Olunaku olw’Enjawulo olw’Okutandika Okuyiga n’Abantu Baibuli
1 Okutandika ne Jjanwali, buli kibiina kijja kufunayo wiikendi emu buli mwezi, oboolyawo wiikendi esooka, kisobole okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okutandika okuyiga n’abantu Baibuli. Kino musobola okukikola ku Lwomukaaga oba ku Ssande, okusinziira ku lunaku lwe muba musazeewo. Ne bwe kiba nti ku lunaku olwo omuntu agaanyi okumuyigiriza Baibuli, omubuulizi asobola okumulekera akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba magazini ezaakafuluma. Abakadde bonna n’abaweereza basaanidde okukola enteekateeka ezinaabasobozesa okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu guno era n’okuyamba ababuulizi okutandika okuyigiriza abantu Baibuli.
2 Akakiiko k’Obuweereza bw’Ekibiina kajja kulondawo wiikendi ekibiina mwe kijja okwenyigira mu mulimu gw’okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Ababuulizi basaanidde okujjukizibwa buli kiseera kibasobozese okweteekateeka era n’okufuba ennyo okutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga babuulira nnyumba ku nnyumba oba nga bazzeeyo eri abo abaalaga okusiima.
3 Engeri y’Okutegekamu: Mu lupapula olw’omunda olw’Obuweereza Bwaffe Obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2006 ne mu katabo Reasoning, olupapula 12, mulimu amagezi agasobola okutuyamba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Abamu bayinza okusalawo okukozesa tulakiti, gamba nga Wandyagadde Okumanya Amazima? Ate era, ne mu Obuweereza Bwaffe Obw’Obwakabaka aka Apuli 2007, olupapula 4, mulimu amagezi agakwata ku ngeri y’okutandika okuyigiriza Baibuli abo be twalekera magazini. Enteekateeka zijja kukolebwa abakadde n’abaweereza okukubirizanga olukuŋŋaana lw’obuweereza bw’ennimiro okumala eddakiika 10 oba 15, era mu lukuŋŋaana olwo wajja kubangawo okukubaganya ebirowoozo ku ngeri emu oba bbiri ez’okutandika okuyigiriza abantu Baibuli oba okulaga ekyokulabirako.
4 Kya lwatu, si bonna nti bajja kukkiriza okuyiga Baibuli oba nti bajja kweyongera okusoma okumala ekiseera ekiwanvu. Naye, kino tekisaanidde kutumalamu maanyi okuva bwe kiri nti Yakuwa y’asika abo abalinga endiga okujja mu kibiina kye. (Yok. 6:44) Obuvunaanyizibwa bwaffe si kusiga busizi nsigo z’amazima naye era tulina okuzirabirira era n’okufukirira ezo eziba zimeze, era nga kino kizingiramu okusoma Baibuli n’abo abaagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti tukolera wamu ne Katonda.—1 Kol. 3:9.