Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 25
WIIKI ETANDIKA MAAYI 25
Oluyimba 38
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 5 ¶7-15
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okuva 34-37
Na. 1: Okuva 37:1-24
Na. 2: Ddala Kirungi Okulwana? (lr sul. 19)
Na. 3: Okwekkiriranya Kye Ki, era Lwaki Tusaanidde Okukwewala?
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 86
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Maayi 1 ne Awake! eya Maayi. Ng’omaze okuzoogerako mu bufunze, saba abawuliriza banokoleyo ebitundu bye bateekateeka okukozesa nga bazigaba era bawe n’ensonga lwaki. Basabe boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bayinza okukozesa nga bagaba magazini ezo. Laga ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo mu kitundu kyammwe.
Ddak. 10: Okuwa Obujulirwa ku Yesu. Kwogera okwesigamiziddwa ku butundu obuna obuli wansi w’omutwe ogwo ku lupapula 275 mu kitabo Ssomero ly’Omulimu.
Ddak. 10: “Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe.” Kukubaganya birowoozo ng’okozesa ebibuuzo. Tegeeza abawuliriza enjawulo eriwo wakati w’omuwendo gw’ebitabo ebiragirizibwa n’ogw’ebyo ebigabibwa.
Oluyimba 50