EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZERA 6-10
Yakuwa Ayagala Tumuweereze nga Tetuwalirizibwa
Ezera yakola enteekateeka okuddayo e Yerusaalemi
Kabaka Alutagizerugiizi yawa Ezera olukusa okuddayo e Yerusaalemi asobole okuzzaawo okusinza okw’amazima
Kabaka yawa Ezera “byonna bye yasaba”—zzaabu, ffeeza, eŋŋaano, omwenge, amafuta, n’omunnyo, nga byonna bibalirirwamu ddoola z’Amerika ezisukka mu bukadde ekikumi
Ezera yali mukakafu nti Yakuwa yandikuumye abaweereza be7:13; 8:21-23
Olugendo lw’e Yerusaalemi terwali lwangu
Olugendo lwali lwa mayiro nga 1,000 era ebitundu bye baayitamu byalimu ebizibu ebitali bimu ebyateeka obulamu bwabwe mu kabi
Olugendo lwamala emyezi ng’ena
Abo abaddayo baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, okwagala ennyo okusinza okw’amazima, era n’okuba abavumu
EZERA YATWALA . . .
Zzaabu ne ffeeza ebizitowa ttalanta ezisukka mu 750 Obuzito obwo bwenkana obw’enjovu ssatu ennene obulungi!
EBIZIBU BYE BAAYITAMU NGA BADDAYO
Abazigu, okuyita mu ddungu, n’enjaba ez’obusagwa