LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 1/1 lup. 6-11
  • Tetuddanga Ennyuma Mu Kuzikirira!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tetuddanga Ennyuma Mu Kuzikirira!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Kye Kitegeeza Okudda Ennyuma mu Kuzikirira
  • Engeri Abakristaayo Gye Baanyigirizibwamu Okudda Ennyuma
  • Lwaki Tebandizze Nnyuma mu Kuzikirira
  • Lwaki Tetwandizze Nnyuma mu Kuzikirira
  • Ka Tubeere Abantu Abalina Okukkiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Siima Enkizo gy’Olina ey’Okusinziza Yakuwa mu Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Ebbaluwa Etuyamba Okugumiikiriza n’Obwesigwa Okutuuka ku Nkomerero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 1/1 lup. 6-11

Tetuddanga Ennyuma Mu Kuzikirira!

“Tetuli bantu abadda ennyuma mu kuzikirira.”​—ABAEBBULANIYA 10:39, NW.

1. Mbeera ki ezaaviirako omutume Peetero okutya?

ABATUME bateekwa okuba nga beewuunya nnyo Mukama waabwe omwagalwa, Yesu bwe yabagamba nti bonna bajja kusaasaana bamwabulire. Ekintu ng’ekyo kyandisobodde kitya okubaawo mu kiseera ekyo we yali asinga okubeetaagira? Peetero yagamba: “Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.” Mu butuufu, Peetero yali musajja muzira era muvumu. Naye Yesu bwe yaliibwamu olukwe, era n’akwatibwa, abatume nga mw’otwalidde Peetero baamwabulira. Oluvannyuma, nga Yesu abuuzibwa ebibuuzo mu nnyumba ya Kabona Omukulu Kayaafa, Peetero yali wabweru mu luggya. Mu budde bw’ekiro obunnyogovu, kirabika Peetero yatandika okutya nti Yesu n’omuntu yenna akolagana naye ayinza okuttibwa. Abalabi abaaliwo bwe baategeera nti Peetero yali omu ku banne ba Yesu ab’oku lusegere, yatya nnyo. Emirundi esatu yeegaana nti alina enkolagana yonna ne Yesu. Peetero yeegaana n’okumumanya!​—Makko 14:27-31, 66-72.

2.(a) Lwaki okutya Peetero kwe yayoleka mu kiro Yesu kye yakwatibwamu tekumufuula ‘muntu adda ennyuma’? (b) Twandibadde na bumalirivu ki?

2 Ekyo kyali kiseera kizibu ddala mu bulamu bwa Peetero, awatali kubuusabuusa ekiseera kye yejjusa obulamu bwe bwonna. Naye, ekyo Peetero kye yakola ekiro ekyo kyamufuula omutiitiizi? Kyamufuula ‘omuntu’ omutume Pawulo oluvannyuma gwe yayogerako bwe yawandiika nti: “Kati tetuli bantu abadda ennyu- ma mu kuzikirira”? (Abaebbulaniya 10:39, NW) Abasinga obungi ku ffe tukkiriza nti ebigambo bya Pawulo tebikwata ku Peetero. Lwaki? Kubanga okutya kwa Peetero kwali kwa kaseera buseera, okuddirira okutono ennyo mu bulamu bwe mwe yayolekera obuvumu n’okukkiriza eby’enkukunala. Mu ngeri y’emu, bangi ku ffe tulina ebiseera mu bulamu bwaffe obw’emabega ebituleetera ensonyi bwe tubijjukira, ebiseera mwe twabuutikirwa okutya ne tutanywerera ku mazima n’obuvumu nga bwe twandyagadde. (Geraageranya Abaruumi 7:21-23.) Tuyinza okubeera abakakafu nti okuddirira ng’okwo okw’akaseera akatono tekutufuula bantu abadda ennyuma mu kuzikirira. Wadde kiri kityo, tuteekwa okubeera abamalirivu obutafuuka muntu wa ngeri eyo. Lwaki? Era tuyinza tutya okwewala okufuuka omuntu bw’atyo?

Kye Kitegeeza Okudda Ennyuma mu Kuzikirira

3. Bannabbi Eriya ne Yona baabuutikirwa batya okutya?

3 Pawulo bwe yawandiika ku “bantu abadda ennyuma,” yali tategeeza abo abalemererwa okwoleka obuvumu akaseera akamu akatono. Awatali kubuusabuusa Pawulo yali amanyi ebyatuuka ku Peetero n’ebirala ebifaananako. Eriya, nnabbi omuvumu ennyo, lumu yabuutikirwa okutya era n’adduka okuwonya obulamu bwe olw’okutiisibwatiisibwa Kkwini Yezeberi omubi. (1 Bassekabaka 19:1-4) Nnabbi Yona, ye, yakwatibwa encukwe ya maanyi. Yakuwa yamutuma mu kibuga ky’e Nineeve ekibi ennyo ekyali kimanyiddwa olw’ebikolwa eby’ettemu. Mangu ddala Yona yasaabala eryato eryali ligenda e Talusiisi​—ekiri mayiro 2,200 okuva e Nineeve! (Yona 1:1-3) Kyokka, tewali n’omu ku bannabbi bano abeesigwa wadde omutume Peetero ayinza okwogerwako ng’omuntu adda ennyuma. Lwaki?

4, 5. (a) Ennyiriri eziriraanyewo zituyamba zitya okumanya ekyo Pawulo kye yali ategeeza bwe yayogera ku ‘kuzikirira’ mu Abaebbulaniya 10:39? (b) Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba: “Tetuli bantu abadda ennyuma mu kuzikirira”?

4 Weetegereze ebigambo Pawulo bye yakozesa: “Kati tetuli bantu abadda ennyuma mu kuzikirira.” Yali ategeeza ki bwe yayogera ku “kuzikirira”? Ekigambo ky’Oluyonaani kye yakozesa emirundi egimu kitegeeza okuzikirizibwa emirembe gyonna. Ennyinnyonnyola eno etuukana n’ennyiriri eziriraanyewo. Pawulo yali yaakamala okulabula: “Bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeyo nate ssaddaaka olw’ebibi, wabula okulindirira n’obuti omusango, n’obukambwe obw’omuliro ogugenda okwokya abalabe.”​—Abaebbulaniya 10:26, 27.

5 Bwe kityo, Pawulo bwe yagamba bakkiriza banne, “Tetuli bantu abadda ennyuma mu kuzikirira,” yali ategeeza nti ye ne Bakristaayo banne abeesigwa abaasoma ebigambo ebyo, baali bamalirivu obutava ku Yakuwa n’okulekera awo okumuweereza. Okukola ekyo kyandivuddemu okuzikirizibwa emirembe gyonna. Yuda Isukalyoti yali muntu eyadda ennyuma mu kuzikirira ng’okwo, era nga bwe kyali eri abalabe abalala ab’amazima abaaziyiza omwoyo gwa Yakuwa mu bugenderevu. (Yokaana 17:12; 2 Abasessaloniika 2:3) Abantu ng’abo babalirwa mu ‘bati’ abazikirizibwa emirembe gyonna mu nnyanja ey’omuliro ey’akabonero. (Okubikkulirwa 21:8) Nedda, tetwagala n’akamu okubeera abantu ng’abo!

6. Setaani Omulyolyomi ayagala tukwate kkubo ki?

6 Setaani Omulyolyomi ayagala tudde ennyuma mu kuzikirira. Olw’okuba omukugu mu kukola “enkwe,” akimanyi nti ekkubo ng’eryo erivaamu akabi litandika mpolampola. (Abaefeso 6:11) Singa okuyigganyizibwa obutereevu kulemererwa okutuukiriza ky’ayagala, agezaako okunafuya okukkiriza kw’Abakristaayo ab’ama- zima okuyitira mu ngeri enneekusifu. Ayagala okulaba ng’Abajulirwa ba Yakuwa abavumu, abanyiikivu basirisibwa. Ka tulabe obukodyo bwe yakozesa ku Bakristaayo Abebbulaniya Pawulo be yawandiikako.

Engeri Abakristaayo Gye Baanyigirizibwamu Okudda Ennyuma

7. (a) Ebyafaayo by’ekibiina mu Yerusaalemi bye biruwa? (b) Mbeera ki ez’eby’omwoyo ezaaliwo eri abamu ku abo abaasoma Pawulo bye yawandiika?

7 Obujulizi bulaga nti Pawulo yawandiika ebbaluwa ye eri Abebbulaniya awo nga mu 61 C.E. Ekibiina mu Yerusaalemi kyayita mu bizibu bya maanyi. Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, okuyigganyizibwa okw’amaanyi kwajjawo, ne kuwaliriza Abakristaayo bangi mu kibuga ekyo okusaasaana. Kyokka, wajjawo ekiseera eky’emirembe, ne kisobozesa Abakristaayo okweyongera. (Ebikolwa 8:4; 9:31) Emyaka bwe gyagenda giyitawo, okuyigganyizibwa n’ebizibu ebirala byajjangawo ate ne biggwaawo. Kirabika nti mu kiseera ekyo Pawulo we yawandiikira ebbaluwa eri Abebbulaniya, ekibiina kyali kizzeemu okubeera mu kiseera eky’emirembe egy’ekigero. Wadde kyali kityo, waaliwo okunyigirizibwa. Kumpi waali wayiseewo emyaka asatu kasookedde Yesu alagula okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Kirabika waaliwo abamu abaalowooza nti enkomerero erudde nnyo era nti eyinza obutajja mu kiseera ky’obulamu bwabwe. Abalala, naddala abappya mu kukkiriza, baali tebannagezesebwa kuyigganyizibwa kwa maanyi era nga bamanyi kitono ku bwetaavu bw’okugumiikiriza wansi w’okugezesebwa. (Abaebbulaniya 12:4) Mazima ddala Setaani yagezaako okweyambisa embeera ng’ezo. ‘Nkwe’ ki ze yakozesa?

8. Abayudaaya bangi baalina ndowooza ki eri ekibiina Ekikristaayo ekippya?

8 Abayudaaya mu Yerusaalemi ne Buyudaaya baanyooma ekibiina ky’Abakristaayo ekippya. Okusinziira ku byali mu bbaluwa ya Pawulo, tuyinza okuteebereza ebimu ku bigambo ebivuma abakulembeze b’eddiini y’Abayudaaya ab’amalala bye baagamba Abakristaayo. Bayinza okuba baagamba: ‘Tulina yeekaalu ey’ekitalo mu Yerusaalemi, ebaddewo ebyasa n’ebyasa! Tulina kabona omukulu aweerezaayo, wamu ne bakabona abamuyambako. Ssaddaaka ziweebwayo buli lunaku. Tulina Amateeka, agaaweebwa Musa okuyitira mu bamalayika era gaaweebwa n’obubonero obw’amaanyi ku Lusozi Sinaayi. Akadiinidiini kano akaakatandika, Abakristaayo bano, abeewaggudde ku ddiini y’Ekiyudaaya, tebalina na kimu ku bintu bino!’ Okunyooma ng’okwo kwatuukiriza ekigendererwa kyakwo? Abakristaayo abamu Abebbulaniya kirabika baayisibwa bubi ebigambo ng’ebyo. Ebbaluwa ya Pawulo yabayamba mu kiseera kyennyini ekituufu.

Lwaki Tebandizze Nnyuma mu Kuzikirira

9. (a) Mutwe ki ogwogerwako ennyo mu bbaluwa eri Abebbulaniya? (b) Mu ngeri ki Abakristaayo gye baaweereza mu yeekaalu esinga ey’omu Yerusaalemi?

9 Ka twekkaanye ensonga bbiri Pawulo ze yawa baganda be ne bannyina abaali mu Buyudaaya obutadda nnyuma mu kuzikirira. Esooka​—obusukkulumu bw’enteekateeka y’Ekikristaayo ey’okusinza​—bwogerwako nnyo mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya. Mu bbaluwa ye yonna, Pawulo yakulaakulanya omutwe ogwo. Yeekaalu mu Yerusaalemi yali kifaananyi bufaananyi eky’ekyo ekisingawo obukulu, yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’emwoyo, ekizimbe ‘ekitaakolebwa na mikono.’ (Abaebbulaniya 9:11) Abakristaayo abo balina enkizo okuweereza mu nteekateeka eyo ey’eby’omwoyo ey’okusinza okulongoofu. Baaweereza wansi w’endagaano esingako obulungi, endagaano empya eyasuubizibwa okumala ebbanga ggwanvu, eyalina Omutabaganya asinga Musa, Yesu Kristo.​—Yeremiya 31:31-34.

10, 11. (a) Lwaki olunyiriri lwa Yesu olw’obuzaale terwamuziyiza kuweereza nga Kabona Omukulu mu yeekaalu ey’eby’omwoyo? (b) Mu ngeri ki Yesu nga Kabona Omukulu gye yali asinga kabona eyaweerezanga mu yeekaalu e Yerusaalemi?

10 Abakristaayo abo era baalina Kabona Omukulu, Yesu Kristo, asingira ewala obulungi. Teyava mu lunyiriri lwa Alooni. Wabula yali Kabona Omukulu ‘mu ngeri ya Merukizeddeeki.’ (Zabbuli 110:4) Merukizeddeeki, olunyiriri lw’obuzaale bwe olutaawandiikibwa, yali kabaka wa Ssaalemi era nga ye kabona waakyo omukulu. Bwe kityo, mu ngeri y’obunnabbi yali atuukana bulungi ne Yesu, obwakabona bwe obuteesigama ku lunyiriri lw’omuntu yenna atatuukiridde, naye ku kintu ekisingira ewala ennyo obulungi​—ekirayiro kya Yakuwa Katonda kennyini. Okufaananako Merukizeddeeki, Yesu taweereza nga Kabona Omukulu kyokka naye era nga Kabaka, atalifa.​—Abaebbulaniya 7:11-21.

11 Ate era, obutafaananako kabona mukulu mu yeekaalu e Yerusaalemi, Yesu kyali tekimwetaagisa kuwaayo ssaddaaka buli mwaka. Ssaddaaka gye yawaayo bwali bulamu bwe obutuukiridde, bwe yawaayo omulundi gumu. (Abaebbulaniya 7:27) Ssaddaaka ezo zonna ezaaweebwangayo mu yeekaalu zaali kisiikirize, kifaananyi bufaananyi eky’ekyo Yesu kye yawaayo. Ssaddaaka ye etuukiridde yasobozesa okusonyiyibwa kw’ebibi by’abo abaalaga okukkiriza. Ekirala ekibuguumiriza, bye bigambo bya Pawulo ebiraga nti Kabona ono Omukulu, ye Yesu atakyukakyuka, Abakristaayo mu Yerusaalemi gwe bali bamanyi. Yali mwetoowaze, wa kisa, era oyo ayinza ‘okulumirirwa obunafu bwaffe.’ (Abaebbulaniya 4:15; 13:8) Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta baalina essuubi ery’okuweereza nga bakabona awamu ne Kristo! Kati bandirowoozezza batya ku kudda ennyuma eri ebintu “ebitalina maanyi ebinafu” eby’eddiini y’Ekiyudaaya ennyonoonefu?​—Abaggalatiya 4:9.

12, 13. (a) Nsonga ki ey’okubiri Pawulo gye yawa lwaki tetwandizze nnyuma? (b) Lwaki obugumiikiriza bwabwe obw’emabega bwandizizzaamu amaanyi Abakristaayo Abebbulaniya obutadda nnyuma mu kuzikirira?

12 Nga gy’obeera eyo yali temala, Pawulo yawa Abebbulaniya ensonga ey’okubiri lwaki tebandizze nnyuma mu kuzikirira​—obugumiikiriza bwabwe. Yawandiika: “Mujjukire ennaku ez’edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okufuba okunene okw’ebibonoobono.” Pawulo yabajjukiza nti ‘baafuuka ekyerolerwa’ olw’ebivume n’okubonaabona. Abamu baasibibwa; abalala baalumirirwa abo abaali mu kkomera era ne babawagira. Yee, baali kyakulabirako ekirungi eky’okukkiriza n’obugumiikiriza. (Abaebbulaniya 10:32-34) Naye lwaki Pawulo yasaba ‘okujjukiranga’ eby’obulumi ng’ebyo bye baayitamu? Ekyo tekyandibamazzeemu maanyi?

13 Okwawukana ku ekyo, ‘okujjukira ennaku ez’edda’ kwandijjukizza Abebbulaniya engeri Yakuwa gye yabawaniriramu nga bagezesebwa. Awamu n’obuyambi bwe, baali bamaze okuziyiza okulumba kwa Setaani kungi. Pawulo yawandiika: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.” (Abaebbulaniya 6:10) Yee, Yakuwa yali ajjukira ebikolwa byabwe byonna eby’obwesigwa, ng’abiterese mu tterekero lye eritaliiko kkomo. Tujjukizibwa okubuulirira kwa Yesu okw’okutereka eby’obugagga mu ggulu. Tewali mubbi yenna ayinza okubba eby’obugagga bino; tewali nnyenje oba butalagge ebiyinza okubyonoona. (Matayo 6:19-21) Mu butuufu, eby’obugagga bino biyinza kuzikirizibwa olwo lwokka ng’Omukristaayo azze ennyuma mu kuzikirira. Ekyo kyandyonoonye eby’obugagga byonna bye yatereka mu ggulu. Ng’eyo nsonga ya maanyi nnyo Pawulo gye yawa Abakristaayo Abebbulaniya obutagoberera kkubo ng’eryo! Lwaki boonoona emyaka gyabwe gyonna egy’okuweereza n’obwesigwa? Kyandibadde kituufu era nga kisingira wala obulungi okweyongera okugumiikiriza.

Lwaki Tetwandizze Nnyuma mu Kuzikirira

14. Kusoomooza ki kwe twolekaganye nakwo okufaananako okwo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kwe baayolekagana nakwo?

14 Abakristaayo ab’amazima leero nabo balina ensonga ez’amaanyi lwaki tebandizze nnyuma. Okusooka, ka tujjukire omukisa gwe tulina olw’okusinza okulongoofu Yakuwa kw’atuwadde. Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, tuli mu kiseera ng’abagoberezi b’amadiini amaganzi batunyooma era nga batukiina, nga beenyumiriza mu bizimbe byabwe ebinene eby’eddiini n’obulombolombo bwabwe obwatandikawo mu biseera eby’edda. Kyokka, Yakuwa atukakasa nti asiima okusinza kwaffe. Mu butuufu, leero tulina emikisa Aba- kristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye bataalina. Oyinza okwebuuza, ‘Ekyo kiyinzika kitya?’ Baaliwo nga yeekaalu ey’eby’omwoyo etandika emirimu gyayo. Kristo yafuuka Kabona waayo Omukulu bwe yabatizibwa mu 29 C.E. Abamu ku bo baalaba Omwana wa Katonda eyakolanga ebyamagero. Wadde oluvannyuma lw’okufa kwe, waabaawo ebyamagero ebirala. Kyokka, nga bwe kyalagulwa, ebirabo ng’ebyo mu nkomerero byakoma.​—1 Abakkolinso 13:8.

15. Abakristaayo ab’amazima leero baliwo nga bunnabbi ki obutuukirizibwa, era kino kitegeeza ki gye tuli?

15 Kyokka, tuli mu kiseera eky’okutuukirizibwa okukulu okw’obunnabbi obukwata ku yeekaalu obuli mu Ezeekyeri essuula 40-48.a Bwe kityo, tulabye okuzibwawo kw’enteekateeka ya Katonda ey’okusinza okulongoofu. Yeekaalu eyo ey’eby’omwoyo erongooseddwa n’eggibwamu obulimba bwonna obw’eddiini n’okusinza ebifaananyi. (Ezeekyeri 43:9; Malaki 3:1-5) Lowooza ku nkizo okulongoosebwa kuno ze kutuwadde.

16. Mbeera ki emalamu amaanyi Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baayolekagana nayo?

16 Mu kyasa ekyasooka, ebiseera eby’omu maaso byalabika nga bibi nnyo eri ekibiina Ekikristaayo ekitegeke. Yesu yalagula nti kyandifaananyeko ennimiro esimbiddwamu eŋŋaano ennungi ate n’ekulamu eŋŋaano ey’omu nsiko, ne kikifuula kizibu okwawulawo eŋŋaano ennungi ku ŋŋaano ey’omu nsiko. (Matayo 13:24-30) Era bwe kyali. Ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka, ng’omutume Yokaana akaddiye akyakola ng’ekiziyiza eri obwonoonefu, obwewagguzi bwali bwatandika dda okukulaakulana. (2 Abasessaloniika 2:6; 1 Yokaana 2:18) Tewaayitawo kiseera kiwanvu oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, ne wajjawo ekibiina ky’abakadde b’ekkanisa ekyawufu ekyanyigiriza ekisibo era nga kyambala ebyambalo bya njawulo. Obwewagguzi bwasaasaana mangu. Nga kyali kimalamu nnyo amaanyi Abakristaayo abeesigwa! Baalaba ng’enteekateeka empya ey’okusinza okulongoofu eyonoonebwa. Kino kyatandikawo mu kiseera ekitaaweza na kyasa oluvannyuma lwa Kristo okutandikawo ekibiina.

17. Mu ngeri ki ekibiina Ekikristaayo mu kiseera kino gye kiwangadde okusinga kinnaakyo eky’omu kyasa ekyasooka?

17 Kati, lowooza ku kyawukana ku ekyo. Leero, okusinza okulongoofu kuwangadde ekiseera kiwanvu n’okusinga ekyo ng’abatume tebannafa. Okuva ku kiseera bwe baafulumya akatabo kano akasooka emabega mu 1879, Yakuwa ayongedde okulongoosa okusinza kwaffe. Yakuwa ne Kristo Yesu baayingira mu yeekaalu ey’eby’omwoyo mu 1918 okugirongoosa. (Malaki 3:1-5) Okuva mu 1919, enteekateeka y’okusinza Yakuwa Katonda egenze erongoosebwa mpolampola. Okutegeera kwaffe okw’obunnabbi bwa Baibuli n’emisingi gyayo kweyongedde. (Engero 4:18) Ani aweebwa ettendo olwa kino? Si bantu abatatuukiridde. Yakuwa yekka, n’Omwana we ng’Omutwe gw’ekibiina, ye yandisobodde okukuuma abantu Be ne batayonoonebwa mu biseera bino ebyonoonefu. N’olwekyo, tetulemererwanga, okwebaza Yakuwa olw’okutukkiriza okwenyigira mu kusinza okulongoofu leero. Era ka tubeere bamalirivu obutadda nnyuma mu kuzikirira!

18. Nsonga ki gye tulina lwaki tetwandizze nnyuma mu kuzikirira?

18 Okufaananako Abakristaayo abo Abebbulaniya, tulina ensonga ey’okubiri lwaki twandyesambye ekkubo ery’obutiitiizi ery’okudda ennyuma​—bwe bugumiikiriza bwaffe. Ka tubeere nga twatandika okuweereza Yakuwa mu myaka egyakayita oba nga tubadde tumuweereza n’obwesigwa okumala amakumi g’emyaka, twenyigidde mu mirimu gy’Ekikristaayo. Bangi ku ffe tuyigganyiziddwa, ka kibeere kusibibwa mu kkomera, okuwerebwa, okwolekagana n’ebikolwa eby’obukambwe, oba okufiirwa ebintu. Bangi nnyo boolekaganye n’okuziyizibwa mu maka, okunyoomebwa, okusekererwa, era n’abantu obuteefiirayo. Ffenna tugumiikirizza, nga tweyongera mu maaso mu buweereza bwaffe eri Yakuwa wadde nga tufuna okusoomooza n’okugezesebwa mu bulamu. Mu kukola ekyo, twolese obugumiikiriza Yakuwa bw’atajja kwerabira, tuterese eby’obugagga mu ggulu. Mazima ddala, kino si kiseera kya kudda nnyuma mu nteekateeka enkadde ennyonoonefu gye twaleka emabega! Lwaki okufuba kwaffe kwonna tukufuula kwa bwereere? Naddala kino kituufu kati, nga wasigaddeyo “akaseera katono” enkomerero okutuuka.​—Abaebbulaniya 10:37.

19. Kiki ekineekenneenyezebwa mu kitundu kyaffe ekiddako?

19 Yee, ka tumalirire obutabeera “bantu abadda ennyuma mu kuzikirira”! Wabula, ka tubeere ‘abantu abalina okukkiriza.’ (Abaebbulaniya 10:39) Tuyinza tutya okukakasa nti tutuukana n’ennyinnyonnyola eyo, era tuyinza tutya okuyamba Bakristaayo bannaffe okukola kye kimu? Ekitundu kyaffe ekiddako kijja kwekenneenya ensonga eno.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Omunaala gw’Omukuumi aka Maaki 1, 1999, empapula 17-32.

Okyajjukira?

• Kitegeeza ki okudda ennyuma mu kuzikirira?

• Kunyigirizibwa ki okwatuuka ku Bakristaayo Abebbulaniya Pawulo be yawandiikira?

• Nsonga ki Pawulo ze yawa Abebbulaniya obutadda nnyuma mu kuzikirira?

• Nsonga ki ze tulina okubeera abamalirivu obutadda nnyuma mu kuzikirira?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Eky’okuba nti Peetero yatya tekyamufuula ‘omuntu adda ennyuma mu kuzikirira’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza