LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/03 lup. 8
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 8/03 lup. 8

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Jjul. 152

“Bangi bakyetegerezza nti abantu beeyawula ku balala. Olowooza kino ky’amagezi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ebigambo bino eby’amagezi ebiraga obukulu bw’okubeera n’emikwano. [Soma Omubuulizi 4:9, 10.] Magazini eno ennyonnyola lwaki twetaaga abalala era n’engeri ekizibu kino gye kiyinza okugonjoolebwamu.”

Awake! Jjul. 22

“Abantu bangi beeraliikirivu olw’okuba ebifaananyi eby’obugwenyufu bicaase nnyo. Olowooza ensonga eno nkulu okulowoozaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okubuulirira okulungi okusangibwa mu Baibuli kuyinza okutukuuma. [Soma Abaefeso 5:3, 4.] Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okwekuumamu akabi kano.”

The Watchtower Agu. 1

“Obadde okimanyi nti okusinziira ku alipoota emu, abantu abasukka mu kimu kya kubiri mu nsi yonna tebafuna ssente zibamala buli lunaku? Olowooza waliwo ekiyinza okukolebwa okugonjoola ekizibu kino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno etutegeeza Baibuli ky’egamba ekirimaliraawo ddala obwavu.”​—Soma Zabbuli 72:12, 13, 16.

Awake! Agu. 8

“Mu myaka egiyise, obutyabaga obusibuka ku mbeera y’obudde embi bwonoonye ebintu bingi okwetooloola ensi yonna. Olowooza kiki ekiyinza okukolebwa okukendeeza ku kubonaabona okuleetebwawo? ­[Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebizibu ebiva mu kukyukakyuka kw’embeera y’obudde era n’engeri gye biyinza okugonjoolebwamu okusinziira ku Baibuli.”​—Soma Isaaya 35:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza