LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb17 Okitobba lup. 7
  • Obulamu Bwo Bukozese Okutendereza Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Obulamu Bwo Bukozese Okutendereza Yakuwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, EBITONE BY’OLINA BIKOZESE OKUWEEREZA YAKUWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
  • Yigira ku Lugero Olukwata ku Ttalanta
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Funa Essanyu mu Ebyo by’Osobola Okukola mu Buweereza Bwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Kiki ‘ky’Osinziirako Okwenyumiriza’?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ayigiriza ku Bunyiikivu—Ttalanta
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Okitobba lup. 7

BULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Obulamu Bwo Bukozese Okutendereza Yakuwa

Obulamu kirabo kya muwendo nnyo. Engeri gye tubukozesaamu buli lunaku eraga obanga tubutwala nga bwa muwendo. Ffe Abajulirwa ba Yakuwa tufuba okukozesa ebitone byaffe n’ebintu ebirala bye tulina okugulumiza Yakuwa eyatuwa obulamu. (Zb 36:9; Kub 4:11) Kyokka, embeera enzibu ze tuyitamu mu nsi ya Sitaani eno ziyinza okutuleetera okulagajjalira eby’omwoyo. (Mak 4:18, 19) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Ddala mpa Yakuwa ekisingayo obulungi? (Kos 14:2) Omulimu gwange ngutadde mu kifo ki? Biruubirirwa ki eby’omwoyo bye nneeteereddewo? Nnyinza ntya okugaziya ku buweereza bwange?’ Bw’okiraba nti olina we weetaaga okukyusaamu, saba Yakuwa akuyambe era ofube okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Awatali kubuusabuusa, okutendereza Yakuwa buli lunaku kivaamu essanyu lingi!​—Zb 61:8.

Edgardo Franco ng’ayimba mu kivvulu; Edgardo Franco ng’abuulira

Ebitone byo obikozesa kusanyusa ani?

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, EBITONE BY’OLINA BIKOZESE OKUWEEREZA YAKUWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki si kya magezi kukozesa bitone byaffe okufuna ettutumu mu nsi ya Sitaani? (1Yo 2:17)

  • Abo abawa Yakuwa ekisingayo obulungi bafuna mikisa ki?

  • Ebitone byo n’obusobozi obulala bw’olina oyinza kubikozesa otya okuweereza Yakuwa?

BYE MUYINZA OKUKOLA MU KUSINZA KW’AMAKA:

  • Buuza ebibuuzo omubuulizi amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa, bwe kiba kisoboka, ng’ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Biki bye yeefiiriza okusobola okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi? Mikisa ki Yakuwa gy’amuwadde?

  • Genda ku JW Broadcasting, ogende ku EBYOKULABIRAKO N’OKUBUUZA EBIBUUZO. Ojja kusangayo ebyokulabirako by’ab’oluganda abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa mu ngeri ez’enjawulo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza