Ebyafaayo
“Mu Mukono Gwo Ogwa Ddyo Mwe Muli Ebisanyusa Emirembe n’Emirembe”
Byayogerwa Lois Didur
Mirundi emeka gye wali oyogedde ebigambo nga bino, ‘Lwaki nnasalawo bwe ntyo’? Naye nze, oluvannyuma lw’okumala emyaka 50 mu buweereza obw’ekiseera kyonna, ssejjusangako olw’okusalawo okubeera ku mukono gwa Yakuwa ogwa ddyo. Ka mbabuulire ensonga lwaki.
NNAZAALIBWA mu 1939 ku kyalo ekimu ekiri mu Saskatchewan, Canada. Nnakulira wamu ne baganda bange bana ne mwannyinazze omu. Obulamu mu Saskatchewan bwali bulungi nnyo. Lumu, Abajulirwa ba Yakuwa bajja eka ne boogera ne taata. Nnababuuza obanga Katonda alina erinnya. Baatulaga erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu Zabbuli 83:18. Ekyo kyandeetera okwagala okuyiga ebisingawo ebikwata ku Katonda n’Ekigambo kye.
Mu kiseera ekyo, abaana b’omu kyalo baasomeranga mu busomero obutonotono okutuusa lwe baawezanga emyaka nga 13. Amasomero gaabanga wala. Abaana abamu baatambuzanga bigere okutuukayo ate abalala baagenderanga ku mbalaasi. Abantu b’omu kitundu be baalabiriranga abasomesa era be baabasuzanga. Ekiseera kyatuuka nga ffe tulina okusuza omusomesa eyali omupya, John Didur, mu maka gaffe era nga ffe tulina okumulabirira.
Nnali simanyi nti omusomesa oyo eyali akyali omuvubuka yali ayagala nnyo Ekigambo kya Katonda. Lumu bwe nnawaana obufuzi bwa nnaakalyako ani n’obwa sitakange, kitange bwe yali awagira, John yaŋŋamba nti: “Tewali muntu agwanidde kufuga mulala. Katonda yekka y’agwanidde okufuga abantu.” Okuva olwo nnatandika okukubaganya naye ebirowoozo ku Bayibuli.
John yazaalibwa mu 1931 era yali amanyi ebizibu ebiva mu ntalo. Bwe waabalukawo olutalo mu Korea mu 1950, John yabuuza abakulembeze b’eddiini abatali bamu ensonga lwaki baali beenyigira mu ntalo. Bonna be yabuuza baamuddangamu nti Katonda akkiriza Abakristaayo okwenyigira mu ntalo. Oluvannyuma yabuuza Abajulirwa ba Yakuwa ekibuuzo kye kimu. Baamulaga endowooza Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baalina ku ntalo. John yabatizibwa mu 1955. Omwaka ogwaddako, nange nnabatizibwa. Ffembi twali twagala okukozesa amaanyi gaffe okuweereza Yakuwa obulamu bwaffe bwonna. (Zab. 37:3, 4) Twafumbiriganwa mu Jjulaayi 1957.
Ebiseera ebisinga, olunaku lwe twafumbiriganirwako lwatuukanga mu kiseera kya lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Kyatusanyusanga nnyo olunaku olwo okutusanga nga tuli wamu n’ab’oluganda bangi abassa ekitiibwa mu bufumbo. Olukuŋŋaana olw’ensi yonna lwe twasooka okugendamu lwaliwo mu 1958. Nze ne John awamu n’ab’oluganda abalala basatu twavuga emmotoka okuva mu Saskatchewan ne tugenda mu kibuga New York. Olugendo olwo lwatutwalira wiiki nnamba. Twavuganga emisana; ekiro ne twebaka mu weema. Kyatusanyusa nnyo okusanga ow’oluganda mu Besirekemu eky’omu Pennsylvania, eyatusuza mu maka ge ekiro ekyasembayo tulyoke tutuuke! Ekyo kyatuyamba okutuuka mu kibuga New York nga tuli bayonjo era nga tulabika bulungi. Olukuŋŋaana olwo lwatuyamba okusiima enkizo ey’ekitalo gye tulina ey’okuweereza Yakuwa! Ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba, “Mu mukono [gwa Yakuwa] ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n’emirembe.”—Zab. 16:11.
OKUWEEREZA NGA PAYONIYA
Mu 1959, twali tuweereza nga bapayoniya mu Saskatchewan era ng’akayumba kaffe kali waggulu ku lusozi. Bwe twabanga awaka waffe, twabanga tusobola okulengera ebyalo bingi ebiriraanyeewo era ng’ebimu ku byo bye bitundu mwe twali tubuulira.
Lumu, baatuleetera ebbaluwa okuva ku ofiisi y’ettabi. John yali bweru ng’akanika tulakita. Olwagifuna bwe nti, nnasitukiramu ne ngimutwalira. Ebbaluwa eyo yali etusindika okugenda okuweereza nga bapayoniya mu kibuga Red Lake eky’omu Ontario. Olw’okuba twali tetumanyi kibuga ekyo gye kisangibwa, twafuna mmaapu ne tulaba wa gye kisangibwa.
Embeera y’omu kibuga ekyo yali ya njawulo nnyo ku y’omu Saskatchewan. Kyalimu ebibira ebinene era n’obubuga obutonotono obwalinga okumpi n’ebirombe bya zzaabu. Bwe twatuuka mu kitundu ekyo, twatandika okunoonya aw’okusula. Waliwo omukyala gwe twabuuza obanga yali amanyi wa awali amayumba ag’okupangisa. Waaliwo akawala akaawulira bye twali twogera ne kadduka ewa maama waako ne kamutegeeza ku nsonga yaffe era bw’atyo n’atufunira aw’okusula ekiro ekyo. Twasula mu kasitoowa ak’ettaka nga temuli seminti. Enkeera, twafuna ennyumba ey’ebisenge ebibiri naye nga temuli mazzi, binaabiro, wadde toyireeti. Yalimu kyoto kyokka kye twakozesanga okutubugumya. Twagulayo ku bintu ebitonotono bye twali twetaaga mu dduuka eritunda ebintu ebikadde.
Ekibiina ekyali kisinga okuba okumpi kyali kisangibwa mayiro 130 okuva we twali tubeera. Abantu abasinga obungi abaali bakola mu birombe baali bava mu Bulaaya, era baatusaba okubafunira Bayibuli mu lulimi lwabwe. Mu bbanga tono nnyo, twalina abayizi ba Bayibuli abakulaakulana 30. Mu myezi mukaaga gyokka, twatandikawo ekibiina mu kitundu ekyo.
Omwami omu eyalina omukyala gwe twali tuyiga naye Bayibuli yakubira omusaseredooti essimu n’amuyita ajje ayambe mukyala we aleme kubula. Omusaseredooti bwe yajja n’atusangawo awaka, yatugamba nti bwe tuba tuyigiriza abantu, tetulina kwerabira kubayigiriza nti Katonda ali mu busatu. Omukyala yakwata Bayibuli n’agiwa Omusaseredooti n’amugamba alage ebyawandiikibwa ebikakasa ebyo bye yali ayogera. Yasuula Bayibuli ku mmeeza, n’agamba nti tekimwetaagisa kuwa bukakafu ku ebyo bye yali ayogedde. Bwe yali agenda, yabagamba nti batugobe ewaabwe. Yayogera mu lulimu Oluyukuleyini nga takimanyi nti ne John yali alumanyi!
Waayita ekiseera kitono ne tuva e Red Lake kubanga John yalina okutendekebwa okusobola okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Oluvannyuma lw’omwaka nga gumu, John bwe yali awa emboozi y’okubatizibwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, omwami w’omukyala oyo yali omu ku abo abaali bagenda okubatizibwa! Ebyo ebyaliwo ng’omusaseredooti aze ewuwe byamuleetera okutandika okuyiga Bayibuli.
OMULIMU GW’OKUKYALIRA EBIBIINA
Bwe twali mu mulimu gw’okukyalira ebibiina, twasulanga mu maka g’ab’oluganda ab’enjawulo. Ab’oluganda abo baafuuka mikwano gyaffe nnyo. Lumu, twasula waggulu mu kalina omutaali kyoto kutubugumya mu kiseera ky’obutiti. Buli ku makya, muganda waffe omukadde yayingiranga mpolampola mu kisenge kyaffe n’akuma esigiri. Oluvannyuma yatuleeteranga amazzi agookya tunaabe tusobole okweteekerateekera olunaku. Nnina bingi bye nnayigira ku muganda waffe oyo eyali omuwombeefu.
Mu kiseera kye twamala nga tukyalira ebibiina enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongera okunywera. Ekitundu ekimu eky’omu Alberta kye twakyaliranga kyali kizingiramu n’akabuga akaali keesudde mu bukiikaddyo bwa Alberta era waaliwo muganda waffe eyali abeerayo. Ekibiina kya Yakuwa kyatwalanga kitya muganda waffe oyo? Buli luvannyuma lwa myezi mukaaga, twalinyanga ennyonyi ne tugenda okumukyalira okumala wiiki nnamba nga bwe twakyaliranga ebibiina ebinene ebyali mu kibuga. Twafunanga enkuŋŋaana zonna era ne tubuulirako naye. Ekyo kyandaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku buli emu ku ndiga ze.
Twasigala tuwuliziganya n’ab’oluganda abaatusuzanga. Ekyo kinzijukiza ekimu ku birabo John bye yasooka okumpa. Yampa akabokisi akaali kalabika obulungi akaali kajjudde empapula ez’okuwandiikako. Twakozesanga empapula ezo okuwandiikira mikwano gyaffe amabaluwa. Akabokisi ako nkaagala nnyo.
Bwe twali tukyalira ebibiina mu Toronto, ow’oluganda aweereza ku Beseri y’omu Canada yatukubira essimu n’atubuuza obanga twandyagadde okuweereza ku Beseri. Yali ayagala tumuddemu enkeera! Twakkiriza okugenda ku Beseri.
OKUWEEREZA KU BESERI
Buli mulimu gwe twaweebwanga okukola mu kibiina kya Yakuwa gwatuleeteranga essanyu lingi. Bwe kityo bwe kyali ne bwe twayitibwa ku Beseri mu 1977. Okukolera awamu n’ab’oluganda abaafukibwako amafuta kyatuyamba okulaba engeri ennungi ze baalina n’okukiraba nti bassa nnyo ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda.
Okuweereza ku Beseri kyatuleetera essanyu lingi. Ng’ekyokulabirako, kati engoye zaffe twali tetukyaziteeka mu kkeesi naye twali tuziteeka mu kabada y’engoye. Ate era twali tukuŋŋaanira mu kibiina kimu. Ng’oggyeko omulimu gwe nnali nkola ku Beseri, okulambuza abagenyi nakyo kyandeeteranga essanyu. Nnabannyonnyolanga emirimu egikolebwa ku Beseri, nnaddangamu ebibuuzo byabwe, era nnasanyukanga nnyo okuwulira ebintu ebirungi abantu abajjanga okulambula Beseri bye baagyogerangako.
Mu 1997, John yayitibwa okugenda mu Ssomero Eritendeka Abo Abali ku Bukiiko bw’Amatabi, e Patterson mu New York. Bwe yavaayo, baatusaba okugenda okuweereza mu Ukraine. Baatukubiriza okukirowoozaako ennyo n’okusaba Yakuwa atuwe obulagirizi. We bwawungeerera, twali tumaze okukkiriza okugenda okuweereza mu Ukraine.
OKUWEEREZA MU UKRAINE
Twali twagendako mu lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwali e St. Petersburg mu Russia, mu 1992, awamu n’olwo olwali e Kiev mu Ukraine mu 1993. Enkuŋŋaana ezo zaatuyamba okwongera okwagala baganda baffe abaali mu buvanjuba bwa Bulaaya. Bwe twagenda mu kibuga Lviv ekya Ukraine, twafuna ennyumba ku mwaliriro ogw’okubiri ogwali ku kizimbe ekikadde. Bwe watunulanga mu ddirisa ng’oli mu nnyumba yaffe, wabanga osobola okulaba oluggya olwalimu akalimiro akatonotono, sseggwanga ennene eya kitaka, n’enkoko enseera nnyingi. Twawulira ng’abaali bazzeeyo e Saskatchewan. Ku nnyumba eyo twali tusulako abantu kkumi na babiri. Buli ku makya twalinanga okuyita mu kibuga okugenda ku Beseri.
Okuweereza mu Ukraine kyatuleetera essanyu lingi. Kyatusanyusanga nnyo okubeera awamu n’ab’oluganda bangi abaasigala nga beesigwa eri Yakuwa wadde nga baali bafunye ebizibu bingi, gamba ng’okuwerebwa n’okusibibwa mu makomera. Buli lwe twabeebazanga olw’okukuuma obwesigwa bwabwe, baatugambanga nti, “Yakuwa ye yatuyamba.” Baawuliranga nti Yakuwa teyabaabulira. Ne leero, bw’obaako ow’oluganda gwe weebaza ng’aliko ekintu ky’akoze, atera okugamba nti, “Weebaze Yakuwa,” ng’alaga nti Yakuwa y’ensibuko y’ebintu ebirungi byonna.
Ab’oluganda bangi mu Ukraine batambuza bigere okugenda mu nkuŋŋaana. Ekyo kibayamba okunyumya n’okuziŋŋanamu amaanyi nga bagenda mu nkuŋŋaana. Abamu batambulira essaawa nnamba oba n’okusingawo. Mu kibuga Lviv mulimu ebibiina ebisukka mu 50 era nga 21 ku byo bikuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka ebiwerako ebisangibwa mu kifo kimu. Buli lwa Ssande, kisanyusa nnyo okulaba ab’oluganda bangi nnyo nga bagenda mu kifo ekyo okusinza Yakuwa.
Olw’okuba ab’oluganda abo bakkakkamu era bafaayo ku balala, kyatwanguyira okutandika okukolagana nabo. Oluusi bwe nzibuwalirwa okutegeera bye boogera, booleka obugumiikiriza. Kino bakyoleka mu bigambo byabwe ne ku maaso gaabwe.
Waliwo ekintu kye nzijukira ekyaliwo ku lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwaliwo mu 2003 mu kibuga Kiev, ekyandaga nti ab’oluganda beesigaŋŋana. Twali twakatuuka ku siteegi y’eggaali y’omukka, akawala akato ne kajja gye tuli ne katugamba nti, “Jjajja ambuzeeko. Simanyi gy’ali.” Akawala ako kaali kalabye bbaagi ze twali twambadde ne kakitegeera nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa. Kaali kagumu era tekaakaaba. Mukyala w’omulabirizi atambula eyali naffe yakatwala mu kitongole ekikola ku bibuze n’ebizuuliddwa. Ab’oluganda abakola mu kitongole ekyo baakakwasa jjajja waako. Nnakwatibwako nnyo okulaba ng’akawala ako kaatwesiga olw’okuba twali Bajulirwa ba Yakuwa.
Ab’oluganda bangi okuva mu nsi ezitali zimu bajja mu Ukraine mu Maayi 2001 ku mukolo ogw’okuwaayo ofiisi y’ettabi. Oluvannyuma lw’okuwuliriza emboozi eyaweebwa ku Ssande ku makya mu kisaawe, ab’oluganda bangi bajja okulambula amaka ga Beseri. Siyinza kwerabira ekyo ekyaliwo ku olwo! Ab’oluganda abajja okulambula Beseri baali bakkakkamu era nga bagoberera obulagirizi obwabaweebwanga. Ekyo kyannyamba okwongera okusiima enkizo ey’okuweereza Katonda.
ENKYUKAKYUKA EY’AMAANYI
Mu 2004, John yakeberebwa ne kizuulibwa nti yalina kkansa. Twagenda e Canada asobole okufuna obujanjabi. Eddagala lye baasooka okumukuba lyali lya maanyi nnyo ne kiba nti yatuuka n’okuzirika. Ekirungi kiri nti yamala n’adda engulu. Wadde nga yali tasobola kwogera, amaaso ge gaali galaga nti yasiimanga nnyo abo bonna abajjanga okumulaba.
Kya nnaku nti John teyasobola kuwona, era yafa mu Noovemba w’omwaka ogwo. Ekyo kyannakuwaza nnyo. Nnasanyukanga nnyo okuweereza Yakuwa nga ndi wamu ne John. John bwe yamala okufa, nnasalawo okuddayo mu Ukraine. Nsiima nnyo okwagala ab’oluganda ku Beseri n’abo abali mu kibiina kyange kwe bandaga.
Tetwejjusangako olw’okusalawo okuweereza Yakuwa. Tufunye essanyu lingi n’emikwano emirungi mingi. Nkimanyi nti wakyaliwo ebintu ebirala bingi bye nnina okuyiga ku bulungi bwa Yakuwa, era ndi mumalirivu okweyongera okumuweereza emirembe gyonna kubanga nfunye essanyu lingi mu kubeera ku ‘mukono gwa Yakuwa ogwa ddyo.’
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
“Tetwejjusangako olw’okusalawo okuweereza Yakuwa”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Ku lunaku lw’embaga yaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Nga mpeereza nga payoniya ow’enjawulo mu Red Lake, Ontario
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Nga ndi ne John mu Ukraine mu 2002