LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/14 lup. 7
  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 6/14 lup. 7

Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 30, 2014.

  1. Lwaki kikulu okulowooza ku musingi oguli mu Okuva 23:2, nga tulonda eby’okwesanyusaamu? [May. 5, w11 7/15 lup. 10-11 kat. 3-7]

  2. Lwaki bakabona baalinanga okunaaba engalo n’ebigere nga tebannawaayo ssaddaaka eri Yakuwa, era ekyo kituyigiriza ki? (Kuv. 30:18-21) [May. 19, w96-E 7/1 lup. 9 kat. 9]

  3. Lwaki Alooni teyabonerezebwa olw’okukola ennyana eya zzaabu? (Kuv. 32:1-8, 25-35) [May. 19, w04 4/1 lup. 11 kat. 4]

  4. Eky’okuba nti Yakuwa yagaana Abaisiraeri okufumbiriganwa n’abantu ab’amawanga amalala kituyigiriza ki? (Kuv. 34:12-16) [May. 26, w89-E 11/1 lup. 20-21 kat. 11-13]

  5. Ebyo bye tusoma ku Bezaleeri ne Okoliyaabu bituyigiriza ki? (Kuv. 35:30-35) [May. 26, w10 9/15 lup. 10 kat. 13]

  6. “Akabonero akatukuvu ak’okwewaayo” akaabeeranga ku kiremba kya kabona omukulu kajjukizanga ki Abaisiraeri, era katuyigiriza ki ku kwewaayo? (Kuv. 39:30, NW) [Jun. 2, w01 2/1 lup. 23 kat. 2-3]

  7. Kiki kye tusaanidde okukola singa tukitegeerako nti mukkiriza munnaffe akoze ekibi eky’amaanyi? (Leev. 5:1) [Jun. 9, w97-E 8/15 lup. 27]

  8. Lwaki ssaddaaka ez’emirembe zaaweebwangayo mu Isiraeri, era ssaddaaka ezo zituyigiriza ki? (Leev. 7:31-33) [Jun. 16, w12 1/15 lup. 19 kat. 11-12]

  9. Biki ebiyinza okuba nga bye byaviirako Nadabu ne Abiku batabani ba Alooni okukola ekibi, era biki bye tuyigamu? (Leev. 10:1, 2, 9) [Jun. 23, w04 6/1 lup. 20 kat. 6-8]

  10. Lwaki omukazi ‘teyabanga mulongoofu’ ng’azadde? (Leev. 12:2, 5) [Jun. 23, w04 6/1 lup. 21 kat. 2]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza