’enkuba ey’amaanyi. Bino byandiyimirizza omulimu gw’omulimi mu nnimiro ye, ne kimuleetera okufumiitiriza ku bikolwa bya Katonda. Tuyinza obutabeera balimi, naye enkuba n’omuzira biyinza okutukwatako ffenna. Okusinziira ku kifo gye tubeera, omuzira n’enkuba biyinza okuyimiriza emirimu gyaffe. Tuwaayo ebiseera okufumiitiriza ku oyo asibukako ebyewuunyo ebyo ne kye bitegeeza? Waali okikozeeko?
9 Nga bwe tusoma mu Yobu essuula 38, Yakuwa Katonda kennyini yayoleka endowooza y’emu bwe yabuuza Yobu ebibuuzo eby’amakulu. Wadde Omutonzi waffe yayolekeza ebibuuzo bino eri Yobu, kya lwatu bikwata ku ndowooza yaffe, okubeerawo kwaffe, n’ebiseera byaffe eby’omu maaso. N’olwekyo, ka tulabe ebyo Katonda bye yabuuza era tulowooze ne ku makulu agabirimu. Yee tukole ekyo Yobu 37:14 kye lutukubiriza okukola.
10. Yobu essuula 38 yanditukutteko etya, era ereetawo bibuuzo ki?
10 Essuula 38 etandika bw’eti: “Yakuwa n’alyoka addamu Yobu okuva mu mbuyaga n’ayogera nti: ‘Ani ono abikka ku magezi ng’ayogera ebigambo ebiteesigamye ku kumanya? Nkusaba weesibe ekimyu ng’omusajja ow’amaanyi, nkubuuze ebibuuzo, naawe onziremu.’” (Yobu 38:1-3, NW) Kino kyayoleka embeera eyaliwo. Kyayamba Yobu okukyusa mu ndowooza ye amanye nti ayimiridde mu maaso g’Omutonzi w’obutonde bwonna era nti avunaanyizibwa gy’ali. Ffe kennyini n’abaliwo mu kiseera kyaffe twandikoze ekintu ng’ekyo. Awo Katonda n’ayogera ku bintu Eriku bye yali ayogeddeko. “Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy’ensi? Yatula oba olina okutegeera. Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omug[u]wa? Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery’oku nsonda?”—Yobu 38:4-6.
11. Yobu 38:4-6 zandituleetedde kutegeera ki?
11 Yobu yali ludda wa—ffe twali ludda wa—ng’ensi essibwawo? Ffe twali abakubi ba pulaani, abaakuba pulaani y’ensi kwe tuli, era okusinziira ku pulaani eyo, ne tugera ebipimo byayo? Mazima ddala nedda! Abantu tebaali nawo mu kiseera ekyo. Ng’ageraageranya ensi yaffe ku kizimbe, Katonda yabuuza: “Ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery’oku nsonda?” Tumanyi nti ensi yeesudde ebbanga erisaanidde okuva ku njuba tusobole okubeerawo nga tuli balamu era nga tuli bulungi. Era obunene bwayo bwa kipimo kituufu. Singa ensi yali nnene okusingawo, omukka gwa hydrogen tegwandisobodde kuva mu bbanga eryetoolodde ensi era ensi yaffe teyandisobodde kubeeramu bulamu. Kya lwatu, waliwo “eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery’oku nsonda” mu kifo ekituufu. Yobu ye yakola ekyo? Ye ffe? Oba ye Yakuwa Katonda?—Engero 3:19; Yeremiya 10:12.
Muntu ki Alina eby’Okuddamu?
12. Ekibuuzo ekisangibwa mu Yobu 38:6 kituleetera kulowooza ku ki?
12 Katonda era yabuuza: “Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki?” Ekyo si kibuuzo kirungi? Oboolyawo tumanyi ekintu Yobu kye yali tamanyi—amaanyi ga gravity. Abasinga obungi ku ffe tumanyi nti amaanyi ga gravity okuva ku njuba gasobozesa ensi okunywerera mu kifo kyayo, ng’eringa esibiddwa ku misingi gyayo. Wadde kiri kityo, ani ategeerera ddala mu bujjuvu amaanyi ga gravity?
13, 14. (a) Kiki kye tuteekwa okukkiriza ku maanyi ga gravity? (b) Twanditutte tutya embeera eyogerwako mu Yobu 38:6?
13 Ekitabo ekyakafulumizibwa ekirina omutwe The Universe Explained kigamba nti ‘amaanyi ga gravity ge maanyi g’omu butonde agoogerwako ennyo, naye ate nga ge gasingayo okutegeerwa ekitono.’ Kyongerezaako: “Amaanyi ga gravity kirabika gatambula okuyita mu bbanga ejjereere embagirawo, nga tewali ngeri yonna erabikako kwe gatambulira. Kyokka, mu myaka egyakayita, abakugu mu bya sayansi batandise okuteebereza nti amaanyi ga gravity gayinza okuba gatambulira mu mayengo ag’obuntu obuyitibwa graviton . . . Naye tewali n’omu omukakafu nti obuntu obwo gye buli.” Lowooza ku makulu g’ebigambo ebyo.
14 Sayansi akulaakulanye okumala emyaka 3,000 kasokedde Yakuwa abuuza Yobu ebibuuzo ebyo. Wadde kiri kityo, tewali n’omu ku ffe oba abakugu mu bya sayansi asobola okunnyonnyolera ddala mu bujjuvu amaanyi ga gravity agakuumira ensi yaffe mu kkubo lyayo ettuufu, mu kifo kyennyini ekituufu mw’erina okubeera tusobole okubeera abalamu ku nsi. (Yobu 26:7; Isaaya 45:18) Kino tekitegeeza nti twetaaga okunoonyereza byonna ebitannamanyibwa ku maanyi ga gravity. Wabula, okulowooza yadde ku kikolwa kino ekimu mu bikolwa bya Katonda eby’ekitalo kyandibaddeko kye kikola ku ngeri gye tumutwalamu. Owuniikirira olw’amagezi ge n’okumanya kwe, era otegeera lwaki twetaaga okuyiga ebisingawo ebikwata ku by’ayagala?
15-17. (a) Yobu 38:8-11 zaayogera ku ki, ne kireetawo bibuuzo ki? (b) Kiki ekiteekwa okukkirizibwa ku bikwata ku gayanja aganene n’engeri gye gasengekeddwamu ku nsi?
15 Omutonzi yeeyongera okubuuza ebibuuzo bye: “Ani eyasiba ennyanja n’enzigi, bwe yawaguza ng’ekiva mu lubuto; bwe nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, n’ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby’okubikka, bwe nnagiragira etteeka lyange, ne nzisaawo ebisiba n’enzigi, ne njogera nti Wano w’okomanga so tosukkangawo; era wano amayengo go ag’amalala we gaziyirizibwanga?”—Yobu 38:8-11.
16 Okusiba ennyanja okwogerwako wano, kukwata ku nkalu z’ensi, agayanja aganene, era ne ku kukendeera n’okweyongera kw’amazzi ku mbalama z’ennyanja. Omuntu amaze bbanga ki ng’alaba era ng’ayiga ku bintu bino? Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka—ate ng’afubye nnyo mu kyasa ekiyise. Oyinza okukitwala nti ebisinga obungi ebiyinza okumanyibwa ku bintu bino biteekwa okuba nga bimanyiddwa kati. Kyokka, mu mwaka guno, 2001, singa onoonyereza ku nsonga eyo mu materekero g’ebitabo amanene ennyo oba n’okozesa omukutu gwa Internet okunoonyereza ku bippya ebyakavumbulwa ebikwata ku nsonga eno, kiki kye wandizudde?
17 Mu kitabo ekimu ekijulizibwamu ennyo, ojja kusangamu ebigambo bino: “Engeri enkalu z’ensi era n’entobo z’agayanja aganene gye byasengekebwamu awamu n’ebitundu ebirala ebikulu eby’ensi, bye bimu ku bintu ebisingiddeyo ddala okuba ebizibu okutegeerwa mu kunoonyereza kwa sayansi.” Oluvannyuma lw’okwogera bwe kityo, ekitabo ekyo kimenya ebintu bina ebiyinza okuba nga bye byaviirako ekyo naye era ne kigamba nti ebyo bye bimu “ku bintu ebingi ebiteeberezebwa obuteeberezebwa.” Nga bw’oyinza okumanya, ekintu ekiteeberezebwa “kiraga nti tewali bujulizi bumala okusobola okukinnyonnyola n’obukakafu.”
18. Yobu 38:8-11 zikuleetera kusalawo ki?
18 Ekyo tekiraga nti ebibuuzo bye tusoma mu Yobu 38:8-11, bituukirawo? Kikakafu nti, si ffe twateekateeka ebintu bino byonna ebiri ku nsi yaffe. Si ffe twateeka omwezi mu kifo kye gulimu amaanyi gaagwo gasobozesenga amazzi g’ennyanja obuteeyongera nnyo ku mbalama z’ennyanja ne gabuutikira ensi oba we tubeera. Omanyi eyabikola? Y’oyo Akola ebintu eby’ekitalo.—Zabbuli 33:7; 89:9; Engero 8:29; Ebikolwa 4:24; Okubikkulirwa 14:7.
Wa Yakuwa Ekitiibwa Ekimusaanira
19. Ebigambo ebiri mu Yobu 38:12-14 bituleetera kulowooza ku ki?
19 Abantu tebayinza kuweebwa kitiibwa olw’okwetooloola kw’ensi, okwogerwako mu Yobu 38:12-14. Okwetooloola okwo kusobozesa enjuba okuvaayo, era ng’emirundi mingi efaanana bulungi nnyo. Enjuba bwe yeeyongera okuvaayo, engeri ensi gy’efaananamu yeeyongera okulabibwa obulungi, ng’akabonero akasigala ku bbumba erirambiddwako n’ekintu. Bwe tulowooza ku ngeri ensi gy’etambulamu, twewuunya nti ensi teyeetooloolera ku sipiidi esukkiridde, ekyandibadde eky’akabi. Era teyeetooloola mpola nnyo ne kiba nti emisana n’ekiro biba biwanvu nnyo ne kireetawo ebbugumu n’empewo ebisukkiridde, ebitandisobozesezza obulamu bw’omuntu okubaawo. Mazima ddala, twandibadde basanyufu nti Katonda so si bantu, ye yagera sipiidi ensi kwe yeetooloolera.—Zabbuli 148:1-5.
20. Wandyanukudde otya ebibuuzo ebiri mu Yobu 38:16, 18?
20 Kati teeberezaamu nga Katonda akubuuzizza ebibuuzo bino ebiddako: “Wali oyingidde mu nsulo ez’ennyanja? Oba wali otambudde mu madubi g’obuziba?” Ne kakensa mu by’agayanja aganene tayinza kuddamu kibuuzo ekyo mu bujjuvu! “Wali otegedde ensi bw’eri engazi? Yatula, oba nga obimanyi byonna.” (Yobu 38:16, 18) Wali okyalidde era n’olambula ebitundu byonna eby’oku nsi, oba wadde ebisinga obungi? Okwekkaanya ebifo byonna ebirabika obulungi era n’ebintu ebyewuunyisa ku nsi kyandyetaagisizza ebiseera by’obulamu bwaffe bimeka? Era ebiseera ebyo nga byandibadde bya kitalo!
21. (a) Ebibuuzo ebiri mu Yobu 38:19 biyinza kuleetawo ndowooza ki eza sayansi? (b) Ebikwata ku kitangaala byandituleetedde kukola ki?
21 Era tunuulira ebibuuzo eby’omunda ebiri mu Yobu 38:19: “Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey’omusana [“ekitangaala,” NW], n’ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa?” Oyinza okuba okimanyi nti okumala ekiseera kiwanvu, kyalowoozebwanga nti ekitangaala kitambula nga jjengo, ng’obuyengoyengo bwe tulaba mu kidiba ky’amazzi. Mu 1905 Albert Einstein yannyonnyola nti ekitangaala kiringa butereke oba obuntu obusirikitu obulimu amaanyi. Ennyinnyonnyola eyo yali ematiza? Ekitabo ekimu ekyakafulumizibwa kigamba: ‘Bannasayansi tebamanyi oba ng’ekitangaala buntu busirikitu obutayinza kulabibwa oba nedda.’ Wadde kiri kityo, tweyongera okufuna ebbugumu (obutereevu oba obutali butereevu) okuva ku njuba, wadde nga tewali muntu asobola kunnyonnyola mu bujjuvu ebikolwa bya Katonda ku nsonga eno. Tufuna emmere n’omukka gwe tussa olw’okuba ebimera byeyambisa ekitangaala. Tuyinza okusoma, okulaba abaagalwa baffe, okulaba enjuba ng’egolooba, n’ebintu ebirala bingi. Nga tukola ekyo, tetwandisiimye ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo?—Zabbuli 104:1, 2; 145:5; Isaaya 45:7; Yeremiya 31:35.
22. Dawudi ow’edda yatwala atya ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo?
22 Ekigendererwa eky’okufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo kiri nti tuwuniikirire olw’ebikolwa ebyo? N’akatono. Omuwandiisi wa Zabbuli ow’edda yakkiriza nti tekisoboka kutegeera n’okwogera ku bikolwa bya Yakuwa byonna. Dawudi yawandiika: “Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi . . . singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako, tebibalika obungi.” (Zabbuli 40:5) Kyokka yali tategeeza nti teyandyogedde ku bikolwa bino eby’ekitalo. Dawudi yakakasa kino olw’obumalirivu bwe yalaga mu Zabbuli 9:1: “N[n]eebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna; n[n]aayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.”
23. Otwala otya ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo, era oyinza otya okuyamba abalala?
23 Naffe tetwandikwatiddwako mu ngeri y’emu? Okwewuunya ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo tekwandituleetedde okumwogerako, okwogera ku by’akoze, n’ebyo by’anaakola? Eky’okuddamu kya lwatu—‘twandibuulidde ekitiibwa kye mu mawanga, ebikolwa bye eby’ekitalo mu bantu bonna.’ (Zabbuli 96:3-5) Yee, tuyinza okusiima ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo nga tubuulira abalala bye tumuyizeeko. Wadde nga baakulira mu bantu ababuusa Omutonzi amaaso, bye twogera ebizimba era ebiyigiriza biyinza okubaleetera okukkiriza Katonda. Okusingawo ne ku ekyo, kiyinza okubaleetera okwagala okuyiga n’okuweereza oyo ‘eyatonda ebintu byonna,’ oyo Akola ebikolwa eby’ekitalo, Yakuwa.—Okubikkulirwa 4:11.
Wandizzeemu Otya?
• Ebigambo ebiri mu Yobu 37:14 bikuleetera kulowooza ku bikolwa ki ebya Katonda?
• Ebimu ku bintu ebyogerwako mu Yobu essuula 37 ne 38 sayansi by’atayinza kunnyonnyola mu bujjuvu bye biruwa?
• Owulira otya ku bikolwa bya Katonda eby’ekitalo, era kikuleetera kukola ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Ani yasiba ennyanja, n’agikuumira mu kifo kyayo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Ani yali akyalidde ebifo byonna ebifaanana obulungi ebiri ku nsi yaffe, Katonda bye yatonda?