LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Noovemba lup. 8-9
  • Ndekere Awo Okuvuga?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ndekere Awo Okuvuga?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Emitwe emitono
  • WEEKEBERE MU BWESIMBU
  • FUMIITIRIZA KU MISINGI GYA BAYIBULI
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Noovemba lup. 8-9
Ow’oluganda akaddiye atudde kumpi n’eddirisa era atunuulidde emmotoka ye. Akutte ebisumuluzo by’emmotoka ye era afumiitiriza.

Ndekere Awo Okuvuga?

OMAZE emyaka mingi ng’ovuga emmotoka. Onyumirwa okuvuga emmotoka yo n’ogenda yonna gy’oyagala. Naye ab’omu maka go ne mikwano gyo bawulira nti tokyasobola kuvuga, era baagala olekere awo. Oyinza obutategeera nsonga lwaki balowooza bwe batyo.

Naawe oli mu mbeera efaananako bw’etyo? Bwe kiba kityo, kiki ekisobola okukuyamba okusalawo obanga oneeyongera okuvuga?

Mu nsi ezimu, omuntu bw’aweza emyaka egimu era ng’ayagala okuzza obuggya ebiwandiiko ebimukkiriza okuvuga, aba alina okusooka okwekebejjebwa abasawo. Abakristaayo ababeera mu nsi ezo bagoberera amateeka ago n’ebyo ebiba bisaliddwawo ab’obuyinza. (Bar. 13:1) Naye ne be bwe kiba nti mu nsi yo temulina mateeka ng’ago, waliwo amagezi agasobola okukuyamba okwekebera okulaba obanga okyasobola okuvuga obulungi.

WEEKEBERE MU BWESIMBU

Ekitongole ekiyitibwa National Institute on Aging (NIA) ekisangibwa mu Amerika, kikubiriza abakaddiye okwebuuza ebibuuzo bino wammanga:

  • Nsobola okusoma obulungi obupande bw’oku kkubo n’okulaba obulungi nga nvuga ekiro?

  • Nkyasobola okukyusa omutwe gwange ne ntunula mu ndabirwamu z’emmotoka, era ne ndaba ebyo ebyetoolodde emmotoka nga nvuga?

  • Kinzibuwalira okukozesa amagulu gange mu bwangu okulinnya ku muliro n’okulinnya ku kiziyiza?

  • Bwe mba ku luguudo nvuga kasoobo ne kiba nti ndeetera emmotoka endala okutambula empola?

  • Waliwo emirundi lwe mbadde nnaatera okukola akabenje, oba emmotoka yange egoomyegoomye oba ekulubuse olw’okutomera ebintu ebitali bimu?

  • Gye buvuddeko awo poliisi yali ennyimirizzaako olw’engeri gye nvugamu?

  • Ntera okusumagira nga nvuga?

  • Waliwo eddagala lye mmira erisobola okunnemesa okuvuga obulungi ekidduka?

  • Ab’omu maka gange oba mikwano gyange batera okuŋŋamba nti sikyasobola kuvuga?

Bw’oba ng’ozzeemu nti yee mu kimu oba bibiri ku bibuuzo ebyo, oyinza okubaako enkyukakyuka ze weetaaga okukola. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukendeeza ku biseera by’omala ng’ovuga, naddala ekiro. Bulijjo weekebere olabe obanga okyasobola okuvuga obulungi. Osobola okusaba omu ku b’omu maka go oba mukwano gwo akubuulire ky’alowooza ku ngeri gy’ovugamu. Ate era oyinza okulowooza ku ky’okuddamu okuyigirizibwa engeri y’okuvuga obulungi n’okwewalamu obubenje. Naye bw’oba ozzeemu nti yee mu bibuuzo ebisinga obungi, kyandibadde kirungi n’olowooza ku ky’okulekera awo okuvuga ekidduka.a

FUMIITIRIZA KU MISINGI GYA BAYIBULI

Kiyinza okutuzibuwalira okukiraba nti tetukyavuga bulungi nga bwe kyali edda. Ate era kiyinza okutubeerera ekizibu okukikkiriza nti tusaanidde okulekera awo okuvuga. Bayibuli eyinza etya okukuyamba okulowooza ku nsonga eyo n’osobola okusalawo obulungi? Lowooza ku misingi gya Bayibuli gino ebiri.

Beera mwetoowaze. (Nge. 11:2) Bwe tugenda tukaddiwa, obusobozi bwaffe obw’okulaba, obw’okuwulira, n’obw’okukola ebintu ebirala bugenda bukendeera. Ng’ekyokulabirako, abantu abasinga balekera awo okuzannya emizannyo egimu bwe bagenda bakula kubanga bakiraba nti kiba kyangu okufuna obuvune. Ekintu ekifaananako bwe kityo kye kiyinza okubaawo bwe kituuka ku kuvuga ebidduka. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omuntu omwetoowaze ayinza okukiraba nti takyasobola kukola bintu bimu, bw’atyo n’asalawo okulekera awo okuvuga yeewale akabi. (Nge. 22:3) Ate era omuntu omwetoowaze abalala bwe bamugamba nti si kirungi kweyongera kuvuga kidduka, akkiriza kye bamugambye.—Geraageranya 2 Samwiri 21:​15-17.

Tossa bulamu bw’abalala mu kabi. (Ma. 22:8) Omuntu bw’aba tavuga bulungi, ayinza okulumya abalala oba okubatta. Omuntu bwe yeeyongera okuvuga ekidduka naye nga takyasobola kuvuga bulungi, asobola okwetta oba okutta omuntu omulala. Mu butuufu singa akola akabenje era ng’ensobi evudde ku ye, ayinza okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi.

Bw’oba ng’osazeewo nti tojja kuddamu kuvuga, tokitwala nti abalala bajja kulekera awo okukussaamu ekitiibwa. Yakuwa akwagala nnyo olw’engeri ennungi z’oyoleka omuli obwetoowaze n’okufaayo ku balala. Ate era asuubiza okukuyamba n’okukubudaabuda. (Is. 46:4) Tasobola kukwabulira. N’olwekyo musabe akuwe amagezi, era akuyambe okukolera ku misingi gya Bayibuli ng’osalawo obanga onoolekera awo okuvuga.

Ebyo Abalala Bye Basobola Okukola

Emirundi mingi ab’omu maka g’omuntu akaddiye be baba abatuufu okwogerako naye ku ngeri gy’avugamu. Naye bw’oba mukwano gw’oyo akaddiye n’owulira abalala nga bagamba nti takyavuga bulungi, ensonga eyo gitwale nga nkulu nnyo. Oyinza okumusaba akutwaleko ng’alina gy’alaga kikuyambe okulaba engeri gy’avugamu era bwe kiba kyetaagisa ogyogereko. Bw’oba oyogera naye ku ngeri gy’avugamu, weeteeke mu bigere bye. Yogera naye mu ngeri ey’ekisa naye beera mwesimbu. Mu kifo ky’okukuliriza emyaka gye ng’oyogera naye, essira lisse ku ngeri gy’avugamu. Mu kifo ky’okumugamba nti “Tokyali muvuzi mulungi,” kozesa ebigambo nga bino “Nfaayo nnyo ku ngeri gy’ovugamu era saagala otuukibweko kabi konna.” Muyambe okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli egyogeddwako mu kitundu kino.

Omuntu akaddiye bw’asalawo okulekera awo okuvuga tusaanidde okukiraga nti tutegeera embeera gy’ayitamu. Ayinza okuwulira nti takyalina ddembe kukola bintu ku lulwe. Oyinza otya okumuyamba? Beera wa kisa gy’ali era baako by’omukolera. (Nge. 17:17) Tomulinda kukusaba kumutwalako kubanga ayinza okutya okukusaba ng’alowooza nti akukaluubiriza. Oyinza okukola enteekateeka okumutwalako gamba ng’agenda mu nkuŋŋaana, okubaako by’agula, oba okugenda mu ddwaliro. Mugambe nti oyagala okubeerako naye era nti tokirinaamu buzibu okumuyamba.—Bar. 1:​11, 12.

a Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe “Automobile Accidents—Are You Safe?” mu Awake! eya Agusito 22, 2002.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza