LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Ssebutemba lup. 31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Laba Ebirala
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Abo Abakooye, Yakuwa Abawa Amaanyi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Bye Tuyigira ku Binyonyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • “Tewali n’Omu ku Mmwe Ajja Kufiirwa Bulamu Bwe”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Ssebutemba lup. 31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiki omuwandiisi wa Engero 30:​18, 19 kye yali ategeeza bwe yagamba nti, ‘ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi’ lyali ‘lisukkiridde okutegeera kwe’?

Abantu bangi nga mw’otwalidde n’abo abeekenneenya Bayibuli bamaze ekiseera nga beebuuza amakulu g’ebigambo ebyo. Ennyiriri ezo mu Enkyusa ey’Ensi Empya zigamba nti: “Waliwo ebintu bisatu ebisukkiridde okutegeera kwange [oba, “ebinneewuunyisa ennyo,” obugambo obuli wansi.], era waliwo bina bye sitegeera: Ekkubo ly’empungu mu bbanga, ekkubo ly’omusota ku lwazi, ekkubo ly’ekyombo ku nnyanja, era n’ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi.”—Nge. 30:​18, 19.

Emabegako tubadde tugamba nti ‘ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi’ litegeeza kintu kibi. Lwaki? Ennyiriri eziriranyeewo zoogera ku bintu ebibi ebitasobola kugamba nti “kimala.” (Nge. 30:​15, 16) Ate olunyiriri 20 lwogera ku ‘mukazi omwenzi’ agamba nti talina kibi ky’akola. Bwe kityo twali tugamba nti ng’empungu eri mu bbanga, omusota oguli ku lwazi, oba ekyombo ekiri mu nnyanja, omusajja asobola okukola ekintu ne watabaawo ategeera ky’akoze. Olw’ensonga eyo twali tugamba nti ebigambo ‘ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi’ bitegeeza kintu kibi, kwe kugamba omuvubuka asendasenda omuwala atalina bumanyirivu ne yeegatta naye.

Naye waliwo ensonga etuleetera okugamba nti ebigambo ebyo byogera ku bintu birungi. Omuwandiisi yali ayogera ku bintu ebyamwewuunyisa ennyo.

Ebiwandiiko by’Olwebbulaniya biraga nti olunyiriri olwo luyinza okuba nga lwogera ku bintu birungi. Okusinziira ku kitabo Theological Lexicon of the Old Testament, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ebisukkiridde okutegeera kwange” mu Engero 30:​18, “kyogera ku kintu ekyewuunyisa ennyo era nga kirabika ng’ekitasoboka.”

Pulofeesa Crawford H. Toy, ow’omu Harvard University mu Amerika naye yagamba nti olunyiriri olwo terwogera ku kintu kibi. Yagamba nti: “Omuwandiisi yali agezaako okunnyonnyola engeri ebintu ebyo gye byewuunyisaamu.”

N’olwekyo kikola amakulu okugamba nti ebigambo ebiri mu Engero 30:​18, 19 byogera ku bintu ebyewuunyisa ennyo era ebisukkiridde okutegeera kwaffe. Okufaananako omuwandiisi w’ebigambo ebyo, naffe twewuunya nnyo engeri empungu gy’etumbiira mu bbanga, engeri omusota ogutalina magulu gye gutambulira ku lwazi, engeri emmeeri ezitowa ennyo gy’etambulira ku mazzi, n’engeri omuvubuka omuto gy’agwa mu mukwano n’omuwala ne baagalana nnyo era ne baba basanyufu nnyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza