LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/06 lup. 4
  • Beera n’Enteekateeka Ennungi, Ofune Emikisa Ntoko

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Beera n’Enteekateeka Ennungi, Ofune Emikisa Ntoko
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Emitwe gy’Amaka—Mubeere n’Enkola Ennuŋŋamu ey’Eby’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Enkuŋŋaana Ziganyula Abavubuka
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Oganyulwa?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Oneeyongera Okuweereza Yakuwa ne mu Mbeera Enzibu?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 7/06 lup. 4

Beera n’Enteekateeka Ennungi, Ofune Emikisa Ntoko

1. Lwaki kirungi okwekenneenya enteekateeka zo ez’eby’omwoyo?

1 Bwe wali wakafuuka Omukristaayo, oteekwa okuba nga wafuba nnyo okukola enteekateeka ennungi ezikwata ku by’omwoyo, gamba ng’okwesomesa Baibuli, okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, okubuulira, n’okusaba. Olw’okufuba kwo, wafuna emikisa gya Yakuwa n’okulaakulana mu by’omwoyo. Oboolyawo kati emyaka giyiseewo bukya obatizibwa. Okyalina enteekateeka ennungi ez’eby’omwoyo nga ze walina bwe wali ofuuka Omukristaayo?

2. Tuganyulwa tutya bwe tusoma Baibuli buli lunaku?

2 Weekenneenye Enteekateeka Zo: Olina empisa ey’okusomayo ekitundu mu Baibuli buli lunaku? Nga tuganyulwa nnyo bwe tukola bwe tutyo! (Yos. 1:8; Zab. 1:2, 3) Mu Isiraeri ey’edda, buli kabaka, “ennaku zonna ez’obulamu bwe” yalina okusomanga mu kitabo ky’Amateeka kye yabanga yekoppololedde. Yandiganyuddwa atya? Yandifunye omutima omuwombeefu era n’ayiga okutya Yakuwa ne kimuyamba obutava ku mateeka ge. (Ma. 17:18-20) Mu ngeri y’emu leero, bwe tusoma Baibuli buli lunaku kituyamba okwekuuma ne tusigala nga tetulina kya kunenyezebwa mu nsi eno embi. Ate era kituyamba okukola obulungi mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira.​—Baf. 2:15; 2 Tim. 3:17.

3. Miganyulo ki gye tufuna bwe tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa?

3 Yesu yalina empisa ey’okugenda mu kkuŋŋaaniro Ebyawandiikibwa gye byannyonnyolebwanga. (Luk. 4:16) Awatali kubuusabuusa, kino kyamuyamba okuyita mu kugezesebwa kwe yali agenda okwolekagana nakwo. Naffe bwe tubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, bye tuyigirizibwa bitugumya era ‘buli omu azzaamu munne amaanyi.’ (Bar. 1:12, NW) Bwe tukuŋŋaana awamu ne baganda baffe kituyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo mu nnaku zino ez’enkomerero. (Beb. 10:24, 25) Ekyali mpisa yo okubeerawo mu nkuŋŋaana zonna?

4. Tuganyulwa tutya bwe twenyigira mu buweereza bw’ennimiro buli wiiki?

4 Ebyawandiikibwa biraga nti abatume beenyigiranga mu kubuulira amawulire amalungi ‘buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba.’ (Bik. 5:42) Wadde nga tuyinza obutasobola kubuulira buli lunaku, twandigifudde mpisa yaffe waakiri okubuulira buli wiiki. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna obumanyirivu mu kukozesa Ekigambo kya Katonda, era tujja kuddamu amaanyi olw’ebirungi ebinaava mu kubuulira abalala amazima ga Baibuli.

5. Lwaki kikulu okusaba Yakuwa buli lunaku?

5 Nnabbi Danyeri yaweebwa emikisa mingi olw’okuweereza Yakuwa “awatali kuddirira” obulamu bwe bwonna. Kino kyali kizingiramu n’okusaba Yakuwa buli lunaku. (Dan. 6:10, 16, 20, NW) Mu ngeri y’emu, bwe tutuukirira Yakuwa mu kusaba buli lunaku, ajja kutuwa omwoyo omutukuvu. (Luk. 11:9-13) Ng’ogyeko ekyo, Yakuwa ajja kutusemberera tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Zab. 25:14; Yak. 4:8) Eno nga nkizo ya maanyi! N’olwekyo, ka tufube okunywerera ku nteekateeka ennungi ez’eby’omwoyo, tusobole okufuna emikisa ntoko okuva eri Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza