EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 17-21
Kkiriza Yakuwa Akubumbe
Tusaanidde okukkiriza Yakuwa atubumbe
Yakuwa atuwabula era atukangavvula tusobole okukulaakulanya engeri ennungi
Tulina okuba ebbumba eggonvu
Yakuwa tatukaka kukola by’ayagala
Omubumbi ayinza okukyusa ekirowoozo ebbumba n’alikolamu ekintu ekirala
Olw’okuba Yakuwa yatuwa eddembe ly’okwesaliwo, tuyinza okusalawo okukkiriza atubumbe oba okugaana
Yakuwa akyusa engeri gy’akolaganamu n’abantu okusinziira ku ngeri gye baba batuttemu obulagirizi bwe