EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOWEERI 1-3
“Batabani Bammwe ne Bawala Bammwe Balyogera Obunnabbi”
Abakristaayo abaafukibwako amafuta beenyigira mu mulimu gw’okwogera obunnabbi. Boogera ku “bintu bya Katonda eby’ekitalo” era babuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka.’ (Bik 2:11, 17-21; Mat 24:14) Ab’endiga endala babayambako nga nabo beenyigira mu mulimu guno
‘Okukoowoola erinnya lya Yakuwa’ kitegeeza ki?
Okumanya erinnya eryo
Okuliwa ekitiibwa
Okwesiga nnannyini linnya eryo
Weebuuze, ‘Nnyinza ntya okuyamba abaafukibwako amafuta mu mulimu ogwabaweebwa?’