OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Kuuma Obumu Bwe Tulina
LWAKI KIKULU: Mu kiro ekyasembayo Yesu alyoke attibwe, yasaba nti abayigirizwa be “babeerere ddala bumu.” (Yok 17:23, obugambo obuli wansi) Okusobola okusigala nga tuli bumu, tulina okwoleka okwagala kubanga okwagala “tekusiba kiruyi.”—1Ko 13:5.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Koppa Yakuwa ng’ossa ebirowoozo byo ku birungi abalala bye bakola
Sonyiwa abalala
Bwe mumala okugonjoola obutategeeragana obubaddewo wakati wo n’omuntu omulala, toddamu kunonooza nsonga eyo.—Nge 17:9
MULABE VIDIYO “MWAGALANENGA”—TOSIBA KIRUYI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Mu kitundu ekisoose ekya vidiyo eyo, Helen akiraze atya nti abadde anyiigidde muganda we?
Mu kitundu eky’okubiri, kiki ekiyambye Helen okufuna endowooza ennuŋŋamu?
Helen akuumye atya obumu bw’ekibiina?
Bwe tusiba ekiruyi ani asinga okukosebwa?