Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 25, 2004. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30, nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Ssebutemba 6 okutuuka nga Okitobba 25, 2004. [Weetegereze: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Tuyinza tutya okwogera mu ngeri ezzaamu amaanyi bwe tuba tuwa emboozi ekwata ku buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo ne nneeyisa yaffe? [be lup. 203 but. 3-4]
2. Okuddiŋŋana ensonga kye ki, era lwaki kukulu? [be lup. 206 but. 1-4]
3. Tuyinza tutya okuggumiza omutwe gw’emboozi? [be lup. 210 but. 1-5, akasanduuko]
4. Tuyinza tutya okumanya ensonga enkulu eziri mu mboozi etuweereddwa? [be lup. 212 but. 1-4]
5. Lwaki twandyewaze okuba n’ensonga enkulu ennyingi? [be lup. 213 but. 2-4]
EMBOOZI 1
6. Biki ebyaliwo ng’Amataba tegannabaawo ebiyinza okuba nga bye byaleetera abantu okulowooza nti tewajja kubaawo kuzikirizibwa? [w02 3/1 emp. 5-6]
7. Lwaki kyali kisaanira abo abaabeeranga ne Yesu okumuyita “Omuyigiriza” mu kifo ky’okumuyita “Omukozi w’Ebyamagero”? (Luk. 3:12; 7:40) [w02 5/1 lup. 4 kat. 3; lup. 6 kat. 6]
8. Engero 11:24, 25 ziraga zitya obukulu bw’okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza bw’ennimiro? [w02 7/15 lup. 30 but. 2-4]
9. Obujeemu obwabalukawo mu Adeni bwaleetawo nsonga ki, era biki ebivuddemu? (Lub. 3:1-6) [w02 10/1 lup. 5 kat. 6; lup. 6 but. 2-3]
10. Tusobola tutya okumanya ekiseera okusinza okw’amazima lwe kwazzibwawo mu Yerusaalemi? [si lup. 285 kat. 5]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Lwaki Yakuwa yanyiiga Balamu bwe yagenda n’abasajja ba Balaki ate nga ye yali amugambye okugenda nabo? (Kubal. 22:20-22)
12. Kisoboka omwami w’omukyala Omukristaayo okujjulula obweyamo bwa mukyala we? (Kubal. 30:6-8)
13. “Ebibuga eby’okuddukiramu” bikiikirira ki leero? (Kubal. 35:6) [w95 11/15 lup. 17 kat. 8]
14. Ekiragiro ekiri mu Ekyamateeka 6:6-9 ekigamba ‘okusiba amateeka ga Katonda ku mukono era ne ku kyenyi wakati w’amaaso’ tulina kubitegeera nga bwe biri?
15. Ebigambo ‘ebyambalo byammwe tebyabakaddiwako’ bitegeeza nti engoye z’Abaisiraeri bwe zaakaddiwanga baaweebwanga endala? (Ma. 8:4)