LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w10 10/15 lup. 29-31
  • Nfubye Okuba n’Eby’okukola Bingi mu Kibiina kya Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Nfubye Okuba n’Eby’okukola Bingi mu Kibiina kya Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Ekifo Ekipya ne Mukozi Munnange Omupya
  • Okubuulira mu Bitundu by’e Gaspé
  • Tufuna Obusika
  • Okwagala n’Obwesigwa Bintu Bikulu Nnyo mu Mulimu gw’Okuzimba
  • Nneebaza Nnyo Yakuwa
  • Okuyigira ku Bantu Abassaawo Ekyokulabirako Ekirungi Kinviiriddemu Emikisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yakuwa Antendese Okuviira Ddala mu Buto
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Okufaayo ku Balala Kivaamu Emiganyulo Mingi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Nnamalirira Obutaleka Mikono Gyange Kugwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 10/15 lup. 29-31

Nfubye Okuba n’Eby’okukola Bingi mu Kibiina kya Yakuwa

Byayogerwa Vernon Zubko

NNAKULIRA ku faamu eri okumpi ne Stenen, ekyalo ekiri mu saza ly’e Saskatchewan, Canada. Nze, ne mwannyinaze omukulu Aurellia awamu ne bato bange Alvin, Allegra, ne Daryl, bazadde baffe Fred ne Adella baafuba nnyo okutulabirira mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. N’okutuusa leero, tukyenyumiriza mu bazadde baffe olw’okutuyigiriza amazima.

Taata, omu ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, yali mubuulizi muvumu. Wadde nga yalina okukola ennyo okusobola okutuyimirizaawo, yafubanga nnyo okumanyisa abalala nti Mujulirwa. Buli kiseera yayogeranga ku mazima. Sigenda kwerabira bunyiikivu n’obuvumu bwe yayolekanga. Yateranga okuŋŋamba nti, “Fuba okuba n’eby’okukola bingi mu kibiina kya Yakuwa, ojja kwewala ebizibu bingi.”

Twateranga okubuulira ku nguudo z’e Stenen n’ebitundu ebiriraanyeewo. Naye ekyo tekyannyanguyiranga. Mu buli kibuga mwabangamu abavubuka ab’effujjo, abaatuyiikirizanga ffe abaana abato. Lumu nga ndi wa myaka munaana, nnali nnyimiridde ku luguudo nga nkutte magazini za Watchtower ne Awake! abavubuka ne bannumba. Banziggyako enkoofiira yange empya ku mutwe ne bagiwanika ku kikondo. Ekirungi kiri nti waaliwo ow’oluganda omukulu eyali annengera, n’alaba ekyali kigenda mu maaso. Yasembera n’ambuuza nti, “Vern, mutawaana ki?” Abavubuka bwe baamulaba, badduka ne bagenda. Wadde ng’ekyantuukako tekyali kirungi, kyanjigiriza nti bw’oba obuulira ku nguudo, si kirungi kuyimirira wamu nga muti. Ebyo bye nnayitamu mu buto byannyamba okufuna obuvumu obwetaagisa okusobola okubuulira nnyumba ku nnyumba.

Nze ne Alvin twabatizibwa mu Maayi 1951. Mu kiseera ekyo nnali wa myaka 13. Nkyajjukira ebigambo by’Ow’oluganda Jack Nathan, eyawa emboozi ey’okubatizibwa, eyatukubiriza obutamalako mwezi nga tetwogedde ku Yakuwa.a Ewaffe, okuweereza nga payoniya kyatwalibwanga ng’ekintu ekisingayo obulungi okukola. Bwe kityo, mu 1958 bwe nnamaliriza emisomo gyange, nnasengukira e Winnipeg, Manitoba, okuweereza nga payoniya. Wadde nga Taata yayagalanga nnyo nkolere wamu naye mu bbajjiro ly’awaka, ye ne Maama banzikiriza okugenda mpeereze nga payoniya era bampagira nnyo.

Ekifo Ekipya ne Mukozi Munnange Omupya

Mu 1959 ofiisi y’ettabi yasaba abo bonna abaalina obusobozi okugenda okuweereza e Quebec, ewaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Nnagenda e Montreal okuweereza nga payoniya. Ng’eyo yali nkyukakyuka ya maanyi! Nnalina okuyiga Olufalansa n’empisa z’omu kitundu ekyo. Omulabirizi w’ekitundu yaŋŋamba, “Togambanga nti, ‘Ffe ewaffe kino twakikolanga bwe tuti.’” Ng’ago gaali magezi malungi nnyo!​—1 Kol. 9:22, 23.

We nnagendera e Quebec saalina muntu wa kukola naye. Naye, mwannyinaffe ayitibwa Shirley Turcotte, gwe nnalabira e Winnipeg, yafuuka mukozi munnange ow’olubeerera bwe twafumbiriganwa mu Febwali 1961. Shirley naye yali ava mu maka agaali gaagala Yakuwa. Mu kusooka saakimanya nti yandinzizizzaamu nnyo amaanyi mu buweereza bwange.

Okubuulira mu Bitundu by’e Gaspé

Nga wayise emyaka ebiri bukya tufumbiriganwa, twasindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo e Rimouski, Quebec. Oluvannyuma ofiisi y’ettabi yatusaba okugenda okubuulira mu bitundu by’e Gaspé, ekisangibwa ebuvanjuba bwa Canada. Twalina okusiga ensigo z’amazima nnyingi nga bwe kisoboka. (Mub. 11:6) Twapakira mu mmotoka yaffe magazini ezisukka mu 1,000, ebitabo nga 400, awamu n’emmere n’engoye, ne tugenda okubuulira mu bitundu by’e Gaspé okumala omwezi gumu. Twabuulira mu byalo by’e Gaspé byonna. Ekirango kyayisibwa ku leediyo y’omu kitundu ekyo nga kirabula abantu nti Abajulirwa baali bazze mu kitundu era nti tebalina kukkiriza bitabo byabwe. Kyokka abantu abasinga obungi ekirango ekyo tebaakitegeera bulungi era baalowooza nti kyali kirangirira bitabo byaffe, bwe kityo bangi bakkiriza ebitabo byaffe.

Mu biseera ebyo, abantu mu bitundu ebimu eby’e Quebec baali tebamanyi nti omuntu alina eddembe ery’okubuulira, bwe kityo emirundi mingi poliisi yatugaananga okubuulira. Ng’ekyokulabirako, bwe twali tugaba ebitabo nnyumba ku nnyumba mu kibuga ekimu, owa poliisi omu yatulagira okugenda naye ku poliisi, era naffe ne tukkiriza. Nnakizuula nti munnamateeka ow’omu kibuga ekyo, yali alagidde bayimirize omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Olw’okuba omukulu wa poliisi teyaliiwo ku olwo, nnasalawo okuwa munnamateeka ono ebbaluwa okuva ku ofiisi y’ettabi ey’e Toronto eyali eraga nti tulina eddembe ery’okubuulira. Oluvannyuma lw’okugisoma, munnamateeka oyo yagamba nti: “Bannange, saagala kundeetera mitawaana. Omusaseredooti ye yaŋŋambye mbagaane okubuulira.” Olw’okuba twali twagala abantu b’omu kitundu ekyo bategeere nti omulimu gwaffe tegumenya amateeka, amangu ago twaddayo mu kifo kyennyini owa poliisi we yatuggya ne tugenda mu maaso n’okubuulira.

Olunaku olwaddako ku makya bwe twagenda okulaba omukulu wa poliisi, kyamunyiiza nnyo okuwulira nti baali batugaanye okubuulira. Kino wali osobola okukiwulirira ku ngeri gye yayogeramu ne munnamateeka ku ssimu! Omukulu wa poliisi yatugamba nti singa tuddamu okufuna obuzibu bwonna, tumukubire essimu ensonga zaffe ajja kuzikolako. Wadde nga twali bagwira era nga tetwogera bulungi Lufalansa, abantu baatwanirizanga era baatulaganga ekisa. Kyokka twali twebuuza, ‘Abantu bano banaasobola okuyiga amazima?’ Eky’okuddamu twakifuna nga wayiseewo emyaka, bwe twali tuzzeeyo mu bitundu by’e Gaspé okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Twasanga abantu bangi be twali twabuulirako nga baafuuka baganda baffe. Mu butuufu, Yakuwa y’akuza.​—1 Kol. 3:6,7.

Tufuna Obusika

Mu 1970, twazaala muwala waffe Lisa. Obusika buno okuva eri Yakuwa bwatwongera essanyu. Nnakolera wamu ne Shirley ne Lisa mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ebitali bimu. Lisa bwe yamaliriza emisomo gye, yagamba nti: “Maama ne Taata, okuva bwe kiri nti nze nnabaggya mu buweereza obw’ekiseera kyonna, ŋŋenda kufuba okusasula ebbanja eryo nga mpeereza nga payoniya.” Mu kiseera kino, Lisa asussizza mu myaka 20 ng’aweereza nga payoniya, era nga kati aweerereza wamu n’omwami we, Sylvain. Bombi bafunye enkizo okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu nsi ezitali zimu. Ekigendererwa kyaffe ng’amaka kwe kulaba nti twemalira ku buweereza bwaffe eri Yakuwa mu kifo ky’okwenoonyeza eby’obugagga. Sseerabiranga bigambo Lisa bye yayogera ng’atandika okuweereza nga payoniya. Mu butuufu, kino kyankubiriza okudda mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu 2001, era okuva olwo mbadde mpeereza nga payoniya. Okuweereza nga payoniya kinnyambye okwongera okwesiga Yakuwa mu buli kimu, era kinnyambye okuba omusanyufu era omumativu wadde nga sirina bintu bingi.

Okwagala n’Obwesigwa Bintu Bikulu Nnyo mu Mulimu gw’Okuzimba

Yakuwa annyambye okukiraba nti bwe twewaayo okumuweereza era ne tukkiriza buli nkizo gy’atuwa, tufuna emikisa mingi. Okuweereza ku Kakiiko Akakola ku by’Okuzimba awamu n’ab’oluganda mu bitundu by’omu Quebec ne mu bitundu ebirala, ngitwala nga nkizo ya maanyi.

Wadde ng’abamu ku bannakyewa tebawa mboozi ku pulatifoomu, bwe kituuka ku kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka bakola omulimu matendo. Ab’oluganda bano bakola omulimu guno n’omutima gwabwe gwonna, n’obusobozi bwabwe bwonna. N’ekivaamu, bazimba ebizimbe ebirabika obulungi ennyo ebikozesebwa mu kusinza Yakuwa.

Ab’oluganda batera okumbuuza, “Ngeri ki enkulu omuntu eyenyigira mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka z’alina okuba nazo?” Okusinziira ku kye ndabye, okusookera ddala omuntu alina okuba ng’ayagala Yakuwa n’Omwana we awamu n’ab’oluganda. (1 Kol. 16:14) Eky’okubiri, omuntu alina okuba omwesigwa. Omuntu omwesigwa yeeyongera okugoberera enteekateeka z’ekibiina ebintu ne bwe biba tebigenda nga bw’ayagala. Obwesigwa ng’obwo bumukubiriza okugenda mu maaso ng’aweereza.

Nneebaza Nnyo Yakuwa

Wadde nga taata yafa mu 1985, ebigambo bye ebikwata ku kuba n’eby’okukola ebingi mu kibiina kya Yakuwa tebinvanga ku mutima. Okufaananako abalala bonna abaamala edda okuweebwa empeera yaabwe mu kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, tewali kubuusabuusa nti alina eby’okukola bingi. (Kub. 14:13) Kati Maama alina emyaka 97. Olw’okuba yasannyalala, takyasobola kwogera bulungi; wadde kiri kityo, akyamanyi bulungi Baibuli ye. Bw’aba atuwandiikira ebbaluwa, ajuliza ebyawandiikibwa n’atukubiriza okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ng’abaana, ffenna twenyumiriza mu bazadde baffe abo!

Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okumpa Shirley, mukyala wange era mukozi munnange omwesigwa. Afuba okujjukira ebigambo bino nnyina bye yamugamba, “Vern agenda kuba n’eby’okukola bingi mu buweereza, era olina okuyiga okumugabana n’abalala.” Bwe twali tufumbiriganwa emyaka 49 egiyise, twasalawo nti tujja kukaddiyira wamu nga tuweereza Yakuwa, era nti singa ffembi tuwonawo ng’enteekateeka eno ezikirizibwa, tujja kudda ffembi buto tweyongere okumuweereza emirembe gyonna. Yee, tubadde “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58) Yakuwa atulabiridde bulungi era mu butuufu tetubulwangako kintu kyonna kirungi mu bulamu.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebikwata ku bulamu bw’Ow’oluganda Jack Halliday Nathan, laba Watchtower eya Ssebutemba 1, 1990, olupapula 10-14.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

“Ekigendererwa kyaffe ng’amaka kwe kulaba nti twemalira ku buweereza bwaffe eri Yakuwa mu kifo ky’okwenoonyeza eby’obugagga”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza