LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/06 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kugaba Brocuwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 7/06 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Jun. 15

“Olowooza omuntu asobola okubeera omusanyufu wadde ng’alina ebizibu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga gye tuyinza okufuna obulagirizi okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tusanga mu bulamu. Ate era eraga engeri essubi erya nnamaddala gye lisobola okutuzzaamu amaanyi.” Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.

Awake! Jun.

“Tokkiriza nti obutyabaga obubaddewo gye buvuddeko awo bulaga nti kirungi okugoberera okulabula okuba kuweereddwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga ebyo abaasimattuka omuyaga oguyitibwa Katrina bye baayiga. Ate era kyogera ku kulabula ffenna kwe tulina okugoberera.” Yogera ku kitundu ekiri lupapula 14.

The Watchtower Jul. 1

“Mu nsi eno ejjudde emitawaana, abantu beebuuza nti: ‘Lwaki obulamu bujjudde ebizibu? Katonda bw’aba nga ddala gy’ali, lwaki tabaako ky’akolawo okumalawo okubonaabona?’ Ebibuuzo ebyo wali obyebuuzizzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno erimu eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo okuva mu Baibuli.” Soma 2 Timoseewo 3:16.

Awake! Jul.

“Obufumbo bungi leero bweyongedde okubaamu ebizibu. Olowooza abafumbo basobola okuganyulwa singa bassa mu nkola okubuulirira kuno okwaluŋŋamizibwa? [Soma Abaefeso 4:32. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga emisingi gya Baibuli egiyinza okutuyamba okuba n’obufumbo obulimu essanyu.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza