EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 33-36
Yakuwa Ayagala Omuntu Eyeenenya mu Bwesimbu
Mu Kyapa
MANASE
Yakuwa yamuleka n’awambibwa Abasuuli; baamusiba enjegere ne bamutwala e Babulooni
EBIBI BYE YAKOLA NGA TANNAWAMBIBWA
Yazimbira bakatonda ab’obulimba ebyoto
Yawaayo abaana be nga ssaddaaka
Yatta abantu abatalina musango
Yatumbula eby’obusamize mu Isirayiri yonna
BYE YAKOLA NG’AMAZE OKUTEEBWA
Yeetoowaza nnyo
Yasaba Yakuwa era yawaayo ssaddaaka
Yaggyawo ebyoto ebya bakatonda ab’obulimba
Yakubiriza Abayisirayiri okuweereza Yakuwa
YOSIYA
MU BUFUZI BWE BWONNA
Yanoonya Yakuwa
Yatereeza Yuda ne Yerusaalemi
Yaddaabiriza ennyumba ya Yakuwa; yazuula ekitabo ky’Amateeka