LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lfb essomo 7 lup. 24-lup. 25 kat. 1
  • Omunaala gw’e Babeeri

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Omunaala gw’e Babeeri
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Laba Ebirala
  • Abantu Bazimba Omunaala Omuwanvu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ddala Ennimi Ze Twogera Zaatandikira ku “Munaala gw’e Baberi”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Eryato lya Nuuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 7 lup. 24-lup. 25 kat. 1
Yakuwa ng’atabuddetabudde olulimi lw’abantu abazimba omunaala gw’e Babeeri era ng’abantu tebakyasobola kukolera wamu

ESSOMO 7

Omunaala gw’e Babeeri

Oluvannyuma lw’amataba, batabani ba Nuuwa ne bakyala baabwe baazaala abaana bangi. Abaana abo nabo baazaala, abantu ne beeyongera obungi ne basaasaanira mu bitundu by’ensi eby’enjawulo nga Yakuwa bwe yali abagambye.

Naye abantu abamu tebaagondera Yakuwa. Baagamba nti: ‘Ka tuzimbe ekibuga tusigale wano. Ka tuzimbe omunaala omuwanvu ennyo ogutuuka ku ggulu, tumanyibwe nnyo.’

Yakuwa teyasanyukira ekyo abantu abo kye baali bakola era yasalawo okubalemesa. Omanyi kye yakola? Yabaleetera okutandika okwogera ennimi ez’enjawulo. Olw’okuba buli omu yali takyategeera munne ky’agamba, baalekera awo okuzimba omunaala. Ekibuga kye baali bazimba kyatandika okuyitibwa Babeeri, ekitegeeza, “okutabulwatabulwa.” Abantu baasaasaana okuva mu kibuga ekyo ne bagenda mu bitundu by’ensi eby’enjawulo. Kyokka yonna yonna gye baagenda beeyongera okukola ebintu ebibi. Naye waaliwo abantu abaali baagala Yakuwa? Ekyo tujja kukiraba mu ssomo eriddako.

“Buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”​—Lukka 18:14

Ebibuuzo: Kiki abantu b’e Babeeri kye baakola? Yakuwa yabalemesa atya?

Olubereberye 11:1-9

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza