LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lfb essomo 6 lup. 20-lup. 21 kat. 5
  • Abantu Munaana Be Baawonawo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abantu Munaana Be Baawonawo
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Laba Ebirala
  • Eryato lya Nuuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Amataba ag’Amaanyi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Nuuwa Azimba Eryato
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • ‘Yawonyezebwawo n’abalala musanvu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Laba Ebirara
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 6 lup. 20-lup. 21 kat. 5
Enkuba ng’etonnya era ng’eryato liseeyeeya

ESSOMO 6

Abantu Munaana Be Baawonawo

Nuuwa, ab’omu maka ge, n’ebisolo nga bafuluma mu lyato

Nuuwa n’ab’omu maka ge baayingira mu lyato awamu n’ensolo. Yakuwa yaggalawo oluggi lw’eryato era enkuba n’etandika okutonnya. Enkuba yatonnya nnyo amazzi ne gaba mangi, eryato ne litandika okuseeyeeya. Ensi yonna yabuutikirwa amazzi. Abantu bonna abataayingira mu lyato baafa. Naye Nuuwa n’ab’omu maka ge tebaafa kubanga bo baali mu lyato. Nga bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo olw’okugondera Yakuwa!

Enkuba yatonnya okumala ennaku 40 emisana n’ekiro, oluvannyuma n’ekya. Mpolampola amazzi gaatandika okukendeera. Ekiseera kyatuuka eryato ne lituula ku lusozi. Naye amazzi gaali gakyali mangi ku nsi, era Nuuwa n’ab’omu maka baamala ekiseera nga bakyali mu lyato.

Amazzi gaagenda gakendeera okutuusa lwe gaakalira. Nuuwa n’ab’omu maka ge baamala ebbanga erisukka mu mwaka nga bali mu lyato. Oluvannyuma Yakuwa yabagamba okufuluma eryato. Bwe baafuluma mu lyato baalinga abali mu nsi empya. Baasiima nnyo Yakuwa olw’okubawonyaawo era ekyo baakiraga nga bawaayo ekiweebwayo eri Yakuwa.

Musoke

Yakuwa yasiima ekiweebwayo ekyo. Yasuubiza obutaddamu kuzikiriza bintu byonna ku nsi ng’akozesa amataba. Yassa musoke ku ggulu okuba akabonero akakakasa ekyo kye yasuubiza. Oyo ye musoke eyasooka okulabika ku ggulu. Wali olabye ku musoke?

Oluvannyuma Yakuwa yagamba Nuuwa n’ab’omu maka ge bazaale abaana bajjuze ensi.

‘Nuuwa yayingira mu lyato, naye abantu ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.’​—Matayo 24:38, 39

Ebibuuzo: Kiki ekyaliwo nga Yakuwa amaze okuggalawo oluggi lw’eryato? Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tulabye musoke?

Olubereberye 7:1–9:17

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza