LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp19 Na. 2 lup. 3
  • Bw’Owulira ng’Obulamu Bukalubye

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bw’Owulira ng’Obulamu Bukalubye
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Laba Ebirala
  • Bw’Oba Owulira ng’Ebizibu Bikuyitiriddeko
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Bw’Ofiirwa Omuntu Wo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Akatyabaga Bwe Kaggwaawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Obulamu Bwo Bukyali Bwa Mugaso
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 2 lup. 3
Omuwala akaaba ng’ali ku mulimu

Bw’Owulira ng’Obulamu Bukalubye

OBULAMU bunyuma nga buli kimu kigenda bulungi. Naye bw’ofuna ebizibu, oyinza okuwulira ng’obulamu bukalubye nnyo.

Ng’ekyokulabirako, Sally,a abeera mu Amerika, eyafiirwa ebintu bye ebisinga obungi mu muyaga, agamba nti: “Nnawulira nga nsobeddwa era nnamala ennaku nnyingi nga simanyi kya kukola.”

Ate kiba kitya ng’ofiiriddwa omuntu wo gw’oyagala ennyo? Janice, abeera mu Australia, agamba nti: “Bwe nnafiirwa batabani bange bombi, nnawulira ng’ennaku empitiriddeko era kyantwalira ekiseera okuguma. Nnasaba Katonda ne mugamba nti: ‘Mpulira sikyasobola kugumira mbeera eno! Nkwegayiridde, ndeka nfe nneme kuba mulamu.’”

Ate ye Daniel yasoberwa nnyo bwe yakimanya nti mukyala we teyali mwesigwa gy’ali. Agamba nti: “Mukyala wange bwe yaŋŋamba nti tabadde mwesigwa gye ndi, nnawulira nga gwe bafumise ekiso ku mutima. Ekintu ekyo kyannuma nnyo.”

Mu katabo kano, tugenda kulaba ensonga lwaki tosaanidde kuggwaamu maanyi wadde nga

  • Waguddewo akatyabaga

  • Ofiiriddwa omuntu wo gw’oyagala ennyo

  • Munno mu bufumbo si mwesigwa

  • Olina obulwadde obw’amaanyi

  • Owulira nti tokyayagala kuba mulamu

Ka tusooke tulabe ekiyinza okutuyamba okugumiikiriza nga tukoseddwa akatyabaga.

a Amanya agamu gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza