LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb19 Noovemba lup. 8
  • Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Enkuŋŋaana Ennene Ezibaawo Buli Mwaka Zituwa Akakisa Okwoleka Okwagala
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Enkuŋŋaana ‘Ezitukubiriza Okwagalana n’Okukola Ebirungi’
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Noovemba lup. 8
Bannyinaffe bakuba mu ngalo ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga

Omuddu omwesigwa era ow’amagezi atuwa emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera ekituufu.” Ekyo kiraga nti Yakuwa, awa omuddu oyo obulagirizi, amanyi bye twetaaga. (Mat 24:45) Ng’ekyokulabirako, enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu awamu n’enkuŋŋaana eza wakati mu wiiki ziraga nti Yakuwa atulabirira mu by’omwoyo.

MULABE VIDIYO, LIPOOTA Y’AKAKIIKO AKAYIGIRIZA EYA 2017, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekisaawe kijjudde abantu abali ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu

    Ani asaanidde okutenderezebwa olw’enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu ezijjira mu kiseera ekituufu, era lwaki?

  • Okuteekateeka olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu kutandika ddi?

  • Ab’oluganda abakola mu kitongole ky’okukwata amaloboozi ne vidiyo bakwata vidiyo ey’okulabibwa ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu

    Ensonga ezinaayogerwako ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu zirondebwa zitya?

  • Mirimu ki egizingirwa mu kuteekateeka enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu?

  • Enkola ze bakozesa okuyigiriza mu ssomero lya Gireyaadi zikozesebwa zitya nga bateekateeka eby’okusoma mu nkuŋŋaana eza wakati mu wiiki?

  • Ow’oluganda akutte akatabo k’enkuŋŋaana

    Ebitongole eby’enjawulo bikolera bitya awamu okuteekateeka akatabo k’enkuŋŋaana?

Owulira otya bw’olowooza ku mmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza