LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 1/1 lup. 3-5
  • Okukkiriza Kuyinza Okukyusa Obulamu Bwo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okukkiriza Kuyinza Okukyusa Obulamu Bwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okukkiriza Kuyinza Okukyusa Obulamu bw’Amaka
  • Okukkiriza Kuyamba Abo Abanyoomebwa
  • Okukkiriza Okutuufu
  • Kirage nti Okkiririza mu Bisuubizo bya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • “Twongere Okukkiriza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Okukkiriza—Engeri Etuyamba Okuba Abanywevu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ddala Okkiririza mu Mawulire Amalungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 1/1 lup. 3-5

Okukkiriza Kuyinza Okukyusa Obulamu Bwo

“MAZIMA ddala kisoboka okubeera n’empisa ennungi awatali Katonda.” Bino byayogerwa omuntu alina endowooza nti tekisoboka kumanya obanga Katonda gy’ali oba nedda. Yagamba nti yakuza abaana be nga ba mpisa nnungi, era nabo ne bakuza abaana baabwe nga ba mpisa nnungi​—byonna awatali kukkiririza mu Katonda.

Kino kitegeeza nti tekyetaagisa kukkiririza mu Katonda? Kirabika omuntu oyo bw’atyo bwe yalowooza. Era kituufu nti si buli muntu yenna atakkiririza mu Katonda aba muntu mubi. Omutume Pawulo yayogera ku “b’amawanga” abatamanyi Katonda naye ‘mu buzaaliranwa abakola eby’amateeka.’ (Abaruumi 2:14) Bonna​—nga mw’otwalidde n’abalina endowooza nti tekisoboka kumanya obanga Katonda gy’ali oba nedda​—baazaalibwa n’omuntu ow’omunda. Bangi bagezaako okugoberera omuntu waabwe ow’omunda wadde nga tebakkiririza mu Katonda eyabawa engeri eyo ey’omunda ey’okusalawo ekituufu n’ekikyamu.

Kyokka, okukkiriza okunywevu mu Katonda​—okwesigamiziddwa ku Baibuli​—kwa muganyulo nnyo mu kukola ekirungi okusinga obulagirizi bw’omuntu ow’omunda. Okukkiriza okwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, Baibuli, kuyigiriza omuntu ow’omunda, kumusobozesa bulungi okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.(Abaebbulaniya 5:14) Ate era, okukkiriza kunyweza abantu ne basobola okukuuma emitindo egya waggulu nga boolekaganye n’okunyigirizibwa okw’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa ekya 20, ensi nnyingi zaatandika okufugibwa bannabyabufuzi aboonoonefu, abaakaka abantu abalungi okukola ebikolobero. Kyokka, abo abaalina okukkiriza okwa nnamaddala mu Katonda baagaana okwekkiriranya emitindo gyabwe, wadde ng’ekyo kyateeka obulamu bwabwe mu kabi. Okugatta ku ekyo, okukkiriza okwesigamiziddwa ku Baibuli kuyinza okukyusa abantu. Kuyinza okununula abantu ababuze era ne kuyamba abantu okwewala ensobi ez’amaanyi. Weetegereze ebyokulabirako bino.

Okukkiriza Kuyinza Okukyusa Obulamu bw’Amaka

“Okuyitira mu kukkiriza kwammwe mukoze ekitasoboka.” Bw’atyo bwe yayogera omulamuzi Omungereza bwe yasalawo ku bukuumi bw’abaana ba John ne Tania. John ne Tania bwe baatwalibwa mu b’obuyinza, tebaali bafumbo era obulamu bwabwe awaka bwali bubi nnyo. John, eyali yeekamirira amalagala era nga mukubi wa zzaala, yenyigiranga mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka okusobola okuwanirira empisa ze embi. Yayabulira abaana be ne maama waabwe. Kati olwo, “kyamagero” ki ekyali kibaddewo?

Lumu, John yawulira omwana wa muganda we omukulu ng’ayogera ku Lusuku lwa Katonda. Ng’abuguumiridde, yabuuza bazadde b’omulenzi ku nsonga eyo. Abazadde abo Bajulirwa ba Yakuwa, era baayamba John okuluyigako okuva mu Baibuli. Mpolampola, John ne Tania baakulaakulanya okukkiriza okwesigamiziddwa ku Baibuli okwakyusa obulamu bwabwe. Baawandiisa obufumbo bwabwe mu mateeka era ne bavvuunuka empisa zaabwe embi. Ab’obuyinza abeekenneenya amaka gaabwe baasanga ekintu ekyalabika ng’ekyali kitasoboka akabanga katono emabega​—amaka amasanyufu mu nnyumba ennyonjo, ekifo ekirungi omw’okukuliza abaana. Omulamuzi yali mutuufu okugamba nti “ekyamagero” kino kyaliwo olw’enzikiriza ya John ne Tania empya.

Enkumi n’enkumi za mayiro okuva e Bungereza, omukyala omuto okuva mu bitundu by’Ebuvanjuba ow’Okumpi yali anaatera okugattibwa ku muwendo gw’abo abali mu mbeera ey’ennaku. Yali ateekateeka okwegatta ku bukadde n’obukadde bw’abo abagattululwa mu bufumbo buli mwaka. Yalina omwana, naye omwami we yali amusinga nnyo obukulu mu myaka. Olw’ensonga eno, ab’eŋŋanda ze baali bamukubiriza okugattululwa mu bufumbo, era mu butuufu yali atandise okukola enteekateeka okukikola. Kyokka, yali ayiga Baibuli n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Omujulirwa ono bwe yamanya ku mbeera eyo, yannyonnyola Baibuli ky’eyogera ku bufumbo​—ng’ekyokulabirako, nti obufumbo kirabo ekiva eri Katonda so si kintu eky’okulagajjalira. (Matayo 19:4-6, 9) Omukazi yalowooza, ‘Kyewuunyisa nti omukazi ono, gwe simanyi, agezaako okuwonya obufumbo bwaffe ng’ate bo ab’eŋŋanda zange baagala kubusattulula.’ Enzikiriza ye empya yamuyamba okuwonyawo obufumbo bwe.

Embeera ey’ennaku ekwata ku bulamu bw’amaka kwe kuggyamu embuto. Lipoota y’ekibiina ky’Amawanga Amagatte yabalirira nti buli mwaka kumpi embuto obukadde 45 ziggibwamu mu bugenderevu. Buli kikolwa ng’ekyo kiba kya nnaku. Okumanya kwa Baibuli kwayamba omukyala okuva mu Philippines okwewala okufuuka omu ku abo.

Omukyala oyo yatuukirirwa Abajulirwa ba Yakuwa, n’akkiriza brocuwa ey’okuyigiramu Baibuli erina omutwe Katonda Atwetaagisa Ki?a era n’atandika okuyiga Baibuli. Nga wayiseewo emyezi, yannyonnyola lwaki. Omukyala ono yali lubuto Abajulirwa lwe baasooka okumukyalira, naye ye n’omwami we baali basazeewo okuggyamu olubuto olwo. Kyokka, ekifaananyi ky’omwana atannazaalibwa ku lupapula 24 olwa brocuwa kyakwata ku mutima gw’omukyala ono. Okunnyonnyola okugenderako okwesigamiziddwa ku Baibuli okugamba nti obulamu butukuvu kubanga ’Katonda ye nsibuko y’obulamu’ kwamukubiriza okusigaza omwana we. (Zabbuli 36:9) Kati ye maama w’omwana afaanana obulungi ennyo era omulamu obulungi.

Okukkiriza Kuyamba Abo Abanyoomebwa

Mu Ethiopia, abasajja babiri abaali bambadde obubi bajja mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa olw’okusinza. Ku nkomerero y’olukuŋŋaana, Omujulirwa omu yeeyanjula gye bali mu ngeri ey’omukwano. Abasajja abo baasaba okuweebwa ebintu. Omujulirwa ono teyabawa ssente, naye yabawa ekintu ekisingako obulungi. Yabakubiriza okukulaakulanya okukkiriza mu Katonda, ‘okusinga zaabu ow’omuwendo.’ (1 Peetero 1:7) Omu ku bo yasiima era n’atandika okuyiga Baibuli. Kino kyakyusa obulamu bwe. Bwe yeeyongera okunywera mu kukkiriza, yalekera awo okunywa sigala, okwekamirira omwenge, empisa ez’obugwenyufu, n’okugaaya amayirungi. Yayiga engeri y’okweyimirizaawo mu kifo ky’okusabiriza era kati atambulira mu bulamu obuyonjo era obuganyula.

Mu Italy omusajja ow’emyaka 47 yasalirwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka kkumi mu kkomera era n’ateekebwa mu ddwaliro ly’abalwadde b’obwongo abazizza emisango. Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa eyalina olukusa okuyingira mu kkomera okuwa obuyambi bw’eby’omwoyo yayiga naye Baibuli. Omusajja oyo yakulaakulana mangu. Okukkiriza kwakyusa nnyo obulamu bwe ne kiba nti abasibe abalala kati bajja gy’ali okuweebwa amagezi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebizibu byabwe. Okukkiriza kwe okwesigamiziddwa ku Baibuli kumuleetedde okuweebwa ekitiibwa, era n’okuteekebwamu obwesige ab’obuyinza mu kkomera.

Gye buvuddeko awo empapula z’amawulire zoogedde ku ntalo ez’omunda eziriwo mu Afirika. Ekisinga okwennyamiza kwe kutendekebwa kw’abaana abato okubeera abaserikale. Abaana bano baweebwa amalagala, batuntuzibwa, era bakakibwa okukola ebikolobero ku b’eŋŋanda zaabwe okukakasa nti obwesige bwabwe buli mu kibinja kye balwanirira kyokka. Okukkiriza okwesigamye ku Baibuli kwa maanyi ekimala okukyusa obulamu bw’abaana abato ng’abo? Mu ngeri bbiri kwasobola.

Mu Liberia, Alex, yaweerezanga mu Kkanisa y’Abakatuliki. Naye ku myaka 13, yeegatta ku kibinja ekirwanyi era n’afuuka omuserikale omuto ow’akabi. Okusobola okubeera omuzira mu kulwana, yenyigira mu busamize. Alex yalaba banne bangi nga battibwa, naye ye yawonawo. Mu 1997 yasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa era n’akizuula nti tebaamunyooma. Wabula, baamuyamba okulaba Baibuli ky’eyogera ku ttemu. Alex yava mu magye. Okukkiriza kwe bwe kweyongera okunywera, yagoberera ekiragiro kya Baibuli: “Yeewalenga obubi, akolenga obulungi; anoonyenga emirembe, agigobererenga.”​—1 Peetero 3:11.

Mu kiseera ekyo, Samson, eyaliko omuserikale omuto yajja mu kibuga Alex gye yali abeera. Yaliko omuyimbi mu kkanisa naye mu 1993 yafuuka omuserikale era ne yenyigira mu kwekamirira amalagala, obusamize, n’empisa ez’obugwenyufu. Mu 1997 yagobebwa mu magye. Samson yali agenda mu Monrovia okweyunga ku kibinja ekikuumi ky’eddembe eky’enjawulo mukwano gwe n’amusendasenda okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era n’ekyavaamu, yafuna okukkiriza okwesigamiziddwa ku Baibuli. Kino kyamuwa obuvumu okulekayo engeri ze ez’ekijaasi. Bombi Alex ne Samson kati bali mu bulamu obw’emirembe era obw’empisa ennungi. Waliwo ekintu kyonna okuggyako okukkiriza okwesigamye ku Baibuli ekiyinza okukyusa obulamu bw’omuntu obwali bwonooneddwa ennyo?

Okukkiriza Okutuufu

Bino bye bimu ku byokulabirako ebingi ennyo ebiyinza okuweebwa okulaga amaanyi g’okukkiriza okwa nnamaddala okwesigamiziddwa ku Baibuli. Kya lwatu, si buli omu agamba nti akkiririza mu Katonda atuukana n’emitindo gya Baibuli egya waggulu. Mazima ddala, abatakkiririza mu Katonda abamu bayinza okweyisa obulungi okusinga n’abo abeeyita Abakristaayo. Ekyo kiri kityo kubanga okukkiriza okwesigamiziddwa ku Baibuli kutwaliramu ekisingawo ku kugamba obugambi nti okkiririza mu Katonda.

Omutume Pawulo yannyonnyola okukkiriza nga “okuba omukakafu ku bisuubirwa, obutabuusabuusa ku bintu ebitannabaawo.” (Abaebbulaniya 11:1, NW) Bwe kityo, okukkiriza kutwaliramu okukkiriza okw’amaanyi​—okwesigamiziddwa ku bujulizi obukakafu​—mu bintu ebitalabika. Naddala kitwaliramu obutabuusabuusa nti Katonda gy’ali, nti atufaako, era nti ajja kuwa omukisa abo abakola by’ayagala. Omutume era yagamba: “Ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.”​—Abaebbulaniya 11:6.

Kukkiriza okw’engeri eyo kwe kwakyusa obulamu bwa John, Tania, n’abalala aboogeddwako mu kitundu kino. Kwabaleetera okuba n’obwesige obujjuvu mu Kigambo kya Katonda, Baibuli, n’okufuna obulagirizi mu kusalawo. Kwabayamba okwefiiriza ne balekayo ekkubo eribanguyira, naye nga kkyamu. Wadde buli kyakulabirako kyali kya njawulo, byonna byatandika mu ngeri y’emu. Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yayiga Baibuli n’abantu bano, era baatuukibwako Baibuli ky’egamba: “Ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi.” (Abaebbulaniya 4:12, NW) Amaanyi g’Ekigambo kya Katonda gaayamba buli muntu okuzimba okukkiriza okw’amaanyi okwakyusa obulamu bwe ne bulongooka.

Abajulirwa ba Yakuwa bali mu nsi n’ebizinga ebisukka mu 230. Bakwaniriza okuyiga Baibuli. Lwaki? Kubanga bakakafu nti okukkiriza okwesigamye ku Baibuli kuyinza okuleeta enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwo.

[Obugambo obuli wansi]

a Kaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]

Okukkiriza okwesigamiziddwa ku Baibuli kukyusa obulamu ne bulongooka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza