LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb16 Okitobba lup. 8
  • Okozesa Kaadi Eziragirira Abantu ku Mukutu JW.ORG?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okozesa Kaadi Eziragirira Abantu ku Mukutu JW.ORG?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Laba Ebirala
  • Ebituweereddwa Okutuyamba Okwewala Omusaayi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Kozesa Ebyo Ebiri Awatandikirwa ku JW.ORG mu Buweereza Bwo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukozesa JW.ORG
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Okitobba lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okozesa Kaadi Eziragirira Abantu ku Mukutu JW.ORG?

Omubuulizi ng’awa omuntu kaadi emulagirira ku mukutu jw.org

Omulimu gw’okubuulira gulina okukolebwa mu bwangu kubanga ekibonyoobonyo ekinene kiri kumpi. (Nge 24:11, 12, 20) Tusobola okukozesa kaadi eziragirira abantu ku mukutu gwaffe, okukubiriza abantu okusoma Ekigambo kya Katonda. Kaadi eyo eriko code etwala omuntu ku vidiyo erina omutwe ogugamba nti, Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? era emukubiriza okumanya ebisingawo oba okusaba okuyigirizibwa Bayibuli. Abantu abamu bayinza obutakkiriza bitabo byaffe, naye nga basobola okugenda ku mukutu gwaffe. N’olwekyo, tolonzalonza kubawa kaadi eyo. Kyokka kaadi ezo tetusaanidde kuzirekera abantu abatasiimye bubaka bwaffe.

Bwe tuba twagala okuwa omuntu kaadi eyo, tuyinza okumugamba nti: “Nnandyagadde okukuwa kaadi eno eragirira abantu ku mukutu gwa Intaneeti oguliko eby’okusoma ne vidiyo ezikwata ku nsonga ezitali zimu.” (Yok 4:7) Olw’okuba kaadi ezo si nnene, osobola okutambula nazo n’oziwa abantu buli lw’oba ofunye akakisa.

OSOBOLA OKUKOZESA KAADI EZO . . .

  • ng’obuulira embagirawo

  • ng’obuulira mu bifo awakolerwa bizineesi

  • ng’obuulidde omuntu n’awuliriza naye n’agaana eky’okusoma

Kaadi eragirira abantu ku mukutu jw.org eriko ekifaananyi kya Bayibuli embikkule
Kaadi eragirira abantu ku mukutu jw.org eriko ekifaananyi ky’omubuulizi ng’asomera omuntu ekyawandiikibwa
Kaadi eragirira abantu ku mukutu jw.org eriko ekifaananyi ky’omubuulizi ng’ayigiriza abantu Bayibuli
Emabega wa kaadi eragirira abantu ku mukutu jw.org

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza