Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo!
1. Kiki ababuulizi b’Obwakabaka kye bajja okukola mu nsi yonna okuva nga Maaki 21, 2009, era lwaki?
1 Ku Lwokuna, nga Apuli 9, 2009, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bajja kukuŋŋaana okujjukira ekikolwa kya Katonda ekisingayo okwoleka okwagala kwe eri olulyo lw’omuntu. (Bar. 5:6-8) Tusuubira nti abantu bangi nnyo bajja kutwegattako nga tujjukira okufa kwa Yesu. Obupapula obw’enjawulo obuyita abantu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo bujja kugabibwa mu nsi yonna okuva nga Maaki 21.
2. Nsonga ki z’osaanidde okujjukira ng’oyita abantu okujja ku mukolo gw’Ekijjukizo?
2 Bye Tulina Okujjukira: Kozesa bulungi ebifaananyi ebiri ku kapapula akayita abantu, ebibuuzo, n’ekyawandiikibwa ekiragiddwa. Okugeza, oyinza okwogera ku kifaananyi ekiri ku ngulu era n’ogamba nti: “Nandyagadde okukuyita obeewo ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu ogunaabaawo ku Lwokuna, nga Apuli 9, 2009.” Oluvannyuma yogera ku mutwe oguli ku kapapula ako awamu n’ebibuuzo ebikaliko. Kubiriza nnyinimu okujja n’ab’omu maka ge awamu n’abantu abalala b’aba asazeewo okujja nabo.
3. Kiki ky’oyinza okukola okulaba nti abo b’oba oyise babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
3 Bwe kiba nti ekibiina kyammwe kirina ekitundu kinene nnyo eky’okubuuliramu, abakadde bayinza okubagamba okuleka obupapula buno mu maka gye muba mutasanze bantu. Ku nnaku za wiikendi, mugabe magazini awamu n’obupapula obuyita abantu. Ba n’ekiruubirirwa eky’okuyita abo b’oba ozzeeyo okukyalira, abayizi bo aba Baibuli, ab’eŋŋanda zo, bayizi banno, bakozi banno, baliraanwa bo, n’abantu abalala. Omwaka oguwedde, mwannyinaffe yayita ab’eŋŋanda ze abawerera ddala 30 era buli luvannyuma lw’akaseera yabajjukizanga obukulu bw’omukolo gw’Ekijjukizo. Nga kyamusanyusa nnyo okulaba nga 25 ku bo baaliwo ku Kijjukizo, era nga 4 ku bano bakkiriza okuyiga Baibuli!
4. Nteekateeka ki ze tulina okukola kati, era lwaki?
4 Kola Kati Enteekateeka: Ababuulizi bangi bayinza okugaziya ku buweereza bwabwe mu mwezi gwa Maaki ne Apuli. Bw’oba olina abaana oba abayizi ba Baibuli abakulaakulana mu by’omwoyo, kino kyandibadde kiseera kirungi nnyo ne batandika okuweereza ng’ababuulizi abatali babatize. Kino kye kiseera okutandika okukola enteekateeka ezinaatusobozesa okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube ono ow’okuyita abantu okubaawo nga tujjukira okwagala okw’ekitalo okwatulagibwa Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo.—Yok. 3:16; 15:13.