Okuyigiririza Abantu Baibuli ku Mulyango oba ku Ssimu
1. Ekigendererwa ky’okuyigiriza omuntu Baibuli kye kiruwa?
1 Nga tuba basanyufu bwe tufuna omuyizi wa Baibuli! Kyokka, okufuna omuntu gw’oyigiriza Baibuli eba ntandikwa butandikwa. Ekigendererwa ky’okuyigiriza omuntu Baibuli kwe kumuyamba okufuuka omuyigirizwa wa Kristo owa nnamaddala. (Mat. 28:19, 20) Kiki ekiyinza okutuyamba okutuuka ku kiruubirirwa ekyo?
2. Bantu ba ngeri ki be tuyinza okuyigiriza nga tuyimiridde ku mulyango oba nga tukozesa essimu?
2 Abalina eby’Okukola Ebingi: Ennaku zino abantu balina eby’okukola bingi. Mu bitundu ebimu, abantu abamu bayinza obutaba beetegefu mu ntandikwa okuwaayo essaawa ennamba okuyigirizibwa Baibuli. Okusobola okuyamba abantu ng’abo, tukubirizibwa okutandika okubayigiriza Baibuli nga tuyimiridde ku miryango gyabwe oba nga tukozesa essimu. Mu ntandikwa, abantu ng’abo tuyinza okuyiga nabo okumala akaseera katono era nga mu kaseera ako tuyinza okukubaganya nabo ebirowoozo ku byawandiikibwa bitonotono nga tukozesa akatundu kamu oba bubiri mu katabo, gamba nga Baibuli Ky’Eyigiriza. Nga kirungi nnyo okulaba nti ababuulizi bangi bafuba okukola bwe batyo!
3. Lwaki twandifubye okwongera ku biseera bye tumala nga tuyigiririza omuntu ku mulyango?
3 Kati olwo tubeere bamativu n’okuyigiririza omuntu Baibuli ku mulyango? Nedda. Wadde nga kiba kya magezi obutakozesa kiseera kiwanvu nga twakatandika okumuyigiriza, Our Kingdom Ministry aka Maayi 1990, ku lupapula 8, kaagamba: “Oluvannyuma lw’okuyiga n’omuntu okumala ekiseera era ng’alaga nti ayagala nnyo okuyiga, oyinza okwongera ku kiseera kye mumala nga muyiga.” Kino kyetaagisa. Okuwaayo ekyokulabirako: Omwana amaze ebbanga eddene nga takomba ku mmere, mu ntandikwa ayinza okuweebwa obumere obutonotono buli luvannyuma lwa kaseera okutuusa lw’addamuko ku ndasi. Naye tetuyinza kumusuubira kuddawo nga bwe yali okusooka oba okukula obulungi singa yeeyongera okuweebwa obumere obutonotono obwo okumala ekiseera ekiwanvu. Mu ngeri y’emu, oyo gwe tuyigiriza Baibuli okusobola okufuuka omuweereza wa Katonda akuze mu by’omwoyo, tuba twetaaga okumuyigiriza obutayosa nga tugoberera enkola ennuŋŋamu.—Beb. 5:13, 14.
4. Miganyulo ki egiri mu kuyigiririza omuntu Baibuli mu nnyumba?
4 Okuyigiririza Omuntu mu Nnyumba: Kirungi okuyigiririza omuntu mu nnyumba oba mu kifo ekirala kyonna ekisaanira. Ekyo kiyinza okumusobozesa okuyiga era n’okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda. (Mat. 13:23) Era kiyamba omusomesa okutuukanya by’ayigiriza n’ebyetaago by’omuyizi. Ate era, bwe muba mwongedde ku kiseera kye mumala nga musoma, kijja kubasobozesa okwekenneenya obulungi Ekigambo kya Katonda kisobole okunyweza okukkiriza kw’omuyizi.—Bar. 10:17.
5. Omuntu gw’obadde oyigiririza ku mulyango oyinza otya okutandika okumuyigiririza mu nnyumba?
5 Bw’oba ng’obadde oyigiririza omuntu ku mulyango, oyinza kukolawo ki okutandika okumuyigiririza mu nnyumba? Oluvannyuma lw’okusoma naye emirundi egiwerako ku mulyango, lwaki tomugamba ne mwongerako ku biseera bye mumala nga musoma? Oba oyinza okumubuuza nti, “Leero olinawoko ku biseera ebituulako tukubaganye ebirowoozo ku nsonga eno?” oba “Wandyagadde tukozese biseera byenkana wa leero nga tukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno?” Bw’aba tasobodde kuwaayo biseera bisingako awo, weeyongere okumuyigiririza ku mulyango nga bw’obadde okola. Nga wayiseewo ekiseera, gezaako nate okulaba obanga asobola okwongera ku biseera musobole okusomera mu nnyumba.
6. Twandibadde na kiruubirirwa ki nga tutuukiriza obuweereza bwaffe, era amagezi agaweereddwa mu kitundu kino ganaatuyamba gatya okutuukiriza ekiruubirirwa ekyo?
6 Nga tweyongera okunoonya abo abasaanira, ka tuleme kwerabira kiruubirirwa kyaffe nga tuyigiriza abantu Baibuli. Ekiruubirirwa kyaffe kwe kuyamba abantu abeesimbu okufuuka abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo era ababatize. Yakuwa k’atuwe emikisa nga tufuba okutuukiriza obuweereza bwaffe nga tulina ekiruubirirwa ekyo mu birowoozo.—2 Tim. 4:5.