LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Ssebutemba lup. 32
  • Yesu “Yayiga Obuwulize”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yesu “Yayiga Obuwulize”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Laba Ebirala
  • Obuwulize—Ssomo Kkulu ery’Omu Buto?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Obuwulize Bwo Yakuwa Abutwala nga bwa Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Yamba Abalala Okuba ‘Abawulize Okuviira Ddala mu Mutima’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • “Abaana Abato, Muwulirenga Abazadde Bammwe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Ssebutemba lup. 32

AMAKULU G’EBIMU KU EBYO EBYOGERWAKO MU BAYIBULI

Yesu “Yayiga Obuwulize”

Yesu bulijjo abaddenga muwulize eri Yakuwa. (Yok. 8:29) Kati olwo lwaki Bayibuli egamba nti: “Yayiga obuwulize olw’okubonaabona kwe yayitamu”?—Beb. 5:8.

Yesu bwe yali ku nsi, yayita mu mbeera z’ataayitamu ng’ali mu ggulu. Ng’ekyokulabirako, yakuzibwa abazadde abaali baagala Yakuwa naye nga bantu abatatuukiridde. (Luk. 2:51) Yayigganyizibwa abafuzi n’abakulembeze b’eddiini abaali ababi ennyo. (Mat. 26:59; Mak. 15:15) Ate era yafiira mu bulumi obw’amaanyi ennyo. Bayibuli egamba nti: “Yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa.”—Baf. 2:8.

Ebyo Yesu bye yayitamu ng’ali ku nsi byamuyigiriza okuba omuwulize mu ngeri eyawukana ku eyo gye yayolekamu obuwulize ng’ali mu ggulu. N’olwekyo Yesu yali asobola okufuuka Kabaka atuukiridde era Kabona Asinga Obukulu, oyo asobola okutulumirirwa. (Beb. 4:15; 5:9) Yesu yeeyongera okuba ow’omugaso era ow’omuwendo eri Yakuwa oluvannyuma lw’okuyiga obuwulize olw’okubonaabona kwe yayitamu. Naffe bwe tusigala nga tuli bawulize nga tuyita mu mbeera enzibu, tweyongera okuba ab’omuwendo era ab’omugaso eri Yakuwa, era aba asobola okutukozesa mu ngeri endala yonna.—Yak. 1:4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza