Oluyimba 35
Okusiima Obugumiikiriza bwa Katonda
Mu Kyapa
1. Yakuwa oli wa maanyi nnyo,
N’okwagala kwo kungi nnyo.
Ensi ejjudde obubi,
Era olumwa nnyo nnyini.
Toludde nga bwe balowooza;
Onootera okubukomya.
’Ssuubi lyaffe liri mu ggwe,
’Bwenkanya bwo tubusiima ffe.
2. Gy’oli emyaka olukumi,
Lwe lunaku lumu luti.
’Lunaku lwo olukulu,
Luli kumpi; lujja mangu.
Wadde obubi obukyawa,
Osanyukira abenenya.
Twesunze ’bijja mu maaso,
Tutendereza erinnya lyo.
(Era laba Luk. 15:7; 2 Peet. 3:8, 9.)