Imagination World/stock.adobe.com
Obubaka Obuli mu Bayibuli Obuwa Abanoonyi b’Obubuddamu Essuubi!
Buli mwaka abantu bukadde na bukadde bawalirizibwa okuva mu maka gaabwe. Naawe wawalirizibwa okuva mu maka go? Bwe kiba bwe kityo, ba mukakafu nti waliwo asobola okukuyamba. Katonda asuubiza obulamu obulungi mu biseera eby’omu maaso, era obulamu obwo bwogerwako mu Bayibuli.
Omukungu omu mu kibiina kya European Union commissiona ayitibwa Christos Stylianides yagamba nti: “Ng’oggyeeko okuba nti abanoonyi b’obubudamu n’abantu abalala ababa badduse okuva mu maka gaabwe beetaaga obuyambi obw’amangu, baba beetaaga n’okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.”b Abantu ababa n’essuubi, baba tebatya ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Kyokka ng’ogyeeko okuba n’essuubi, abanoonyi b’obubudamu era beetaaga okubudaabudibwa, olw’embeera gye baba bayiseemu.
“Bwe nnadduka okuva mu nsi yange ne ndekayo ab’eŋŋanda zange, nnawulira ekiwuubaalo eky’amaanyi ennyo. Nnatya nnyo, nnawulira ennaku ey’amaanyi, era nneeraliikirira.”—Emmanuel, Haiti.
Naawe weewulira nga Emmanuel? Bw’oba nga wawalirizibwa okuva mu maka go, weetaaga okubudaabudibwa n’okufuna essuubi. Ekigambo kya Katonda Bayibuli kiyinza kitya okukuyamba?
Okubudaabudibwa okuva mu Kigambo kya Katonda
Bayibuli egamba nti: “Yakuwac . . . ayagala omugwira.”—Ekyamateeka 10:17, 18.
Ekyo kitegeeza nti toli wekka. Yakuwa Katonda eyawandiisa Bayibuli, ategeera embeera gy’olimu, akwagala, era akufaako.
Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.”—Zabbuli 145:18.
Ekyo kitegeeza nti bw’osaba, Yakuwa akuwulira. Asobola okukuyamba okuba n’emirembe ku mutima. Ate era amagezi g’atuwa okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli gasobola okukuyamba okugumira embeera gy’olimu.
Bayibuli egamba nti: “Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi . . . Omuyinza w’Ebintu Byonna tayinza kukola kitali kya bwenkanya.”—Yobu 34:10, 12.
Ekyo kitegeeza nti Katonda si y’akuleetera okubonaabona. Ebizibu by’oyitamu si y’abikuleetera nti akubonereze oba akugezese.
Essuubi Okuva mu Kigambo kya Katonda
Bayibuli etubuulira ebyo Katonda by’agenda okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Weetegereze engeri ebintu ebyo gye biyambyemu abo abaawalirizibwa okuva mu maka gaabwe.
Bayibuli egamba nti: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”—Okubikkulirwa 21:4.
Ekyo kitegeeza nti tujja kufuna obuweerero. Katonda asuubiza okuggyawo ebizibu byonna ebikuleetera okuwulira nti obulamu tebulina mugaso.
“Katonda anaatera okuggyawo obutali bwenkanya n’ebintu ebibi ebiriwo leero. Essuubi eryo lindeetera okussa ebirowoozo byange ku kiseera ebizibu byonna lwe biriba nga tebikyaliwo.”—Karla, El Salvador.
Bayibuli egamba nti: “Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.”—Isaaya 65:17.
Ekyo kitegeeza nti tetujja kuddamu kulumwa olw’ebintu ebibi bye twayitamu. Katonda ajja kuggyawo ennaku n’obulumi bw’owulira olw’ebintu ebibi by’oyiseemu mu bulamu.
“Bayibuli esuubiza nti tetujja kuddamu kujjukira bulumi bwe twayitamu oba ebintu bye twafiirwa nga tuwaliriziddwa okuva mu maka gaffe. Essuubi eryo linnyambye okugumira embeera gye mpitamu nga ndi eno gye twaddukira. Nkimanyi nti mu kiseera ekitali kya wala, embeera ejja kutereera.”—Natalia, Ukraine.
Bayibuli egamba nti: “Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka . . . bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna.”—Danyeri 2:44.
Ekyo kitegeeza nti ensi yonna ejja kufugibwa gavumenti etuukiridde ey’omu ggulu. Mu kiseera ekitali kya wala Katonda ajja kuggyawo gavumenti z’abantu, aseewo gavumenti ye ey’omu ggulu. Gavument eyo ejja kuleetawo emirembe egya nnamaddala n’obutebenkevu. Ate era gavumenti eyo ejja kuleetawo obwenkanya, era buli muntu ajja kuba alina bye yeetaaga.—Mikka 4:3, 4.
“Kinzizaamu amaanyi okukimanya nti ebizibu gamba ng’okunyigirizibwa, n’obusosoze bya kaseera buseera. Mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka bwa Yakuwa bujja kumalawo ebizibu ebyo byonna.”—Mustafa, Middle East.
Okubudaabudibwa okuva mu Kigambo kya Katonda
Amagezi okuva mu Kigambo kya Katonda
Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okukuyamba okugumira embeera embi eyakutuukako. Ate era gasobola okukuyamba okugumira enkyukakyuka ezajjawo nga mw’otwalidde n’okufiirwa ebintu byo. Weetegereze engeri Ebyawandiikibwa bino wammanga gye biyambamu abanoonyi b’obubudamu:
Bayibuli egamba nti: “Omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.”—Lukka 12:15.
Engeri ebigambo ebyo gye bisobola okukuyamba okugumira embeera gy’olimu: Oteekwa okuba ng’owulira bubi nnyo olw’okudduka mu maka go n’olw’okufiirwa ebintu byo. Naye bw’okirowoozaako nti obulamu bwo businga ebintu bye wafiirwa, kisobola okukuyamba obutalumwa nnyo olw’ebintu bye wafiirwa.
“Obulamu busingira wala ebintu. Mu mbeera ezimu, ebintu oba ssente, tebisobola kukuyamba.”—Natalia, Ukraine.
Bayibuli egamba nti: “Tobuuzanga nti, ‘Lwaki ebiseera ebyayita bisinga bino ebiriwo kati?’”—Omubuulizi 7:10.
Engeri ebigambo ebyo gye bisobola okukuyamba okugumira embeera gy’olimu: Oyinza okuba ng’embeera gy’olimu nzibu nnyo, naye fuba obutagigeraageranya na mbeera gye walimu emabega, kikuyambe obutawulira bubi nnyo.
“Okukkiriza embeera gye ndimu kati, kinnyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu.”—Eli, Rwanda.
Bayibuli egamba nti: “Bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.”—1 Timoseewo 6:8.
Engeri ebigambo ebyo gye bisobola okukuyamba okugumira embeera gy’olimu: Fuba okuba omumativu ne by’olina. Bw’onooba omumativu kijja kukuyamba obuteeraliikirira kisukkiridde, era ojja kuba mukkakkamu.
“Bayibuli ennyamba okutunuulira ebintu mu ngeri ey’enjawulo, ne sissa birowoozo ku ebyo bye twafiirwa. Nze ne mukyala wange tuli basanyufu nti tuli balamu, era nti ekifo kye tulimu kirimu obukuumi.”—Ivan, Ukraine.
Bayibuli egamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”—Matayo 7:12.
Engeri ebigambo ebyo gye bisobola okukuyamba okugumira embeera gy’olimu: Bw’ofuba okuba omugumiikiriza era ow’ekisa, ojja kuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Ate era bw’okola bw’otyo, abantu b’omu kitundu bajja kukwagala.
“Abantu bangi baagala nnyo omuntu awa abalala ekitiibwa, abalaga ekisa, n’okwagala. Engeri ezo ennungi zisobola okukuyamba okukolagana obulungi n’abantu mu kitundu gy’oddukidde.”—Angelo, Sri Lanka.
Bayibuli egamba nti: “Mutegeezenga Katonda bye mwetaaga; era emirembe gya Katonda . . . gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.”—Abafiripi 4:6, 7.
Engeri ebigambo ebyo gye bisobola okukuyamba okugumira embeera gy’olimu: Tegeeza Katonda engeri gye weewuliramu, bye weetaaga, ebikutiisa, n’ebikweraliikiriza. Ekyo kisobola okukuyamba obuteeraliikirira nnyo ng’ogezaako okumanyiira embeera y’omu kitundu.
“Buli lwe mba n’ekizibu nsaba Katonda era addamu essaala zange. Ebyo bye njize mu Bayibuli binnyambye okuba n’emirembe ku mutima.”—Yol, South Sudan.
“Amagezi amalungi agali mu Bayibuli gannyamba okuba n’emirembe ku mutima, ne kinsobozesa okugumira embeera enzibu gye ndimu.”—Valentina, Ukraine.
“Kinzizaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa Katonda atusuubizza obulamu obulungi mu biseera eby’omu maaso.”—Emmanuel, Haiti
Wandyagadde okuyiga ebisingawo ebikwata ku bisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli ebibudaabuda era ebiwa essuubi n’okumanya ensonga lwaki osobola okubyesiga? Saba Abajulirwa ba Yakuwa bakuyigirize Bayibuli ku bwereere. Bajja kuba basanyufu okukuyamba.
a Ekitongole ekiyitibwa UN Refugee Agency kigamba nti mu banoonyi b’obubuddamu munzigiramu n’abo ababa bawaliriziddwa okuleekawo amaka gaabwe ne baddukira mu kitundu ekirala eky’omu nsi yaabwe oba mu nsi endala, wadde nga mu mateeka bayinza obutatwalibwa nga banoonyi ba bubuddamu
b European Union Commissioner for Humanitarian Aid and Crisis Management.
c Yakuwa lye linnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Laba ekitundu “Yakuwa y’Ani?”