EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 25-28
Beera Muvumu nga Yeremiya
Yeremiya yalabula nti ekibuga Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa kibe nga Siiro
Ssanduuko y’endagaano eyakiikiriranga okubeerawo kwa Yakuwa, yabeerako mu Siiro
Yakuwa yaleka Abafirisuuti ne bawamba essanduuko y’endagaano era teyazzibwayo e Siiro
Bakabona, bannabbi, n’abantu bonna, baatiisatiisa okutta Yeremiya
Abantu baakwata Yeremiya olw’okulagula nti Yerusaalemi ne yeekaalu byali bigenda kuzikirizibwa
Yeremiya teyadduka era teyalekulira
Yakuwa yakuuma Yeremiya
Yeremiya teyaggwaamu maanyi, era Yakuwa teyamwabulira
Yakuwa yakozesa Akikamu okuyamba Yeremiya
Yakuwa yayamba Yeremiya n’asobola okulangirira obubaka abantu bwe baali bataagala kuwulira, okumala emyaka 40