ESSOMO 5
Eryato lya Nuuwa
Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abantu beeyongera obungi ku nsi. Naye abasinga obungi ku bo baali babi. N’abamu ku bamalayika abaali mu ggulu baafuuka babi. Baava gye baali babeera mu ggulu ne bajja ku nsi. Omanyi ensonga eyabaleeta ku nsi? Baali baagala okuwasa abakazi. Beeyambaza emibiri gy’abantu ne babawasa.
Bamalayika abo beegatta n’abakazi ne bazaala abaana. Abaana be baazaala baali ba maanyi nnyo era nga beeyisa bubi nnyo. Baakolanga ebintu ebirumya abantu. Ebintu ebyo Yakuwa yali tasobola kubikkiriza kweyongera kugenda mu maaso. N’olwekyo, yasalawo okuleeta amataba azikirize abantu ababi.
Naye waaliwo omusajja eyali omulungi. Omusajja oyo yali ayagala nnyo Yakuwa, era yali ayitibwa Nuuwa. Yalina omukyala era yalina n’abaana ab’obulenzi basatu: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. Buli omu ku baana abo yalina mukazi we. Yakuwa yagamba Nuuwa okuzimba eryato eddene, ye n’ab’omu maka ge basobole okuwonawo ng’amataba gazze. Eryato eryo lyali lyakula ng’ekibbookisi ekinene. Yakuwa era yagamba Nuuwa ayingize ensolo mu lyato nazo zisobole okuwonawo.
Amangu ddala, Nuuwa yatandika okuzimba eryato. Nuuwa n’ab’omu maka ge kyabatwalira emyaka nga 50 okuzimba eryato eryo. Eryato eryo baalizimbira ddala nga Yakuwa bwe yalagira. Bwe baali bazimba eryato, Nuuwa yalabulanga n’abantu ku mataba agaali gagenda okujja. Naye tewali n’omu yamuwuliriza.
Oluvannyuma ekiseera eky’okuyingira mu lyato kyatuuka. Ka tulabe ekyaddirira.
“Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, n’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.”—Matayo 24:37