Ekibiina kiwuliriza okusalawo okuvudde ku kakiiko akafuzi
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 15-16
Okusalawo Okwali Kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda
Biki bye tuyigira ku ngeri ensonga eyo gye yagojoolwamu?
15:1, 2—Beera mwetoowaze era mugumiikiriza. Mu kifo ky’okwegonjoolera ensonga eyali ezzeewo, Pawulo ne Balunabba baanoonya obulagirizi okuva mu kibiina kya Yakuwa.
15:28, 29—Weesige ekibiina kya Katonda. Ab’oluganda mu kibiina baali bakakafu nti Yakuwa yandiwadde ekibiina obulagirizi ng’akozesa omwoyo omutukuvu ne Yesu Kristo.
16:4, 5—Beera muwulize. Ekibiina kyeyongera okukulaakulana bwe kyagoberera obulagirizi obwava ku kakiiko akafuzi.