Ddesemba 17-23
EBIKOLWA 15-16
Oluyimba 96 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okusalawo Okwali Kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda”: (Ddak. 10)
Bik 15:1, 2—Ensonga ey’okukomolebwa yali egenda kuleetawo enjawukana mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka (bt-E lup. 102-103 ¶8)
Bik 15:13-20—Akakiiko akafuzi kaasalawo nga kasinziira ku Byawandiikibwa (w12 1/15 lup. 5 ¶6-7)
Bik 15:28, 29; 16:4, 5—Akakiiko akafuzi bye kaasalawo byanyweza ebibiina (bt-E lup. 123 ¶18)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bik 16:6-9—Ebiri mu kyawandiikibwa kino bituyigiriza ki bwe kituuka ku kugaziya obuweereza bwaffe? (w12 1/15 lup. 10 ¶8)
Bik 16:37—Obutuuze bwa Rooma omutume Pawulo bwe yalina yabukozesa atya okubuulira amawulire amalungi? (“tuli basajja Baruumi” nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 16:37)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 16:25-40
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Omuntu tayagala kukuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ebiri mu vidiyo erina omutwe, Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? (naye togimulaga).
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Yimba n’Essanyu Ennyimba Ezitendereza Yakuwa”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Abaana Batendereza Yakuwa nga Bayimba. Ng’ofundikira, saba abawuliriza okuyimirira bayimbe nga bagoberera vidiyo y’oluyimba nnamba 84 olulina omutwe, Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 46
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 102 n’Okusaba