Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu eya 2010
1. (a) Mitwe ki egyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa egyayogerwako mu nkuŋŋaana ez’olunaku olumu mu myaka egiyise? (b) Waliwo ekintu kyonna ekyayogerwako mu nkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu ezaayita ekikuyambye mu buweereza bwo?
1 Egimu ku mitwe egyayogerwako mu nkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu ezaayita gye gino: “Mumanye Ebintu Ebisinga Obukulu,” “Okuba Abanywevu nga Muli Ekisibo Kimu,” “Weeyongere Okuwa Obujulirwa ku Mazima,” ne “Ffe Tuli Bbumba—Yakuwa Ye Mubumbi Waffe.” (Baf. 1:9, 10, 27; Yok. 18:37; Is. 64:8) Weesunga okubaawo ku lukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza 2010? Lujja kuba n’omutwe: “Ekiseera Ekisigaddeyo Kitono,” nga gwesigamiziddwa ku 1 Abakkolinso 7:29.
2. Kiki ekinaatuyamba okwesunga olukuŋŋaana luno?
2 Tandika okweteekerateekera olukuŋŋaana luno amangu ddala nga mwakategeezebwa ennaku z’omwezi we lunaabeererawo. Abazadde abamu bayamba abaana baabwe okwesunga olukuŋŋaana olunene nga bawandiika ennaku z’omwezi ku kalenda awamu n’ebintu buli omu bye yeetaaga okutwala mu lukuŋŋaana olunene, era ne batandika okubala ennaku ezibulayo okutuusiza ddala ng’olukuŋŋaana lutuuse. Mu kiseera eky’Okusinza kw’Amaka, muyinza okwejjukanya ebyo bye mwawandiika nga muli mu nkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu ezaayita. Era oyinza okuteekateeka omutima gwo ng’olukuŋŋaana olwo terunnatuuka nga wejjukanya ebyo ebiri mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, olupapula 13-16, kikuyambe ggwe n’ab’omu maka go ‘okussaayo omwoyo ku ngeri gye muwulirizaamu.’—Luk. 8:18.
3. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo ebinaaba mu lukuŋŋaana?
3 Kolera ku Ebyo by’Oyiga: “Olukuŋŋaana luno nga lubadde lulungi nnyo!” Ebyo by’ebigambo ebitera okuwulirwa ng’olukuŋŋaana luwedde. Ekyo kiba kituufu, okuva bwe kiri nti lwe lumu ku bintu ebirungi Yakuwa by’atuwa. (Nge. 10:22) Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo by’oba owulidde, olina okubifumiitirizaako oleme okubyerabira. (Luk. 8:15) Nga muddayo eka, muyinza okwogera ku ebyo ebibadde mu lukuŋŋaana nga muli wamu ng’amaka oba nga muli wamu n’abo be mutambudde nabo mu mmotoka. Mwogere ku biruubirirwa bye mulina era n’ensonga ezinaabayamba mu buweereza bwammwe. Kino kijja kubayamba okuganyulwa era n’obuteerabira ebyo bye munaaba muyize.—Yak. 1:25.
4. Lwaki olukuŋŋaana luno lujja kuba lwa muganyulo nnyo gye tuli?
4 Bulijjo tusanyuka nnyo nga tufunye ekirabo eky’omugaso. Tetwesunga nnyo ebyo Yakuwa by’atuteekeddeteekedde mu lukuŋŋaana lwaffe oluddako olw’olunaku olumu? Tuli bakakafu nti lujja kutuganyula nnyo. Tusuubira okufuna ekirabo ekirungi okuva eri Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa, ng’atuzzaamu amaanyi era ng’atutendeka tusobole okukola obulungi omulimu gw’atukwasizza.—2 Tim. 4:2; Yak. 1:17.