EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 15-17
“Temuli ba Nsi”
Yesu yawangula ensi mu ngeri nti teyakkiriza kutwalirizibwa bintu ebiri mu nsi n’endowooza yaayo
Abagoberezi ba Yesu beetaaga obuvumu okusobola okusigala nga si ba nsi n’obutatwalirizibwa ndowooza y’abantu b’ensi
Bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu, naffe tusobola okufuna obuvumu ne tuwangula ensi nga bwe yakola