LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Jjanwali lup. 32
  • Kuba Akafaananyi ku Ebyo by’Osoma mu Bayibuli

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kuba Akafaananyi ku Ebyo by’Osoma mu Bayibuli
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Laba Ebirala
  • Weeteeketeeke Bulungi.
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Kuba Ebifaananyi Bikuyambe Okujjukira by’Osomye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Nyiikirira Okusoma
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Onyumirwa Okusoma Ekigambo kya Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Jjanwali lup. 32

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Kuba Akafaananyi ku Ebyo by’Osoma mu Bayibuli

Bayibuli eyogera ku bintu bingi ebyaliwo era tulina bingi bye tubiyigirako. Bwe tukuba akafaananyi nga tusoma ku bintu ebyo, tubitegeera bulungi era tweyongera okubiganyulwamu. Lowooza ku bintu bino wammanga ebisobola okukuyamba okukuba akafaananyi ku ebyo by’osoma mu Bayibuli.

  • Soma mu ddoboozi eriwulikika. Bw’osoma mu ddoboozi eriwulikika kisobola okukuyamba okukuba akafaananyi ku ebyo by’osoma. Bwe muba musoma Bayibuli ng’amaka, musobola okweyongera okutegeera ebyo bye musomako buli omu bw’abaako ebigambo by’omuntu ayogerwako by’asoma.

  • Wesse mu bigere by’abo b’osomako. Gezaako okumanya bye balowooza n’engeri gye beewuliramu. Ng’ekyokulabirako, weebuuze: ‘Lwaki omuntu oyo ayogedde bw’atyo oba n’akola ekintu bwe kityo? Singa nze mbadde mu mbeera eyo nnandibadde ndowooza ki, era nnandiwulidde ntya?’

  • Baako ebifaananyi by’okuba. Bw’okuba ebifaananyi by’ebintu by’osomye mu Bayibuli ku lupapula, kiyinza okukuyamba okujjukira obulungi ebyo by’osomye, ne bwe kiba nti tomanyi bulungi kukuba bifaananyi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza