LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Ddesemba lup. 8-13
  • Ebiri mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okukuyamba ng’Owabula Abalala

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebiri mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okukuyamba ng’Owabula Abalala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ENGERI MIKWANO GYA YOBU ABASATU GYE BAAMUWABULAMU
  • ENGERI ERIKU GYE YAWABULAMU YOBU
  • WEEYONGERE OKUGANYULWA MU EBYO EBIRI MU KITABO KYA YOBU
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okutuyamba nga Tulina Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • “Mwawulira Okugumiikiriza kwa Yobu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Ddesemba lup. 8-13

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 49

OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku

Ebiri mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okukuyamba ng’Owabula Abalala

“Kaakano Yobu, wulira ebigambo byange.”—YOB. 33:1.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba engeri ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu gye bisobola okutuyamba nga tuwabula abalala.

1-2. Mbeera ki mikwano gya Yobu abasatu ne Eriku gye baamusangamu?

YOBU bwe yafiirwa eby’obugagga bye byonna, abantu bangi mu kitundu ekyo baakitegeerako. Mikwano gya Yobu abasatu, Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali, bwe baamanya ku ekyo ekyali kimutuuseeko baagenda mu Uzi okumubudaabuda. Kyokka bwe baatuuka ne balaba embeera Yobu gye yalimu baatya nnyo.

2 Fumiitiriza ku ebyo ebyaliwo. Yobu yali tasigazza kantu konna. Ebisibo bye byonna byali bitwaliddwa nga mwe mwali endiga, ente, eŋŋamira, n’endogoyi. Abaana be n’abaweereza be bangi baali battiddwa. Ate era ennyumba abaana ba Yobu mwe baali yonna yali esaanyeewo. Okugatta ku ebyo, Yobu yalwala obulwadde obw’amaanyi era omubiri gwe gwonna gwali gujjudde amabwa. Mikwano gya Yobu abasatu bwe baali banaatera okumutuukako baamulaba ng’atudde mu vvu era nga munakuwavu nnyo. Baakwatibwako batya? Okumala ennaku musanvu baatuula awo butuuzi era tewali kye baayogera eri omusajja oyo eyali mu bulumi. (Yob. 2:​12, 13) Oluvannyuma lw’ekiseera, waliwo omuvubuka omuto ayitibwa Eriku eyajja n’atuula okumpi n’abasajja abo. Kyaddaaki, Yobu yatandika okwogera n’akolimira olunaku lwe yazaalibwa era n’asaba afe. (Yob. 3:​1-3, 11) Kwa lwatu, Yobu yali mu mbeera mbi era nga yeetaaga obuyambi. Ebyo abasajja abo bye bandyogedde n’engeri gye bandibyogeddemu byandiraze obanga mikwano gya Yobu aba nnamaddala, era obanga bamufaaako.

3. Biki bye tugenda okuyiga mu kitundu kino?

3 Yakuwa yaluŋŋamya Musa okuwandiika ebyo Eriku ne mikwano gya Yobu abasatu bye baayogera ne bye baakola. Kijjukire nti Yakuwa ye yaluŋŋamya Eriku okwogera ebigambo bye yayogera. Naye ebyo Erifaazi bye yayogera kirabika dayimooni ye yamuleetera okubyogera. (Yob. 4:​12-16; 33:​24, 25) Eyo y’ensonga lwaki mu kitabo kya Yobu tusangamu amagezi amalungi agakyasinze okuweebwa, ate mu kitabo kye kimu ne tusangamu n’amagezi amabi agaaweebwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu gye bisobola okutuyamba nga tuwabula abalala. Naye ka tusooke tulabe ekyokulabirako ekibi mikwano gya Yobu abasatu kye bassaawo. Oluvannyuma tujja kulaba ekyokulabirako ekirungi Eriku kye yassaawo. Nga twekenneenya ebyo ebikwata ku Eriku ne mikwano gya Yobu abasatu, tugenda kwetegereza engeri ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu gye byandiyambyemu Abayisirayiri era n’engeri gye bisobola okutuyamba leero.

ENGERI MIKWANO GYA YOBU ABASATU GYE BAAMUWABULAMU

4. Lwaki mikwano gya Yobu abasatu baalemererwa okumubudaabuda? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Bayibuli egamba nti mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira ebizibu bye yali afunye baagenda gy’ali ‘okumusaasira n’okumubudaabuda.’ (Yob. 2:11) Kyokka baalemererwa okutuukiriza ekyo ekyali kibatutte. Lwaki? Lowooza ku nsonga zino nga ssatu. Esooka, tebaamuwuliriza bulungi era baayanguwa okumusalira omusango. Ng’ekyokulabirako, baakitwala nti ebizibu Yobu bye yafuna byali biraga nti yali abonerezebwa olw’ebibi bye yakola.a (Yob. 4:7; 11:14) Eyokubiri, bingi ku ebyo abasajja abo bye baayogera ne Yobu byali tebimuyamba, tebyali bya kisa, era byali birumya. Ng’ekyokulabirako, buli omu ku basajja abo abasatu alina ebigambo bye yayogera ebyalabika ng’ebirungi naye nga si bituufu. (Yob. 13:12) Emirundi ebiri Birudaadi yagamba nti Yobu yali ayogera nnyo. (Yob. 8:2; 18:2) Ate ye Zofali yagamba nti Yobu yali ‘musirusiru.’ (Yob. 11:12) Eyokusatu, wadde ng’abasajja abo bayinza okuba nga baayogera ne Yobu mu ngeri erabika nti si ya bukambwe, ebyo bye baayogera n’engeri gye baabyogeramu, yamuleetera okulumirizibwa omutima, n’okuwulira nti tayagalibwa era nti talina mugaso. (Yob. 15:​7-11) Abasajja abo mu kifo ky’okubudaabuda Yobu n’okumuzzaamu amaanyi, essira baalissa ku kumulaga nti mwonoonyi.

Omu ku mikwano gya Yobu ng’ayogera naye mu ngeri ey’obukambwe nga mikwano gye abalala babiri balaba. Yobu, atudde wansi, omubiri gwe gujjudde amayute, era awuliriza ebyo bye bamugamba.

Bw’oba owabula abalala weewale okubafeebya. Ekiruubirirwa kyo kirina kuba kya kubayamba (Laba akatundu 4)


5. Ebyo mikwano gya Yobu abasatu bye baamugamba byavaamu ki?

5 Tekyewuunyisa nti ebigambo abasajja abo bye baayogera tebyavaamu kalungi konna. Byaleetera Yobu okuwulira obubi n’okusinga bwe yali nga tebannabyogera. (Yob. 19:2) Abasajja abo gye baakoma okwogera eby’obulimba, Yobu gye yakoma okuwulira nti alina okubaako ky’ayogera okusobola okwewozaako. Ekyo kyamuviirako obutaba na ndowooza nnuŋŋamu bw’atyo n’ayogera ebintu bye yejjusa oluvannyuma. (Yob. 6:​3, 26) Mikwano gya Yobu abasatu tebaalina ndowooza ya Yakuwa, era tebaayisa Yobu mu ngeri ya kisa. N’ekyavaamu, Sitaani yasobola okubakozesa okumalamu Yobu amaanyi. (Yob. 2:​4, 6) Ebyo bye tusoma ku Yobu byandiganyudde bitya abaweereza ba Katonda abaaliwo mu biseera eby’edda, era naffe bisobola bitya okutuganyula leero?

6. Kiki abakadde mu Isirayiri kye baali basobola okuyigira ku ngeri embi mikwano gya Yobu abasatu gye baamuwabulamu?

6 Engeri Abayisirayiri gye bandiganyuddwa. Yakuwa bwe yateekawo eggwanga lya Isirayiri, yalonda abasajja abatuukiriza ebisaanyizo, abakadde, okulamula eggwanga eryo nga bakolera ku mitindo gye egy’obutuukirivu. (Ma. 1:​15-18; 27:1) Abakadde abo baalina okusooka okuwuliriza obulungi nga tebannawa magezi oba okusala emisango. (2 Byom. 19:6) Era baabanga balina okubuuza ebibuuzo mu kifo ky’okukitwala nti bamanyi byonna ebizingirwamu. (Ma. 19:18) Ate era baalinanga okwewala okwogera mu ngeri ey’obukambwe eri abo abaabatuukiriranga nga baagala obuyambi, kibasobozese okubabuulira ekyo kyennyini ekibali ku mutima. (Kuv. 22:​22-24) Mazima ddala abakadde mu Isirayiri bwe bandifumiitirizza ku ebyo ebikwata ku Yobu, bandiganyuddwa nnyo.

7. Abakadde mu Isirayiri be bokka abaali basobola okuwabula abalala, era Abayisirayiri bandiganyuddwa batya bwe bandifumiitirizza ku ngeri Yobu gye yawabulwamu? (Engero 27:9)

7 Kya lwatu, abakadde mu Isirayiri si be bokka abaalina obuvunaanyizibwa obw’okuwabula abalala. Omuyisirayiri yenna kabe muto oba mukulu, musajja oba mukazi, yabanga asobola okuwabula Muyisirayiri munne ku ngeri y’okusinzaamu Katonda, oba ku ngeri entuufu gy’asaanidde okweyisaamu. (Zab. 141:5) Ow’omukwano owa nnamaddala aba mwetegefu okukuwabula bwe kiba kyetaagisa. (Soma Engero 27:9.) Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya mikwano gya Yobu abasatu ekibi, kyandiyambye Abayisirayiri okumanya ebyo bye basaanidde okwewala okwogera oba okukola nga bawabula abalala.

8. Bintu ki bye tusaanidde okwewala nga tuwabula abalala? (Laba n’ebifaananyi.)

8 Engeri gye tusobola okuganyulwa. Ng’Abakristaayo twagala okuyamba bakkiriza bannaffe nga boolekagana n’ebizibu. Ekyo okusobola okukikola tulina okwewala ekyo mikwano gya Yobu abasatu kye baakola. Lowooza ku bintu bino bisatu ebisobola okutuyamba. Ekisooka, bwe tuba tetunnawabula balala tusaanidde okukakasa nti tumanyi byonna ebizingirwamu. Ekyokubiri, bwe tuba tuwabula abalala tetulina kwesigama ku bumanyirivu bwe tulina, nga Erifaazi bwe yakola. Mu kifo ky’ekyo, bye twogera tusaanidde okubyesigamya ku Kigambo kya Katonda. (Yob. 4:8; 5:​3, 27) Ekyokusatu, tusaanidde okwewala okukozesa ebigambo ebitali bya kisa era eby’obukambwe. Kijjukire nti Erifaazi ne mikwano gye ababiri ebimu ku bigambo bye baayogera byali bituufu. Mu butuufu omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okujuliza ebimu ku bigambo bya Erifaazi. (Geraageranya Yobu 5:13 ne 1 Abakkolinso 3:19.) Wadde kyali kityo, bingi ku ebyo bye baayogera byali bivumaganya Katonda era byalumya Yobu. N’olwekyo, Yakuwa yakitwala nti ebyo bye baayogera byali bya bulimba. (Yob. 42:​7, 8) Tusaanidde okukijjukira nti okuwabula okulungi tekuleetera balala kutwala Yakuwa nti mukakanyavu oba kuleetera abaweereza be okuwulira nti si ba mugaso. Kati ka tulabe ebyo bye tusobola okuyigira ku Eriku.

Ebifaananyi: Ow’oluganda ng’awabula ow’oluganda omulala omusunguwavu mu ngeri ey’okwagala. 1. Ow’oluganda awuliriza bulungi ow’oluganda oyo omusunguwavu ng’amweyabiza. Batudde ku lubalaza lw’ennyumba era balina n’eby’okunywa. 2. Ow’oluganda awuliriza abikudde Bayibuli. 3. Ow’oluganda oyo akozesa Ebyawandiikibwa okubuulirira ow’oluganda omusunguwavu.

Bw’oba olina gw’owabula, (1) kakasa nti omanyi byonna ebizingirwamu, (2) by’oyogera byesigamye ku Kigambo kya Katonda, ne (3) yogera mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala (Laba akatundu 8)


ENGERI ERIKU GYE YAWABULAMU YOBU

9. Lwaki Yobu yali yeetaaga okubudaabudibwa oluvannyuma lw’okwogera ne mikwano gye abasatu, era Yakuwa yamuyamba atya?

9 Yobu ne mikwano gye abasatu we baamalira okwogera, kirabika embeera yali etabuse. Abasajja abo ebintu bye baayogera byali bingi nnyo nga bijjuza essuula 28 eza Bayibuli, era bingi ku byo baabyogera basunguwavu. Ekyo kituyamba okulaba ensonga lwaki Yobu yasigala alina obulumi ku mutima! Yali akyetaaga okubudaabudibwa n’okutereezebwa. Yakuwa yayamba atya Yobu? Yakozesa Eriku okumuwabula. Eriku yalinda abasajja abo bamale okwogera naye asobole okubaako ky’ayogera. Yagamba nti: “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakadde. Kyenvudde nsirika olw’okuba mbassaamu ekitiibwa.” (Yob. 32:​6, 7) Eriku eyali akyali omuto yategeera ekintu kino ekikulu bangi kye bakkiriza leero: Olw’okuba abakaddiye baba bawangadde emyaka mingi era nga bayize ebintu bingi mu bulamu, baba n’amagezi n’obumanyirivu abo abakyali abato bye baba batalina. Naye Eriku bwe yamala okuwuliriza Yobu ne mikwano gye abasatu, yali takyayinza kusirika. Yagamba nti: “Okukula si kwe kwokka okugeziwaza omuntu, era abakadde si be bokka abamanyi ekituufu.” (Yob. 32:9) Biki Eriku bye yaddako okwogera era yabyogera atya?

10. Kiki Eriku kye yakola nga tannawabula Yobu? (Yobu 33:​6, 7)

10 Eriku bwe yali tannawabula Yobu yateekawo embeera ennungi. Mu ngeri ki? Yasooka n’akkakkana nga tannaba kwogera na Yobu. Bayibuli eraga nti mu kusooka Eriku yali musunguwavu nnyo. (Yob. 32:​2-5) Kyokka Eriku bwe yali awabula Yobu, teyamuwabula nga musunguwavu. Mu kifo ky’ekyo, yayogera naye mu ngeri ey’ekisa era emuzzaamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, yagamba Yobu nti: “Laba! Nze nninga ggwe mu maaso ga Katonda.” (Soma Yobu 33:​6, 7.) Oluvannyuma Eriku yakiraga nti yali awulirizza bulungi ebyo byonna Yobu bye yali ayogedde. Mu butuufu, yawumbawumbako ebyo byonna bye yali awulidde Yobu ng’ayogera. (Yob. 32:11; 33:​8-11) Eriku bwe yafuna akakisa akalala okuddamu okuwabula Yobu, yakola ekintu kye kimu.—Yob. 34:​5, 6, 9; 35:​1-4.

11. Eriku yawabula atya Yobu? (Yobu 33:1)

11 Eriku bwe yali awabula Yobu, yakikola mu ngeri eyali eraga nti assaamu ekitiibwa omusajja oyo omwesigwa. Ng’ekyokulabirako, Eriku bwe yali ayogera ne Yobu yakozesa erinnya lye, ng’ate mikwano gye abasatu bwe baali boogera naye kirabika tebaalikozesa. (Soma Yobu 33:1.) Kirabika yajjukira nti Yobu n’emikwano gye abasatu bwe baali boogera, naye yabangako ky’ayagala okwogera. N’olwekyo bwe yali awabula Yobu yamuwa akakisa naye okubaako ky’ayogera. (Yob. 32:4; 33:32) Eriku era yalabula Yobu ku ndowooza enkyamu gye yalina, era mu ngeri ey’ekisa n’amuyamba okufumiitiriza ku magezi ga Yakuwa, amaanyi ge, obwenkanya bwe, n’okwagala kwe okutajjulukuka. (Yob. 36:​18, 21-26; 37:​23, 24) Engeri ennungi Eriku gye yawabulamu Yobu yamuyamba okutereeza endowooza ye bw’atyo n’aba mwetegefu okukkiriza okuwabula okwandimuweereddwa, nga ku mulundi guno kuva butereevu eri Yakuwa. (Yob. 38:​1-3) Okufumiitiriza ku ngeri Eriku gye yawabulamu Yobu kyandiyambye kitya abaweereza ba Yakuwa abaaliwo mu biseera eby’edda, era naffe kiyinza kitya okutuyamba leero?

12. Yakuwa yakozesa atya bannabbi okuyamba Abayisirayiri, era Abayisirayiri bandiganyuddwa batya bwe bandifumiitirizza ku ebyo ebikwata ku Eriku?

12 Engeri Abayisirayiri gye bandiganyuddwa. Mu biseera eby’edda, Yakuwa yakozesanga bannabbi okuyigiriza n’okuwabula abantu be. Ng’ekyokulabirako, mu biseera by’abalamuzi Yakuwa yakozesa nnabbi Debola okuwa eggwanga lya Isirayiri obulagirizi mu by’omwoyo. Ate era Yakuwa yakozesa Samwiri okuba omwogezi we eri eggwanga eryo okuviira ddala ng’akyali muto. (Balam. 4:​4-7; 5:7; 1 Sam. 3:​19, 20) Ate oluvannyuma mu kiseera kya bakabaka ba Isirayiri, Yakuwa yakozesanga bannabbi okunyweza abantu be mu by’omwoyo n’okuyamba abo abaabanga bawabye okuva mu kusinza okulongoofu. (2 Sam. 12:​1-4; Bik. 3:24) Okufumiitiriza ku ebyo ebikwata ku Eriku ebyawandiikibwa mu kitabo kya Yobu, kyali kisobola okuyamba abaweereza ba Katonda abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’edda okumanya ebyo bye baalina okwogera, n’engeri gye baalina okubyogeramu nga bawabula abalala.

13. Abakristaayo bayinza batya okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi?

13 Engeri gye tuganyulwa. Ng’Abakristaayo, tumanyisa abalala ebyo ebikwata ku kigendererwa kya Katonda nga tubabuulira ebyo ebiri mu Kigambo kye, Bayibuli. Engeri endala gye tumanyisaamu ekigendererwa kya Katonda, kwe kukozesa ebigambo ebizimba era ebizzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. (1 Kol. 14:3) Okusingira ddala abakadde basaanidde okwogera mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala nga ‘babudaabuda’ bakkiriza bannaabwe, nga mw’otwalidde n’abo abayinza okwogera ebigambo “ebitaliimu nsa” olw’ebizibu bye baba boolekagana nabyo.—1 Bas. 5:14; Yob. 6:3.

14-15. Abakadde bayinza batya okukoppa Eriku? Waayo ekyokulabirako.

14 Lowooza ku mbeera eno. Omukadde omu akitegeerako nti waliwo mwannyinaffe mu kibiina omwennyamivu. Omukadde oyo n’ow’oluganda omulala bakola enteekateeka okukyalira mwannyinaffe oyo okumuzzaamu amaanyi. Bwe bamukyalira, tayogera nabo bulungi era abagamba nti wadde ng’afuba okubuulira n’okubaawo mu nkuŋŋaana, awulira nga si musanyufu. Kiki omukadde oyo ky’anaakola okuyamba mwannyinaffe oyo?

15 Okusookera ddala, ajja kufuba okumanya ensonga lwaki mwannyinaffe oyo yeewulira bw’atyo. Okusobola okumanya ensonga eyo, kijja kumwetaagisa okuwuliriza obulungi. Omukadde oyo ayinza okulowooza ku bibuuzo nga bino: Kyandiba nti mwannyinaffe oyo awulira nti tagwanira kwagalwa Yakuwa? Oba “okweraliikirira eby’obulamu” kwe kumuleetedde okuggwaamu amaanyi? (Luk. 21:34) Ekyokubiri, omukadde oyo era ajja kufuba okusiima mwannyinaffe. Ng’ekyokulabirako, ayinza okumwebaza olw’okufuba okubuulira n’okubangawo mu nkuŋŋaana wadde ng’oluusi tekimubeerera kyangu. Ekyokusatu, omukadde bw’amala okutegeera obulungi embeera ya mwannyinaffe oyo n’ekyo ekiyinza okuba nga kimuleetedde okuba omwennyamivu, ajja kukozesa Bayibuli okumukakasa nti Yakuwa amwagala.—Bag. 2:20.

WEEYONGERE OKUGANYULWA MU EBYO EBIRI MU KITABO KYA YOBU

16. Tuyinza tutya okweyongera okuganyulwa mu ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu?

16 Awatali kubuusabuusa tufuna eby’okuyiga bingi bwe twekenneenya ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu! Mu kitundu ekyayita, twalaba nti ekitabo kya Yobu kiraga ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona, era kituyigiriza engeri gye tuyinza okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa wadde nga twolekagana n’ebizibu. Ate ekitundu kino kituyambye okulaba engeri gye tusobola okuwabulamu abalala obulungi nga tukoppa Eriku, mu kifo ky’okukoppa mikwano gya Yobu abasatu. Oboolyawo osobola okuddamu ne weekenneenya ebyo bye tuyize mu kitabo kya Yobu ng’oliko omuntu gw’ogenda okuwabula. Ate bwe waba nga wayiseewo ebbanga bukya osoma ekitabo kya Yobu, oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuddamu okukisoma. Ojja kukiraba nti ekitabo kya Yobu kikyali kya muganyulo nnyo leero nga bwe kyali nga kyakawandiikibwa.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Biki bye tusaanidde okwewala okwogera n’okukola nga tuwabula abalala?

  • Kiki kye tuyigira ku ngeri Eriku gye yawabulamu Yobu?

  • Tuyinza tutya okweyongera okuganyulwa mu kitabo kya Yobu?

OLUYIMBA 125 “Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”

a Kirabika dayimooni ye yaleetera Erifaazi okulowooza nti Yakuwa talina muntu gw’atwala nti mutuukirivu era nti tewali muntu asobola kumusanyusa. Erifaazi yakkiriza endowooza eyo enkyamu, era endowooza eyo yeeyolekera mu ebyo byonna bye yayogera.—Yob. 4:17; 15:​15, 16; 22:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza