LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp17 Na. 1 lup. 3
  • Lwaki Wandisomye Bayibuli?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Wandisomye Bayibuli?
  • munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Laba Ebirala
  • Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Nyiikirira Okusoma
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okusoma Baibuli—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Weeteeketeeke Bulungi.
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
Laba Ebirara
munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
wp17 Na. 1 lup. 3
Omukazi aggya Bayibuli mu tterekero ly’ebitabo

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI

Lwaki Wandisomye Bayibuli?

“Nnali ndowooza nti Bayibuli nzibu okutegeera.”​—Jovy

“Nnali ndowooza nti Bayibuli tenyuma kusoma.”​—Queennie

“Nnali ntidde okusoma Bayibuli olw’obunene bwayo.”​—Ezekiel

Wali olowoozezza ku ky’okusoma Bayibuli naye n’otya okugisoma olw’ensonga ezifaananako ng’ezo waggulu? Abantu bangi bakaluubirirwa okusoma Bayibuli. Watya singa okimanya nti Bayibuli esobola okukuyamba okufuna essanyu mu bulamu? Oba watya singa okimanya nti waliwo ebiyinza okukuyamba okunyumirwa okugisoma? Ekyo kyandikuleetedde okwagala okugisoma?

Lowooza ku ngeri abantu abamu gye baganyuddwa mu kusoma Bayibuli.

Omuvubuka ayitibwa Ezekiel agamba nti: “Nnali ng’omuntu avuga emmotoka naye nga tamanyi gy’alaga. Naye okusoma Bayibuli kunnyambye okuba n’ekigendererwa mu bulamu. Bye nsoma mu Bayibuli binnyamba nnyo.”

Omuwala ayitibwa Frieda agamba nti: “Nnakolanga ebintu nga sisoose kulowooza ku binaavaamu, naye okuva lwe nnatandika okusoma Bayibuli nnayiga okuba omwegendereza. Kino kinnyambye okukolagana obulungi n’abalala, era kati nnina emikwano mingi.”

Omukyala ayitibwa Eunice atemera mu myaka 50 egy’obukulu agamba nti: “Bayibuli ennyambye okweggyamu emize emibi ne nfuuka omuntu omulungi.”

Okufaananako abantu abo n’abalala bangi, naawe ojja kuganyulwa nnyo bw’onoosoma Bayibuli. (Isaaya 48:17, 18) Bayibuli esobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi, okufuna emikwano emirungi, okumanya eky’okukola ng’olina ebikweraliikiriza, n’ekisinga obukulu, esobola okukuyamba okumanya ebikwata ku Katonda. Amagezi agali mu Bayibuli gava eri Katonda. N’olwekyo, bwe tugakolerako tuganyulwa nnyo, kubanga Katonda tasobola kutuwa magezi mabi.

Okusoboka okufuna emiganyulo egyo, kiba kikwetaagisa okutandika okusoma Bayibuli. Biki ebinaakuyamba okunyumirwa okugisoma?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza