LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w09 12/15 lup. 4-7
  • Osobola Okugenda e Makedoni?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Osobola Okugenda e Makedoni?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Weekebere
  • Wa gy’Oyinza Okuweereza?
  • Obuzibu bw’Oyolekagana Nabwo
  • Omukisa gwa Yakuwa “Gugaggawaza”
  • Osobola ‘Okugenda e Makedoni’?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okugaziya Obuweereza Bwaffe
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Munyweze Enkolagana Yammwe ne Yakuwa nga Muweereza mu Nsi Endala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Osobola Okuyamba Ekibiina Kyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 12/15 lup. 4-7

Osobola Okugenda e Makedoni?

NG’ALI ku mwalo gw’e Tulowa mu Asiya Omutono, omutume Pawulo yafuna okwolesebwa n’alaba omusajja ow’e Makedoni ng’amugamba nti: “Jjangu e Makedoni otuyambe.” Oluvannyuma lw’okwolesebwa okwo, Pawulo n’abo be yatambulanga nabo ‘baakitegeera nti Katonda yali abatumye okubuulira amawulire amalungi’ e Makedoni. Bwe baagenda, biki ebyavaamu? Mu Firipi, ekibuga ekikulu eky’e Makedoni, Liidiya n’ab’omu nnyumba ye baafuuka bakkiriza. N’abantu abalala ab’omu ssaza lya Rooma eryo ery’e Makedoni baafuuka bakkiriza.​—Bik. 16:9-15.

Abajulirwa ba Yakuwa bangi leero nabo booleka obunyiikivu bwe bumu. Bakozesa ssente zaabwe ne bagenda okulangirira amawulire g’Obwakabaka mu bitundu ewali obwetaavu obusingako. Ng’ekyokulabirako, Lisa yava mu Canada n’agenda e Kenya asobole okukola ekisingawo mu mulimu gw’okubuulira. Trevor ne Emily, nga nabo nzaalwa z’e Canada, baagenda e Malawi basobole okugaziya ku buweereza bwabwe. Paul ne Maggie ab’omu Bungereza bwe baawummula emirimu gyabwe, omukisa ogwo baagukozesa ne bagenda mu buva njuba bw’Afirika, okusobola okukola ekisingawo mu buweereza bwabwe eri Yakuwa. Olina omwoyo ogw’okwefiiriza? Naawe wandyagadde okukola ng’ab’oluganda abo? Bwe kiba kityo, waliwo emisingi mu Byawandiikibwa n’amagezi amalungi ebisobola okukuyamba.

Weekebere

Lowooza ku kigendererwa kyo. Yesu yagamba nti etteeka erisinga obukulu kwe: ‘Kwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ N’olwekyo, okwagala Yakuwa n’okwagala okufuula abalala abayigirizwa bye birina okukubiriza okugenda okuweereza mu nsi endala. Yesu era yagamba nti: “[Etteeka] ery’okubiri eririfaanana lye lino, ‘Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’” Okwagala bantu banno kweyolekera mu kuba nti oyagala okubayamba. (Mat. 22:36-39; 28:19, 20) Bw’ogenda okuweereza mu nsi endala toba nga mulambuzi, wabula olina okukola ennyo n’okwefiiriza. Olina kukikola lwa kwagala. Remco ne Suzanne abaava mu Netherlands ne bagenda okuweereza e Namibia bagamba nti: “Okwagala kwe kutuyambye okugenda mu maaso n’obuweereza bwaffe.”

Willie aweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu Namibia agamba nti: “Abo abasobodde okunywerera ku buweereza bwabwe mu nsi endala bajja bakimanyi nti ab’oluganda mu nsi eyo si be bajja okubayimirizaawo. Bajja n’ekigendererwa kya kuweerereza wamu n’ab’oluganda ab’omu kitundu, babayambeko mu mulimu gw’okubuulira.”

Ng’omaze okwekenneenya ekigendererwa kyo weebuuze: ‘Nnina bumanyirivu ki obuyinza okunnyamba nga mpeereza mu nsi endala? Mmanyi bulungi okubuulira? Nnimi ki ze mmanyi? Ndi mwetegefu okuyiga olulimi olulala?’ Ensonga ezo zoogereko n’ab’omu maka go. Weebuuze ku bakadde mu kibiina kyo, era saba Yakuwa akuyambe. Okulowooza ku bintu ng’ebyo mu bwesimbu kijja kukuyamba okulaba obanga osobola okuweereza mu nsi endala.​—Laba akasanduuko “Weekebere.”

Wa gy’Oyinza Okuweereza?

Mu kwolesebwa, Pawulo yayitibwa okugenda e Makedoni. Leero Yakuwa takozesa ngeri ng’ezo kutulagirira, naye abantu be basobola okumanya ebitundu ewali obwetaavu okuyitira mu magazini eno n’ebitabo ebirala. N’olwekyo sooka owandiike olukalala lw’ebifo ng’ebyo. Bw’oba toli mwetegefu kuyiga lulimi lulala, oba nga mu nsi gy’ogenda togenda kubeererayo ddala, lowooza ku kuweereza mu kitundu gye boogera olulimi lw’omanyi obulungi mu nsi eyo. Kati buuliriza ku bintu gamba ng’okufuna viza, eby’entambula, embeera y’obudde, ebbeeyi y’ebintu, n’obutebenkevu bw’ensi eyo. Kiyinza okuba eky’amagezi okwogerako n’abo abaweereza mu nsi endala. Saba Yakuwa akuyambe okusalawo obulungi. Jjukira nti Pawulo ne banne ‘omwoyo omutukuvu gwabagaana okubuulira ekigambo mu ssaza ly’e Asiya.’ Baagezaako n’okugenda e Bisuniya naye ‘omwoyo gwa Yesu tegwabakkiriza.’ Mu ngeri y’emu, kiyinza okukutwalira ekiseera nga tonnafuna kitundu gy’oyinza kugenda kuyamba.​—Bik. 16:6-10.

Bw’omala okusalawo nsi ki z’oyinza okuweerezaamu, wandiikira ofiisi z’amatabi g’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi ezo. Bategeeze ebikwata ku buweereza bwo era babuuze ku bintu gamba ng’ebbeeyi y’ebintu ebyetaagisa mu bulamu, ebifo w’oyinza okusula, amalwaliro, n’emirimu gy’oyinza okukola. Ebbaluwa zo ziwe ab’akakiiko k’obuweereza mu kibiina kyo, bawandiikireko ebbaluwa ekusemba era baziweereze ku ofiisi z’amattabi g’ensi gy’oyagala okuweereza. Bye banaakuddamu bijja kukuyamba okusalawo ensi gy’osaanidde okugenda okuweerezaamu.

Willie eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Bangi abasobodde okuweereza mu nsi endala baasooka kukyalayo ne balaba obanga okubeerayo kinaabawa essanyu. Omwami omu ne mukyala we bwe baakiraba nti okuweereza mu kitundu ekyesudde ennyo kyali kijja kubawa obuzibu, baasalawo okusenga mu kabuga akamu awaali obwetaavu, naye nga kali ku mutindo ogubasobozesa okuweereza nga basanyufu.”

Obuzibu bw’Oyolekagana Nabwo

Okuva mu kifo ky’omanyidde obulungi n’ogenda mu kipya kirina obuzibu bwe kijja okukuleetera. Lisa eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ofuna ekiwuubaalo eky’amaanyi.” Kiki ekyamuyamba? Yakolanga omukwano ku b’oluganda mu kibiina kye ekipya. Yafubanga okukwata amannya g’ab’oluganda bonna. Kino okusobola okukikola, yatuukanga bukyali mu nkuŋŋaana era nga bwe ziggwa asigalawooko n’anyumyako n’ab’oluganda. Lisa yakolanga n’abalala mu buweereza bw’ennimiro era bangi yabayitanga okumukyalira n’afuna emikwano mingi. Agamba nti: “Sirina kye nnejjusa. Yakuwa ampadde emikisa mingi.”

Oluvannyuma lw’okukuza abaana baabwe, Paul ne Maggie baava mu maka gaabwe mwe baali bamaze emyaka 30. Pawulo agamba nti: “Okweggyako ebintu tekyali kizibu nga bwe twali tulowooza. Naye okuleka ab’eŋŋanda zaffe kyatuwa obuzibu bwa maanyi era twakaaba nnyo nga tuli mu nnyonyi. Kaabula kata tugambe nti, ‘Tetujja kusobola.’ Naye obwesige twabussa mu Yakuwa. Okukola emikwano kikuyamba okuba omumalirivu n’otalekulira.”

Greg ne Crystal baasalawo okuva e Canada ne bagenda e Namibia olw’okuba olulimi lwayo olutongole Lungereza, ate nga nabo balwogera. Kyokka oluvannyuma baakiraba nga kibeetaagisa okuyiga olumu ku nnimi ezoogerwa abantu baayo. Bagamba nti: “Oluusi twawuliranga nga tukaluubiriddwa. Naye okuyiga olulimi olwogerwa abantu b’omu kitundu kyatuyamba okutegeera obuwangwa bwabwe. Twakola omukwano ku b’oluganda era ekyo kyatuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.”

Obwetoowaze ng’obwo n’okukola buli ky’osobola kizzaamu nnyo amaanyi ab’oluganda mu kitundu gy’oweereza. Jenny akyajjukira ab’oluganda awamu n’ab’omu maka gaabwe abaagenda okuweereza mu Ireland gye yakulira. Agamba nti: “Baayanirizanga buli omu. Baalaga nti baali bajja kuweereza so si kuweerezebwa. Obunyiikivu bwabwe n’essanyu byandeetera okwagala okuyingira obuweereza obwo.” Jenny ne bba kati baweereza ng’abaminsani mu Gambia.

Omukisa gwa Yakuwa “Gugaggawaza”

Nga Pawulo okugenda e Makedoni kyavaamu ebibala bingi! Nga wayise emyaka nga kkumi, yawandiikira ab’oluganda mu Firipi nti: “Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira.”​—Baf. 1:3.

Trevor ne Emily abaali baweereza mu Malawi nga tebannabayita kugenda mu Ssomero ly’e Giriyadi nabo bwe batyo bwe bawulira. Bagamba nti: “Wadde ng’oluusi twebuuzanga obanga kye twali tusazeewo okukola kyali kituufu, twali basanyufu. Enkolagana yaffe yeeyongera okunywera era Yakuwa yatuwa emikisa mingi.” Greg ne Crystal abaayogeddwako waggulu bagamba nti, “Tuli basanyufu okugenda mu maaso era tewali kye twejjusa.”

Kya lwatu nti buli omu tasobola kugenda kuweereza mu nsi endala. Abamu basobola okugenda mu bitundu by’eggwanga lyabwe ewali obwetaavu obusingako. Abalala bayinza okuweereza mu bibiina ebiri okumpi ne we babeera. Ekikulu kwe kuba nti okola buli ky’osobola okuweereza Yakuwa. (Bak. 3:23) Bw’onookola bw’otyo, ojja kulaba obutuufu bw’ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Omukisa gwa [Yakuwa] gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”​—Nge. 10:22.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Weekebere

Okusobola okumanya obanga oyinza okuweereza mu nsi endala, lowooza ku bibuuzo bino wammanga era saba Katonda akuyambe okulaba ekituufu. Ebiri mu Watchtower ez’emabega bisobola okukuyamba.

• Ndi muntu ayagala eby’omwoyo?​—“Ebinaakuyamba Okufuna Essanyu” (Okitobba 15, 1997, olupapula 6)

• Mmanyi bulungi okubuulira?​—“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwo nga Payoniya” (Maayi 15, 1989, olupapula 21)

• Nsobola okuleka ab’eŋŋanda n’ab’emikwano?​—“Okugumira Ekiwuubaalo ng’Oweereza ku Ggwanga” (Maayi 15, 1994, olupapula 28)

• Nsobola okuyiga olulimi olupya?​—“Okuweereza mu Kibiina ky’Olulimi Olugwira” (Maaki 15, 2006, olupapula 17)

• Nnaasobola okweyimirizaawo?​—“Osobola Okuweereza mu Nsi Endala?” (Okitobba 15, 1999, olupapula 23)

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Obwetoowaze n’okukola buli ky’osobola kizzaamu nnyo amaanyi ab’oluganda mu kitundu gy’oweereza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Abo abajja okuweereza be batuuka ku buwanguzi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza