Engeri y’Okweteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza
1. Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lulina kigendererwa ki, era tuyinza tutya okuluganyulwamu mu bujjuvu?
1 Ekigendererwa ky’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza kwe kutuyamba okubeera ababuulizi abalungi. Lussa essira ku kubuulira amawulire amalungi, okufuula abantu abayigirizwa, era n’okulangirira olunaku lwa Katonda olw’omusango olunaatera okutuuka. (Mat. 28:20; Mak. 13:10; 2 Peet. 3:7) Tuganyulwa nnyo mu lukuŋŋaana luno olukulu ennyo bwe tulwetegekera obulungi era nga tuli beetegefu okulwenyigiramu.
2. Tuyinza tutya okweteekateeka okuwuliriza okwogera?
2 Okwogera: Emirundi egisinga obungi, ebyo omwogezi by’aba alina okwogerako biragibwa mu bulagirizi obumuweebwa. Oyinza okwekenneenya ekitundu ekyo awamu n’ebyawandiikibwa ebiragiddwa era n’olowooza ku ngeri gy’oyinza okubikolerako mu buweereza bwo.
3. Kiki kye tuyinza okukola nga tweteekerateekera ekitundu ekirimu okubuuza ebibuuzo n’okuddamu?
3 Okukubaganya Ebirowoozo Okulimu Okubuuza Ebibuuzo n’Okuddamu: Ekitundu kino kijja kukubirizibwa mu ngeri y’emu ng’okusoma Omunaala gw’Omukuumi era nga kijja kwanjulibwa era kifundikirwe mu bumpimpi. Saza ku nsonga enkulu eziri mu buli katundu, era weetegeke okubaako by’oddamu mu bufunze ebinaazimba abalala.
4. Tuyinza tutya okweteekerateekera ekitundu eky’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza?
4 Okukubaganya Ebirowoozo n’Abawuliriza: Ekitundu kino kijja kuweebwa ng’emboozi, naye omwogezi ajja kusaba abawuliriza okubaako bye boogera. Bw’osaza ku nsonga enkulu era n’osoma ebyawandiikibwa ebiweereddwa, oyinza okubaako by’oddamu ng’ebibuuzo bibuuziddwa. Ow’oluganda akubiriza ekitundu kino ajja kufuba nnyo okulaba nti n’abawuliriza babaako bye boogera okusobola okuggyayo ensonga enkulu.
5. Kiki ekinaatuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu byokulabirako ebiragibwa?
5 Okulaga Ebyokulabirako: Ebitundu ebimu bijja kubaamu ebyokulabirako ebiraga engeri ebyo ebiba bikubaganyiziddwako ebirowoozo gye biyinza okukozesebwa mu kitundu kye mubuuliramu. Abakadde, ababuulizi abalina obumanyirivu, oba bapayoniya be bajja okusabibwa okulaga ebyokulabirako. Ng’otegeka ekitundu kino, oyinza okulowooza ku ngeri gye kijja okulagibwamu. Bwe baba balaga ekyokulabirako ekikwata ku nnyanjula emu, lowooza ku ngeri ez’enjawulo z’oyinza okugikozesaamu ng’oyogera n’abantu abatali bamu. Teweerabira kugenda n’akatabo oba magazini eneekozesebwa mu kulaga ekyokulabirako. Kiyinza okuba ekirungi okwegezaamu ezimu ku nnyanjula ezo mu kiseera kyammwe eky’Okusinza kw’Amaka.
6. Nsonga ki ezimu ezituleetera okweteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza?
6 Olukuŋŋaana lw’Obuweereza luba lunyuvu nnyo bwe tulweteekerateekera nga bukyali era ne tulowooza ku ebyo ebirulimu. Bwe tukolera ku magezi gano, tujja kusobola okuzziŋŋanamu amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Singa tuwaayo ekiseera okweteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza, tujja kusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe.—2 Tim. 3:17.