Branch Letter
Abalangirizi b’Obwakabaka Abaagalwa:
‘Katonda n’ayongera okukikuza.’ (1 Kol. 3:6) Nga kitusanyusa nnyo okulaba okukulaakulana okubaddewo mu Afirika ow’Ebuvanjuba! Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2003, abantu abasukka mu 6,000 baatandika okuyiga Baibuli. Kino nga kirungi nnyo!
Yakuwa awadde omukisa omulimu gw’okubuulira mu bitundu bye tutatera kubuuliramu. Ebibiina bitandikiddwawo mu bitundu bingi era amawulire amalungi gatuuse mu bitundu eby’ewala omuli abantu abaagala amazima.—Mat. 24:14.
Okusobola okukuba ebitabo ebyetaagisa mu nnimiro egenda egaziwa, ekifo awakubirwa ebitabo ku Watchtower Farms, okumpi ne Wallkill, New York, kigaziyizibwa. Ekkolero eryo lyongeddwako ekizimbe ekyenkanankana yiika ssatu n’ekitundu. Ekifo ekyo kisobola okuzimbibwako Ebizimbe by’Obwakabaka 30 ebitonotono! Ebyuma bibiri ebiri ku mulembe ebikuba ebitabo bijja kutuuka ku ntandikwa y’omwaka 2004. Buli kyuma kisobola okukuba magazini 25 buli katikitiki. Ebyuma ebiteeka amaliba ku bitabo n’ebyuma ebikozesebwa okutikka n’okutambuza ebitabo nabyo bijja kuteekebwawo mu 2004. Kino kijja kusobozesa okukuba ebitabo bingi ng’ate bakozesa abantu batono.
Nga tutandika omwaka gw’obuweereza 2004, twegatta nnammwe mu kusaba Yakuwa ‘ayongere okukuza’ omulimu gw’okubuulira.
Ffe baganda bammwe,
Ofiisi y’Ettabi e Kenya