LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp17 Na. 1 lup. 4
  • Weeteeketeeke Bulungi.

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weeteeketeeke Bulungi.
  • munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Laba Ebirala
  • Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Nyiikirira Okusoma
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okusoma Baibuli—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Onyumirwa Okusoma Ekigambo kya Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Laba Ebirara
munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
wp17 Na. 1 lup. 4

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI

Weeteeketeeke Bulungi

Omukazi asaba ng’agenda okusoma Bayibuli

Biki by’oyinza okukola okusobola okunyumirwa okusoma Bayibuli era n’okuganyulwa mu by’osoma? Ka tulabe ebintu bitaano ebiyambye abantu bangi.

Funa ekifo ekirungi. Funa ekifo ekisirifu, era fuba okulaba nti tewabaawo bikutaataaganya, ebirowoozo byo osobole okubissa ku by’osoma. Ate era w’osomera wasaanidde okubaawo ekitangaala ekimala.

Beera n’endowooza ennungi. Okuva bwe kiri nti Bayibuli yava eri Kitaffe ow’omu ggulu, ojja kuganyulwa bw’onoogisoma ng’olinga omwana omwetegefu okuwuliriza muzadde we by’amugamba. Bw’oba ng’olina endowooza enkyamu ku Bayibuli, gyeggyeemu okkirize Katonda akuyigirize.​—Zabbuli 25:4.

Saba nga tonnatandika kusoma. Bayibuli erimu birowoozo bya Katonda, n’olwekyo tulina okumusaba atuyambe okugitegeera. Katonda asuubiza “okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Lukka 11:13) Omwoyo omutukuvu gusobola okukuyamba okutegeera endowooza ya Katonda. Bw’oneeyongera okusoma Bayibuli, omwoyo omutukuvu gujja kukuyamba okutegeera ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba.’​—1 Abakkolinso 2:10.

Soma ng’olina ekigendererwa eky’okutegeera by’osoma. Tosoma kutuusa butuusa mukolo, wabula fumiitiriza ku by’osoma. Weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Omuntu ono gwe nsomyeko muntu wa ngeri ki? Bino bye nsomye biyinza kunnyamba bitya mu bulamu bwange?’

Weeteerewo ebiruubirirwa. Okusobola okuganyulwa mu kusoma Bayibuli, fuba okubaako ky’oyiga ekinaakuyamba mu bulamu bwo. Oyinza okweteerawo ebiruubirirwa nga bino: okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda, oba okuyiga ebinaakuyamba okuba omwami omulungi oba omukyala omulungi. Bw’omala okukola ekyo, soma Ebyawandiikibwa ebinaakuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo.a

Ebyo ebyogeddwako waggulu ebitaano bijja kukuyamba ng’otandise okusoma Bayibuli. Naye biki ebinaakuyamba okunyumirwa okugisoma? Ekitundu ekiddako kirimu amagezi agasobola okukuyamba.

a Bw’oba nga tomanyi wa kusoma, Abajulirwa ba Yakuwa basobola okukuyamba.

EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU BY’OSOMA

  • Tosoma ng’oyanguyiriza

  • Ebirowoozo byo bisse ku by’osoma​—kuba akafaananyi

  • Gezaako okukwataganya ennyiriri z’osoma n’endala eziriraanyeewo

  • Fuba okubaako ky’oyiga mu by’osoma

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza