LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/04 lup. 8
  • Kaweefube ow’Okugaba Brocuwa Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kaweefube ow’Okugaba Brocuwa Empya
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Laba Ebirala
  • Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Brocuwa Empya gye Tunaagaba!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli mu Ssebutemba
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Weeyambisa Brocuwa Atwetaagisa Okutandika Okusomesa Abantu Baibuli?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 10/04 lup. 8

Kaweefube ow’Okugaba Brocuwa Empya

1 Abantu bangi leero beeraliikirivu olw’ebizibu ebiriwo mu nsi naye batono abamanyi lwaki embeera ziri bwe zityo, kiki ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, na kiki kye balina okukola okusobola okuwonawo ku lunaku olw’okusalirako omusango. (Ez. 9:4) Okusobola okubayamba okutegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu, kaweefube ow’okugaba brocuwa empya erina omutwe Beera Bulindaala! ajja kubaawo okuva ku Bbalaza nga Okitobba 18 okutuuka ku Ssande nga Noovemba 14.

2 Brocuwa eno tuyinza okugigaba nga tubuulira nnyumba ku nnyumba, nga tuddiŋŋana, nga tubuulira mbagirawo oba nga tubuulira mu bifo ebyalukale. Kyokka, brocuwa eno Beera Bulindaala! si ya kumala gaweebwa buli muntu. Wabula, tujja kugigabira abo bokka abalaga nti baagala okumanya Baibuli ky’egamba ku mbeera eriwo mu nsi. Abo abatasiimye nnyo bayinza okuweebwa tulakiti.

3 Oyinza okusikiriza omuntu okukuwuliriza ng’ogamba bw’oti:

◼ “Abantu bangi beeraliikirivu olw’ebizibu eby’amaanyi n’ebintu ebitiisa ebiriwo leero mu nsi. [Yogera ku kizibu ky’omu kitundu kyo.] Obadde okimanyi nti ebintu nga bino byalagulwako dda mu Baibuli? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma ekyawandiikibwa ekituukagana n’ekizibu ky’oyogeddeko gamba nga Matayo 24:3, 7, 8; Lukka 21:7, 10, 11; oba 2 Timoseewo 3:1-5.] Baibuli etutegeeza ensonga lwaki ebiseera bye tulimu biri bwe biti era eraga n’embeera z’abantu bwe zinaabeera mu biseera eby’omu maaso. Wandyagadde okumanya ebisingawo? [Muleke abeeko ky’addamu. Bw’aba alaze okwagala okwa nnamaddala, muwe brocuwa.] Brocuwa eno si ya kusasulira. Naye bw’oba wandyagadde okubaako ky’owaayo okuwagira omulimu guno ogukolebwa mu nsi yonna, tujja kukisiima.”

4 Oba oyinza okugamba bw’oti:

◼ “Abantu bangi leero bennyamivu olw’ebizibu ebibatuuseeko n’ebintu ebirala ebibi ebiriwo mu nsi. Abamu beebuuza lwaki Katonda tabaako kyakolawo okumalawo ebintu ng’ebyo. Baibuli etukakasa nti mangu nnyo Katonda ajja kukomya okubonaabona. Weetegereze emikisa Katonda gy’anaawa abantu. [Soma Zabbuli 37:10, 11.] Wandyagadde okumanya ebisingawo?” Fundikira nga bwe kiragiddwa mu katundu akavuddeko.

5 Buli muntu atwala brocuwa musabe akuwe erinnya lye n’endagiriro ye, era oteeketeeke okumuddira osobole okumuyamba okweyongera okusiima obubaka bwaffe. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2004 kajja kulaga engeri y’okukikolamu. Singa omuntu alaga okwagala ku mulundi ogusooka, osobola okutandikirawo okumuyigiriza Baibuli ng’okozesa brocuwa Beera Bulindaala! oba akatabo akalala konna gamba nga brocuwa Atwetaagisa.

6 Brocuwa eno empya ejja kubeerawo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku kitundu kino. Ababuulizi awamu ne bapayoniya basabibwa okutwala brocuwa ezo zokka ze basuubira okugaba mu nnaku ezisooka eza kaweefube ono. Ka Yakuwa awe omukisa kaweefube ono olw’okumutendereza n’olw’okuganyula abantu bonna ab’emitima emirungi.​—Zab. 90:17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza