ENSI EJJUDDE EBIZIBU
4 | Nyweza Essuubi ly’Olina
LWAKI KIKULU?
Okweraliikirira ebizibu ebiri mu nsi kikosa abantu bangi. Abantu bangi abakoseddwa ebizibu ebyo balaba nga tewali ssuubi lyonna. Ekyo kibakwatako kitya?
Abamu tebaagala na kulowooza ku biseera bya mu maaso.
Abalala basalawo okunywa ennyo omwenge oba okukozesa ebiragalalagala nga basuubira nti bijja kubayamba okwerabira ebizibu byabwe.
Ate abamu bagamba nti obulamu tebulina mugaso, era ne batuuka n’okulowooza ku ky’okwetta.
Bye Weetaaga Okumanya
Ebimu ku bizibu by’ofuna biyinza okuba eby’akaseera obuseera, era embeera eyinza okutereera.
Embeera ne bw’etatereera, waliwo by’osobola okukola okusobola okugumira ekizibu ky’olina.
Bayibuli etuwa essuubi nti ebizibu by’abantu bijja kuggweerawo ddala.
Ky’Oyinza Okukola Kati
Bayibuli egamba nti: “Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. Buli lunaku luba n’emitawaana egirumala.”—Matayo 6:34.
Teweeraliikirira nnyo bya nkya ne kikulemesa n’okukola by’olina okukola leero.
Okweraliikirira ebintu ebiyinza n’obutabaawo kiyinza okukumalamu amaanyi, era ne kikuleetera okuggwaamu essuubi.
Bayibuli Etuwa Essuubi Erya Nnamaddala
Omuwandiisi wa zabbuli omu bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: “Ekigambo kyo ye ttaala emulisiza ebigere byange, kye kitangaala ekimulisa ekkubo lyange.” (Zabbuli 119:105) Ka tulabe engeri Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, gye kiringa ettaala.
Mu budde obw’ekiro, ettaala etuyamba okulaba wa we tulina okutambulira. Mu ngeri y’emu, Bayibuli erimu amagezi agasobola okutuyamba nga tulina bye twagala okusalawo.
Ekitangaala kisobola okutuyamba okulaba ebiri mu maaso gye tulaga. Mu ngeri y’emu, Bayibuli esobola okutuyamba okuba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso.