LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/14 lup. 4
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Laba Ebirala
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 1/14 lup. 4

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Febwali

“Abantu be twogeddeko nabo balina endowooza za njawulo ku Bayibuli. Abamu bakkiriza nti Kigambo kya Katonda, ate abalala bagitwala ng’ekitabo ekirala kyonna. Ggwe Bayibuli ogitwala otya?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.

Omunaala gw’Omukuumi Febwali 1

“Abantu abasinga obungi baagala entalo ziggweewo. Olowooza ekiseera kirituuka ku nsi ne kubaako emirembe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kya Katonda ekiri mu kyawandiikibwa kino. [Soma Zabbuli 46:9.] Ebintu ebyaliwo mu Ssematalo I ne mu myaka egyaddirira bitukakasa nti Katonda anaatera okutuukiriza obunnabbi buno aggirewo ddala entalo. Akatabo kano kannyonnyola ensonga eno.”

Awake! Febwali

“Ennaku zino kizibu okufuna obudde obumala okukola buli kye twagala. Olowooza tubulwa obudde olw’okuba tulina bingi eby’okukola oba olw’okuba obudde bwaffe tubwonoonera ku bintu ebitali bikulu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli erimu amagezi agasobola okutuyamba okukozesa obulungi ebiseera byaffe. Gano ge gamu ku go. [Soma Abafiripi 1:10a.] Akatabo kano kalimu amagezi ga mirundi ena agayambye abantu bangi okukozesa obulungi ebiseera byabwe.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza